TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Byotalina kusuulirira ku mwana avubuka

Byotalina kusuulirira ku mwana avubuka

Added 26th May 2020

Omuzadde buli mutendera omwana gw’atuukako mu kukula kwe olina okwogerako naye.

 Abaana beetaaga okulaga omukwano ku mitendera gyonna.

Abaana beetaaga okulaga omukwano ku mitendera gyonna.

NG'OMUNTU omukulu, kizibu okwerabira enkyukakyuka ze wayitamu ng'ovubuka. Enkyukakyuka zino zibaamu okusoomooza, era ssinga omwana tayambibwa ayinza okutawaana ennyo.

Hassan Sekajoolo, omukugu mu kubangula abavubuka ku byobulamu, empisa n'enneeyisa okuva mu Straight Talk Foundation agamba nti enkukakyuka omwana z'ayitamu ng'avubuka zigwa mu mitendera esatu omuli ;

1.Enkyukakyuka mu bwongo ne mu birowoozo by'omwana mu ngeri gy'alabamu ebintu n'engeri gy'abitaputamu.

2.Enkyukakyuka ez'omu mpisa kuba omwana bw'atuuka mu myaka gy'obuvubuka empisa ze zigenda zikyuka .

3 Enkyukakyuka ez'omu mubiri ezirabwako era nga zino abazadde abasinga obungi ze basinga okumanya.

Okugeza mu balenzi, eddoboozi likyuka, ekifuba kigejja n'ebirala ate mu bawala okugenda mu nsonga, okusuna amabeere n'ebirala.

Ekyukakyuka z'omubiri ezirabwako y'emmanduso ey'okutandika okwogera ku neeyisa mu myaka gya kaabuvubuka.

Dr. Olive Sentumbwe, avunaanyizibwa ku byobulamu mu maka mu kitongole ky'ebyobulamu neky'ensi yonna ekya World Health Organisation agamba nti omuzadde buli mutendera omwana gw'atuukako mu kukula kwe olina okwogerako naye.

 baana baggye buto ngobasomesa ku nkyukakyuka mu mibiri gyabwe Abaana baggye buto ng'obasomesa ku nkyukakyuka mu mibiri gyabwe.

 

2. Dr. Olive Sentumbwe agamba nti omwana bw'aba avubuka atandika okwemanya. Kino kisinga ku bawala.

Atuuka ekiseera n'alaba ng'ali waggulu wa buli omu, alabika bulungi noolwekyo tewali alina kumusalirawo. Ensobi abazadde gye batera okukola kwe kwagala okulaga omwana ono nti talina bw'ali era abamu batuuka n'okubaggyirayo emiggo okubakuba mu ngeri y'okubatereeza mu layini.

Ebiseera ebisinga ekiva mu kino ye mwana okulalukira ddala oluusi n'atuuka n'okuva awaka. Ku ludda lw'abalenzi, kino kye kiseera we bafunira emikwano emibi egibasigamu emize ng'okunywa omwenge, enjaga, okusiiba mu bibanda bya firimu oluusi mwe baggya n'obubbi.

Noolwekyo ggwe omuzadde kino kiseera kya kutunula nkaliriza olabe mikwano gya mutabani wo, gye babazaala, bazadde baabwe ne kalonda omulala abakwatako.

Bwe weesanga nga tobategeera bulungi, omwana muwooyewooye mpola nga bw'omulaga lwaki abo tebateekeddwa kubeera mikwano gye. Bw'onoomuteekako ekifuba ayinza okulalukira ddala.

3.Atandika okusikiriza abamulaba. Enkyukakyuka omwana z'afuna naddala omuwala ojja kwesanga nga zirina engeri gye zimulabisaamu obulungi. Kino kitegeeza nti abamulaba bajja kumwegomba omuli n'abasajja abakulu.

Noolwekyo buvunaanyizibwa bwa muzadde okutegeeza omwana ono nti asikiriza bangi era ssinga wabaawo omulenzi oba omusajja amutunuza mu nsonga z'abakulu takyewuunya, naye omulabule ku kabi k'okuyingira mu nsonga z'abakulu, omuli okufuna olubuto, okulemwa okusoma, okufuna endwadde z'ekikaba omuli ne siriimu.

Ggwe omuzadde, kino kye kiseera omwana wo omufuule mukwano gwo kimwanguyize okukubuulira ebyo by'ayitamu.

Weewale okumuyamba mu ngeri evvoola, ecunga, ejereegerera oba emuyeeya.

Mulage okwagala kubanga mu myaka egyo, babeera baagala nnyo okulaba nga waliwo abafaako ekyo bwe batakiraba, kiba kibanguyira nnyo okutandika emikwano gy'abavubuka kubanga munne abeera amulaze nti amufaako era amwagala.

4. Bafuna apetayiti. Kino wadde kisinga kubeera ku balenzi naye n'abawala abamu  batandika okulya ennyo. Kino kibaawo kubanga emibiri gyabwe giba giyita mu nkyukakyuka ez'enjawulo era nga gikula.

Omwana bw'alya ennyo tomuyeeya oba okumulangira. Muwe alye akkute kubanga mu bbanga ttono ate ojja kwesanga nga takyalya nnyo.

5 Abawala batandika okufaayo ennyo ku ndabika yaabwe, bw'aba talina bizigo, ssabbuuni ogwo guba musango.

Batandika okweyonja ne bakuuta ssapatu ne bazinyiriza, okuboola engoye ky'abadde takola nga muto.

 

Emyaka gibaleetera okujeema

6 Okujeema. Mu myaka gino, ojja kwesanga ng'abaana batandika okukola ebikontana n'ebituufu bye bandibadde bakola. Okugeza, bw'aba muwala ojja kulaba ng'abadde ayambala engoye empanvu atandika okuzisala ayambale ennyimpi, bw'aba mulenzi w'ajja okutandikira obutakuba kikalu, okwambala mu ngeri y'ekiyaaye ne kalonda omulala.

Era ojja kwesanga ng'olina by'omulagira okukola wabula n'atabikola mu bugenderevu. Bw'aba ku ssomero, ojja kwesanga ng'ebimuweebwa okukola mu kibiina ebimu tabikola, ate abamu bagaana n'okugenda mu kibiina naddala bw'aba ng'omusomesa tamwagala.

Obuvunaanyizibwa bw'omuzadde mu kiseera kino kwe kutegeeza omwana ono akabi akali mu bikolwa by'okujeema n'engeri gye bisobola okumufi iriza emikisa gye egy'omu maaso.

Bw'olaba ng'omubuuliridde naye nga takyusa, kye kiseera omufunire abakugu mu kubudaabuda abaana bajja kumuyamba.

Ssinga omwana wo omulagajjalira mu kiseera kino ayinza okwegatta ku bibinja by'abaana ab'emize n'ekinaavaamu kulemwa misomo olwo ng'omulekedde ensi y'eba emugunjula ata nga tukimanyi nti egunjuza muliro!

Ebibonerezo eby'olutentezi bijja kugubya omwana wo

KINO kiri ku bazadde abalowooza nti okukaayuukira omwana buli kaseera kwe kumugunjula. Sso ng'ate emirundi mingi kimufuula bufuuzi kiwagi oba okutandika okwetya.

Omwana bw'atandika okwetya buli kimu akitya. Ne bw'otomuwa mmere ng'enjala emuluma, ye akulaga nti era abadde tannatuusa kwagala kulya. Sso nga bambi kimulumira muli munda naye ng'atya okwogera.

Ate n'akula n'agenda nakyo mu bulamu. Nga ne ku mulimu gy'ali atya okwogera ensonga entuufu kubanga aba alowooza nti okwogera ekituufu kiyinza okumuleetera akabasa.

Naye ate okutuntuza kuno bwe kumuleetera okuguba, afuukira ddala lumiramwoyo.

Ng'ensobi agikola agiraba naye ng'ekimuyinula kwe kuba nti ‘ndaba bajja kunkuba bukubi (oba ekibonerezo ekirala kyonna) kiggwe'.

Abamu ku bazzi b'emisango egibatuusa n'okugenda mu makomera, bakuliramu nnyo omutima guno.

Omusango aguddiza ddala ng'agumanyi.

Naye ng'enkola y'abazadde ey'okuwanga omwana ono ebibonerezo ate nga bikakali y'etuusa omwana mu mbeera eno.

Kubanga ggwe lwaki ogula oluga n'olussa awaka n'ogamba abaana nti ‘luno lwakubakuba' kyokka nga tewannabaawo nsobi ze bakola?

Kati omwana naye ekibonerezo ky'oluga akiteeka mu bwongo ne kiba nga ne bw'okimuwa tekikyamukyusa bwongo.

Ekibonerezo ekigolola omwana ettumba ky'ekyo ky'atasuubira, nga si kya kutulugunya ate nga si kya lutentezi.

Omuzadde buli lw'oba n'ekibonerezo eky'olutentezi ky'owa abaana, batuuka ne bakimanyiira nga ne bw'okibawa kibakoona bbali nga mudalizo.

Era olwo kiba kisebbuuse nga tekikyayamba mu kugunjula mwana. Kubanga ogenda okukimuwa nga yakyetegekedde dda.

Bwe kiba kya kubamma mmere nga y'enkola yo, banne aba yabayisizzaamu dda olukwe bagikukuse bagimuwe, oba okulya ku muliraano.

 kubonereza omwana buli kiseera kimugubya Okubonereza omwana buli kiseera kimugubya.

 

Bwe kiba nti obakubisa luga, olwo empale ayambala ttaano n'agattako n'okusiba ennyama, kati ggwe n'omubonereza naye nga ye asigadde nga bw'ali talina ky'afunyeemu.

Sso ng'okwogera n'omwana ne bw'oba tokaalaamuse, nalyo ddagala eriyinza okumugunjula. Ate n'avaawo nga naye awotose kubanga abeera alabye ensobi ye.

Ekikyamu kwe kuba nti oluusi abazadde kye bayita okwogera n'omwana kuba kwogera na mwana ono ng'oboggoka, omuvuma oba okumusooza.

Era naye omwana ebyo n'abimanyiira. N'atandika n'okukuyita amannya amapaatiike agaggyayo naawe empisa zo. Olwo omwana aba agubye.

Ekibi, ne gy'agenda yonna ne bw'aba akuze, eby'okumunenya kuba asobezza abitwalira mu kuguba okwo. Ne biba nga bimuyita ku mutwe nga nviiri!

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bugembe ng'abuulira enjiri mu kusabira omugenzi Yiga.

Jjengo tolwana ntalo za kit...

Omusumba w'Ekkanisa ya Worship House e Nansana akubirizza Omusumba w’Ekkanisa ya Revival Christian Church Kawaala,...

Abakuumaddembe nga bakunguzza omuvubuka.

Abaabadde bakola effujjo mu...

Abavubuka abaagenze mu kuziika omugenzi Pasita Yiga Abizzaayo e Kawaala ku Lwomukaaga kyokka ne badda okunoonyeza...

Abatuuze nga basobeddwa mu lusuku lwa munnaabwe olwasaayiddwa.

Abantu ab'ettima basaayidde...

ABANTU ab'ettima abatannaba kutegeerekeka bakakkanye ku lusuku lw'omutuuze Jane Namakula 45, ow'e Kyassenya oluwezaako...

Katikkiro Mayiga awabudde a...

KATIKKIRO wa Buganda, Charles Peter Mayiga awabudde Abasumba b'Abalokole okukomya okwerumaaluma. Yabadde agenze...

Abakyala nga bagabana ssente ze bazze batereka.

Omuntu anaakulaakulana alin...

ABAKUGU bagamba nti omuntu anaakulaakulana alina okweresa n’afissa ku ssente z’afuna n’atereka okusobola okugaziya...