TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Engeri Ssennyiga omukambwe gy'awadde abamu 'essanyu'

Engeri Ssennyiga omukambwe gy'awadde abamu 'essanyu'

Added 8th April 2020

Engeri Ssennyiga omukambwe gy’awadde abamu ‘essanyu’

KALANTIINI ya Corona oyinza okugiyita kasobeza! Erina abaagalana b'ewadde akaseko ku matama. Kubanga bafunye omukisa okunyumyaako n'abasajja baabwe ababadde batasiibako waka.

Ne bafuna n'omukisa okubalaga ebizibu bye basanga awaka. Ebimu nno byangu ate nga binene ng'okugula oluggi lwa ttooyi n'okuluteekako.

Ku luno abasajja lwe baasiibye awaka lwe baakirabye nti bamaama bafuna obuzibu okugenda mu ttooyi okutali luggi. Bakazibattu bulijjo bamala kuyiiya nnyo ne babaako we batuma abaana baveewo basobole okugenda okweyamba. Kati n'abasajja bino byonna babirabye.

Ne batandika okukuba bakyala baabwe obwama obwa ‘… bulijjo ggwe okola otya..?' Abakyala bandibadde tebaagala na kwanukula basajja bano, kubanga bulijjo babaddenga beesigula nga bo bwe bagenda mu ttooyi z'oku mirimu gye bakolera. Ggwe olaba musajja kupapa mbu essaawa emuyiseeko agenda ku mulimu, kumbe apapa kutuuka kugenda ku kinnya ali bubi.

Naye ku luno buno obulwadde bwa Corona bwabakubye omwenda okukamala. Omusajja gwe bamaze okuyisa mu kizibu ekyo, (ne batuma abaana okugenda okwera ebisenge byabwe naye nga kakodyo kaakubaggyawo omusajja ono asobole okuyingira mu ttooyi okutali luggi) agenda okuvaayo ng'ayize okwekoza ekkwaano ku mukyala we bulijjo gw'abadde alengezza n'abuuka ne ba Patsy abamukuula mbu kubanga balabika bulungi.

Ekkwano eryo ly'atandika n'omukyala ow'eka gye liggweera buli omu alengeddeyo. Ate olwokuba wiiki bbiri nnamba omusajja ono ali mu ggiribwa ya Corona; talina w'alaga, omukyala ono owawaka yafunye akadde okuggusa ensonga ze bulijjo omusajja ono ze yeepena ng'ayingira amatumbibudde nga yeekwasa emipiira, emirimu emingi oba okusuza mikwano gye ababa bafi iridda.

Kati ggwe omusajja abadde akola bwatyo, ofunya otya emimwa n'otandika okubeeba omukyala okujjula emmere ng'otaddeko n'okumutegeeza nga ggwe bwe wamanyiira okuliira ku ssaawa eyo gy'okolera! Abasajja ab'ekika kino baabakompodde na ngolo ya ‘ansa' eyokubalangira okuddayo gye bamalira ssente zaabwe.

Naye nno n'abasajja bagezigezi ng'akwatira emmese ku ggolu. Mu kalantini ono, basuubizza abakazi ensi n'eggulu basobole okumalako.

Babasuubizza embaga, amapoloti, okubazimbira abamu ne batuuka n'okukawaηηamula ng'ayita nnyina omukyala nti baabadde babatumirizza engoye za Paasika nga zijjira ku mmaali yaabwe eyabadde eva e China nti era balinda bino biggwe balabe bwe banaalondoola ebintu ebyo. Kyokka nga byonna abasajja bano bayiiya mbeera ya kwewonya kuswala kubanga amaka eky'amazima bababdde baagasuulawo dda.

Kale nno obulwadde buno obwa Coronavirus ssinga tebubadde nti bulimu okufa, abakyala bubadde bubakoledde kubanga bubakubidde ku basajja baabwe ebibaati; ekintu abakazi kye baayagala edda.

N'abasajja bambi abalabirira obulungi amaka gaabwe naye nga emirimu gye gibalemesa okusiibako awaka, nabo baafunyeemu, kubanga nabo ddoozi ya biri ku luno baakakiddwa okugiweza. Anti obukoowu bulijjo bwe beekwasa tewali we buva.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bannalotale mukwatizeeko Ka...

OMUBAKA wa gavumenti e Kalungu Pastor Caleb Tukaikiriza akubirizza Bannalotale beeyambise omutima gw'ekibiina kyabwe...

Embeera y'amasiro nga bwegali mu kiseera kino

Omuwanika wa Buganda Waggwa...

OMUMYUKA ow’okubiri owa Katikkiro era Omuwanika wa Buganda,Robert Waggwa Nsibirwa bwe yabadde asoma embalirira...

Abakozi abakolera mu Owino balaajanidde Gavumenti ku mmaali yaabwe

Abakolera mu Owino balaajan...

ABASUUBUZI abakolera mu katale ka St.Balikudembe balaze obutali bumativu olw'abeebyokwerinda okubagaana okutaasa...

Eyafumitiddwa ebiso nga bw'afaanana

Kamyufu afumise munne ebiso...

OLWAMAZE okufumita munne ebiso n’agenda nga yewaana nti, ‘mumaze naye agende yejjanjabe nga nange bwe ngenda okwejjanjaba’....

Nnamwandu Sarah Nassiwa ng'akungubagira bba

Kamyufu afumise munne ebiso...

OLWAMAZE okufumita munne ebiso n’agenda nga yewaana nti, ‘mumaze naye agende yejjanjabe nga nange bwe ngenda okwejjanjaba’....