TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Mukyala wange yafuna omusajja omulala

Mukyala wange yafuna omusajja omulala

Added 20th March 2020

MUKYALA wange yafuna omusajja omulala n’akihhamba era nti mwesonyiwe. Nze nkola safaali naye ava awaka n’amalayo ennaku ssatu n’akomawo.

Abaana bali mu kisulo kale alina emirembe okukola ky'ayagala.

Ssenga njagala kugoba mukyala ono kubanga okumala emyaka ebiri ng'ayendera mu maka gange.

Ssenga oba omukyala yandoga?. Lwaki simugoba. OLI musajja mugumiikiriza nnyo kubanga omukyala n'abeera n'abasajja abalala n'akikugamba nti omwesonyiwe naye n'ogaana okumuleka mba sikutegeera.

Sirowooza nti omukyala ono yakuloga nga bw'olowooza. Oluusi omukwano gw'olina n'omukyala ono gukulemesa n'ogaana okumugoba.

Oluusi bw'olowooza ku baana bo nga toyagala mukyala mulala kubakuza gwe n'omuleka.

Ate kubanga okola safaali, kitegeeza nti ebiseera ebisinga ky'akola tokiraba kubanga obeera ku mirimu gyo. Kyandibadde kirungi weesonyiwe omukyala ono.

Simanyi oba mwegat ta naye ajja kukuleetera obulwadde n'obutemu kubanga omusajja oli gw'ayagala oba abasajja b'ayagala basobola okukukolako obulabe.

Ekirala, weebuuze oba onoosobola okubeera n'omukyala ono, kubanga akuyisa nga atali bba. Weesonyiwe omukyala ono kubanga era naye yakikugamba. Eby'okukuloga biveeko okola ky'olina okukola.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mwanje (wakati) nga "bamunywedde"

Ofiisa munsonyiwe nva kuziika!

MAKANIKA eyeeyise owa poliisi bamukutte n’alwanagana n’abaserikale ng’agamba nti tebalina kye bayinza ku mukola....

Abawawaabirwa, Christine Guwatudde Kintu, Joel Wajala , John Martin Owor  ne Lutimba Kyeyune Fred Martin nga bali mu kaguli

Bana basimbiddwa mu kkooti ...

Abakungu bana okuva mu ofiisi ya Ssaabaminisita abavunaanibwa okulya eza COVID19 basindikiddwa mu kkooti ewozesa...

Sazir Lumala disitulikiti Kaadi w'e Mukono ng'ayogera n'abamawulire ku poliisi e Mukono.

Disitulikiti Kaadi w'e Muko...

Bya ERIC YIGA POLIISI e Mukono ekutte disitulikiti Kaadi waayo Sheikh Sazir Lumala naggulwako omusango gw'okukozesa...

Abasiraamu balabuddwa okuko...

BYA JAMES  MAGALA  Kino kidiridde Poliisi okuyoola abasiraamu 25 e Mpingi nga bagambibwa okuba abayeekera mu...

Bagudde ku mulambo gwa mutu...

Abatuuze b'e Kawaala zooni 2 mu divizoni y'e Rubaga baguddemu ekyekango bwe basanze mutuuze munnaabwe nga yafiridde...