TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Nfunye ntya omuwala atalina siriimu?

Nfunye ntya omuwala atalina siriimu?

Added 21st March 2020

NNINA emyaka 25 naye sinnatandika kwegatta kubanga ntya siriimu ng’ate abawala abasinga tebaagala kugenda ku musaayi ate nga nange saagala kukozesa kondomu kubanga bagamba nti tonyumirwa. Kati nkoze ntya okufuna omuwala nga talina siriimu ate ng’alina empisa.

NNINA emyaka 25 naye sinnatandika kwegatta kubanga ntya siriimu ng'ate abawala abasinga tebaagala kugenda ku musaayi ate nga nange saagala kukozesa kondomu kubanga bagamba nti tonyumirwa. Kati nkoze ntya okufuna omuwala nga talina siriimu ate ng'alina empisa.

OKUSOOKERA ddala tosobola kumanya oba omuntu alina siriimu oba tamulina okugyako ng'omukebezza omusaayi. Ekirala, omuntu yenna atayagala kufuna siriimu ate nga teyeekebezza aba alina okukozesa kondomu.

Ky'ogamba nti kondomu tenyumisa ekyo kisinziira ku muntu kennyinni naye ng'okusinga ky'oteeka mu bwongo oba mu birowoozo era ky'ofuna.

Oba toyagala kufuna siriimu olina okufuna omuwala n'omukebeza, ate tekitegeeza nti bw'omukebeza nga talina siriimu tasobola kumufuna.

Omuntu atalina siriimu asobola okumufuna mu kwegatta tomanya asobola n'okufuna akabenje n'abantu abalala nga balina akawuka omusaayi ne gumuyingiramu era n'afuna siriimu.

Eky'okufuna omuwala ow'empisa olina kugezaako n'omunoonya ate n'osooka omwetegereza oba ddala azirina.

Weetegereze amaka g'avaamu, empisa ze okumala ekiseera. Ate era olina okumanya nti abantu bakyuka eyalina empisa ayinza okukyuka nga takyazirina.

Kati tosobola kufuna bufumbo nga tofunye mukyala okutya olina okukuteeka ku bbali naye era olina okwegendereza. 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

   Jane Nnabukeera eyasudde bbebi mu kabuyonjo

Wuuno maama eyasudde bbebi ...

Poliisi egamba nti Nnabukeera ng'amaze okusuula omnwana we mu kaabuyonjo yaddayo n'abikira abatuuze nga bwe yamufiiriddeko...

Mutumba eyakumye ku nnyumba ye omuliro ne mufiiramu bbebi we Nambooze

Akumye ku famire ye omuliro...

Ronald Mutumba okuva mu mbeera kiddiridde okukubira nga mukyala we Annet Mirembe amasimu nga tagakwata ate ng'olumu...

Abakulembeze mu Kawempe ben...

ABAKULEMBEZE ba LC mu Kawempe balaze obwennyamivu eri balandiroodi abasusse okugobaganya abapangisa nga babanja...

"Abatakisi bafunye obukodyo...

POLIISI erabudde nti egenda kukola ekikwekweeto ku batakisi abasiize endabirwamu z’ebidduka byaber langi nga bagenderera...

Gav't ekkirizza abagwiira 1...

UGANDA ekkirizza abagwiira 165 abaali basiibirwa muno ng’eggadde ensalo olw’obulwadde bwa COVID 19 okudda ewaabwe....