TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Okwesig'aana kwe kuwangazza obufumbo bwaffe kati emyaka 20

Okwesig'aana kwe kuwangazza obufumbo bwaffe kati emyaka 20

Added 14th March 2020

NZE Muhammad Masanga 41, mbeera Kalamba naye nkolera Kampala nga ndi musuubuzi.

NZE Muhammad Masanga 41, mbeera Kalamba naye nkolera Kampala nga ndi musuubuzi.

Ndi mufumbo, naakabumalamu emyaka 20 n'omukyala wange ampadde okweyagalira mu bufumbo bwange olw'emirembe n'essanyu byampa.

Mu lugendo lwange olw'okufuna omwagalwa, saasooka kupapa kubanga taata yatukuutiranga okusooka okwetegereza abakyala nga tetuneeyagala kuba abasinga bayaaye.

Olw'okuba nakwata taata kye yali atukuutidde nnali mwegendereza era nasalawo nsooke kukulembeza Katonda era ne mmusaba omukyala gwe njagala okutambula naye mu bulamu bwange obw'omukwano.

Bwentyo namusaba annyambe nfune alina omukwano, omulungi mu ndabika, omwesigwa, omugumiikiriza ng'atya Katonda era atali muyaaye.

Mukyala wange yasooka kuba mukwano gwange kuba twasisinkana ku ttendekero erimu e Kalamba.

Nasooka kumubuuzangako era ekiseera bwe kyagenderera bwantyo n'antwala omutima olw'endabika ye ne nsalawo mmusuuleyo akagambo.

Bwe nnamutegeeza ensonga yange, kirabika yasooka kulowooza nti oba nnali nsaaga kubanga ebintu byange mbikwata mpola. Era teyantambuza bbanga ddene ng'abamu bwe bakola, yanzikiriza n'anzigulirawo omutima gwe.

Twamala emyezi egiwera nga buli omu yeetegereza munne okutuusa lwe nnasalawo okugenda mu bazadde be bammanye.

Katonda mwebaza ebintu byatambula bulungi era n'okutuusa kati twagalana. Ebbanga lye mmaze ne mukyala wange, akyali muntu mulamu era n'empisa takyusanga kubanga ne bwe tuba tusoowaganyeemu akkakkana mangu kuba tasiba busungu.

Ng'omusajja nfubye okulaba ng'obufumbo bwange tebuyuugayuuga kubanga engeri mukyala wange gye namutegeera, nasalawo okukola ebyo by'ayagala ate byatayagala ne mbyesonyiwa.

Okwesigahhana n'okwewa ekitiibwa bye bimu ku bisinze okukuuma obufumbo bwaffe.

Nkuutira basajja bannange okukimanya nti amaka okuggumira n'okutambula obulungi, emize egimu egitabagasa mu bufumbo bwabwe bagyesonyiwe olwo obufumbo bujja kubanyumira.

 

 

 

 

 

NZE Muhammad Masanga
41, mbeera Kalamba naye
nkolera Kampala nga ndi
musuubuzi. Ndi mufumbo,
naakabumalamu emyaka 20
n'omukyala wange ampadde
okweyagalira mu bufumbo
bwange olw'emirembe
n'essanyu byampa.
Mu lugendo lwange
olw'okufuna omwagalwa,
saasooka kupapa kubanga
taata yatukuutiranga okusooka
okwetegereza abakyala
nga tetuneeyagala kuba abasinga
bayaaye.
Olw'okuba nakwata taata
kye yali atukuutidde nnali
mwegendereza era nasalawo
nsooke kukulembeza
Katonda era ne mmusaba
omukyala gwe njagala
okutambula naye mu bulamu
bwange obw'omukwano.
Bwentyo namusaba annyambe
nfune alina omukwano,
omulungi mu ndabika,
omwesigwa, omugumiikiriza
ng'atya Katonda era atali
muyaaye.
Mukyala wange yasooka
kuba mukwano gwange kuba
twasisinkana ku ttendekero
erimu e Kalamba. Nasooka
kumubuuzangako era
ekiseera bwe kyagenderera
bwantyo n'antwala omutima
olw'endabika ye ne nsalawo
mmusuuleyo akagambo.
Bwe nnamutegeeza
ensonga yange, kirabika
yasooka kulowooza nti oba
nnali nsaaga kubanga ebintu
byange mbikwata mpola.
Era teyantambuza bbanga
ddene ng'abamu bwe bakola,
yanzikiriza n'anzigulirawo
omutima gwe.
Twamala emyezi egiwera
nga buli omu yeetegereza
munne okutuusa lwe
nnasalawo okugenda mu
bazadde be bammanye.
Katonda mwebaza ebintu
byatambula bulungi era
n'okutuusa kati twagalana.
Ebbanga lye mmaze
ne mukyala wange,
akyali muntu mulamu
era n'empisa takyusanga
kubanga ne bwe tuba
tusoowaganyeemu akkakkana
mangu kuba tasiba
busungu.
Ng'omusajja nfubye
okulaba ng'obufumbo
bwange tebuyuugayuuga
kubanga engeri mukyala
wange gye namutegeera,
nasalawo okukola ebyo
by'ayagala ate byatayagala
ne mbyesonyiwa.
Okwesigahhana
n'okwewa ekitiibwa bye
bimu ku bisinze okukuuma
obufumbo bwaffe.
Nkuutira basajja bannange
okukimanya nti amaka
okuggumira n'okutambula
obulungi, emize egimu
egitabagasa mu bufumbo
bwabwe bagyesonyiwe
olwo obufumbo bujja
kubanyumira.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssennyonga musajja wa buggy...

Endiga z'omugenzi Augustine Yiga katono ziffe essanyu bwe zirabye ku musajja wa Katonda Bro. Ronnie Makabai owa...

Ab'e Kawempe balaajanye ku ...

okulaajana kuno baakukoze oluvannyuma lwa Ahmed Lukwago eyeegwanyiza ekifo ky’obwa kkansala bw’omuluka guno okukulemberamu...

Wakayima atangaazizza ku mp...

"Nze Wakayima Musoke Hannington Nsereko era abo abatidde akalulu bakkakkane kuba ffirimbi yavugga dda Kati tulinze...

Ennyumba y'oku kiggya abamu ku b'Engabi gye baagala Yiga aziikibwe. Ebifaananyi bya JOHN BOSCO MULYOWA

Abengabi beeyawuddemu ku by...

ABAKADDE b’ekkanisa ya Pasita Abizzaayo Yiga eggulo baatudde mu lukiiko olw’amangu olw’enkaayana ezaabaluseewo...

Paasita Bujjingo ng'agumya Jengo, mutabani w'omusumba Yiga

Ebiri mu katambi ka Paasita...

Ku Ssande nga October 25, 2020, Ssenyonga yasinziira mu kusaba mu kkanisa ye n’alumba abasumba ab’enjawulo omwali...