TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Kikyamu abaana bo okusiibanga ku muliraano olw'obutagula byakulya waka

Kikyamu abaana bo okusiibanga ku muliraano olw'obutagula byakulya waka

Added 16th June 2020

OBUMU ku buvunaanyizibwa bw’omuzadde obusooka kufuba kufunira baana be mmere ebamala okulya ne bakkuta. Kino kiwa omuzadde okwewulira nti ddala amaka ge agali mu mitambo.




Kino kiwa abaana okumukkiririzaamu n'asobola okubagunjula obulungi. Kubanga tolina maanyi ganaagaana mwana kugenda kuzannyira ku muliraano nga naawe okimanyi nti gy'ajja okufuna ekyokulya.

Ne bw'afubutuka bufubutusi mu nju n'agenda nga tamaze na kukubuuza ku makya, okoteka bukotesi mutwe. Kubanga naawe ensonga obeera ogimanyi nti, ‘akuwa okulya y'akutwala omuluka!' Kati awo n'osigala kweyogeza ng'omwana wo bw'ayagala ennyo ewa muliraanwa.

Kyokka ng'ensonga ogimanyi bulungi nti walemwa obuvunaanyizibwa bwo obusookerwako kati kino ne kikuziba omumwa nga tokyayogera ku nsobi za mwana ono ne bw'oba oluusi ozirabye. Okwata otya omwana n'omutwala ewa jjajjaawe akulire eyo ng'omukazi omukadde ono tamukusabye.

Olowooza nti akyalina amaanyi ge yalina ng'akutuka naawe okukukuza? Kyokka nno kino okikole nga ggwe oliko obuzibu, wabula emirundi egisinga waba tewali nsonga okuggyako nti oyagala kubeera mu kibuga ng'okuba muleeyi; kye bayita okulya obulamu.

Kubanga ky'olina okumanya nti, ‘omuto mbuzi, erundwa wa kamwa.' Kati omukazi omukadde (maama wo) eyakukuza, lwaki omutikka omulimu ogwo gwe yakola okugunjula ggwe nga n'amaanyi awamma mawamme?

Kubanga ne bw'aba yandyagadde nnyo okugunjula omuzzukulu, oluusi amaanyi agaamukendeerako edda gamutimawa n'atuukiriza ‘eky'omuyonjo omutono bwe gukyamya enkoko ekyensuti.'

Kati omwana gw'otakuzizza omunenyeza otya empisa z'alina? Ne bwe baba bakutenda omunenya olekamu. Kubanga tomanyi oba ku muliraano gy'asiiba bwe bamugamba.

Ate ng'oluusi oba otya okwogera ennyo ng'oyinza okunyiiza muliraanwa omwana n'amugaba obutalinnya wuwe ate nga y'akumuliisiza. Kati nno awo n'okafi iramu. Ne bw'adda ekiro ne weefuula atakirabye.

N'okoteka omutwe. Naye abazadde bwe batyo mumanye nti kyangu omwana okukozesa akakisa ako; ggwe k'olowoolezaamu nti ali wa muliraanwa, okugenda ne mu bikolwa ebirala ebimwonoona. Era nga w'olimanyira nti omwana yawaba dda ng'oluusi afuuse akaakyama amamera!

Ate era n'empisa z'aggya ewa muliraanwa toyinza kumanya. Oluusi tulaba mayumba naye ng'ekiri omwo, kirala.

OBUMU ku buvunaanyizibwa
bw'omuzadde obusooka kufuba
kufunira baana be mmere ebamala
okulya ne bakkuta. Kino kiwa
omuzadde okwewulira nti ddala
amaka ge agali mu mitambo. Kino
kiwa abaana okumukkiririzaamu
n'asobola okubagunjula obulungi.
Kubanga tolina maanyi ganaagaana
mwana kugenda kuzannyira ku
muliraano nga naawe okimanyi nti
gy'ajja okufuna ekyokulya.
Ne bw'afubutuka bufubutusi
mu nju n'agenda nga tamaze na
kukubuuza ku makya, okoteka
bukotesi mutwe. Kubanga naawe
ensonga obeera ogimanyi nti,
‘akuwa okulya y'akutwala omuluka!'
Kati awo n'osigala kweyogeza
ng'omwana wo bw'ayagala ennyo
ewa muliraanwa.
Kyokka ng'ensonga ogimanyi
bulungi nti walemwa obuvunaanyizibwa
bwo obusookerwako kati
kino ne kikuziba omumwa nga
tokyayogera ku nsobi za mwana
ono ne bw'oba oluusi ozirabye.
Okwata otya omwana n'omutwala
ewa jjajjaawe akulire eyo
ng'omukazi omukadde ono tamukusabye.
Olowooza nti akyalina
amaanyi ge yalina ng'akutuka
naawe okukukuza? Kyokka nno
kino okikole nga ggwe oliko obuzibu,
wabula emirundi egisinga
waba tewali nsonga okuggyako
nti oyagala kubeera mu kibuga
ng'okuba muleeyi; kye bayita
okulya obulamu. Kubanga ky'olina
okumanya nti, ‘omuto mbuzi,
erundwa wa kamwa.' Kati omukazi
omukadde (maama wo) eyakukuza,
lwaki omutikka omulimu ogwo
gwe yakola okugunjula ggwe nga
n'amaanyi awamma mawamme?
Kubanga ne bw'aba yandyagadde
nnyo okugunjula omuzzukulu,
oluusi amaanyi agaamukendeerako
edda gamutimawa n'atuukiriza
‘eky'omuyonjo omutono bwe
gukyamya enkoko ekyensuti.'
Kati omwana gw'otakuzizza
omunenyeza otya empisa z'alina?
Ne bwe baba bakutenda omunenya
olekamu. Kubanga tomanyi
oba ku muliraano gy'asiiba bwe
bamugamba. Ate ng'oluusi oba
otya okwogera ennyo ng'oyinza
okunyiiza muliraanwa omwana
n'amugaba obutalinnya wuwe ate
nga y'akumuliisiza. Kati nno awo
n'okafi iramu. Ne bw'adda ekiro
ne weefuula atakirabye. N'okoteka
omutwe. Naye abazadde bwe
batyo mumanye nti kyangu omwana
okukozesa akakisa ako; ggwe
k'olowoolezaamu nti ali wa muliraanwa,
okugenda ne mu bikolwa
ebirala ebimwonoona. Era nga
w'olimanyira nti omwana yawaba
dda ng'oluusi afuuse akaakyama
amamera!
Ate era n'empisa z'aggya ewa
muliraanwa toyinza kumanya.
Oluusi tulaba mayumba naye
ng'ekiri omwo, kirala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ebiragiro by'akakiiko k'ama...

EBIRAGIRO by'akakiiko k'amasaza bitemyemu abaddukanya ttiimu ezenjawulo ng'abamu babiwagira ,ate ng'abalala bawera...

Aba akeedi bawanjagidde Gav...

ABAKULEMBEZE ba KACITA balabudde nti bavudde ku nkola y'akakiiko akassibwaawo okulambula akeedi mu Kampala okukakasa...

Dr. Emmanuel Diini Kisembo eyaloopa omusango gw'ebyokulonda

Omusango ogwawaabirwa akaki...

KKOOTI enkulu etuula ku Kizimbe kya Twed Towers mu Kampala etandise okuwulira omusango ogwawaabirwa akakiiko k'ebyokulonda...

Omubaka Kato ekyenda bakizz...

OMUBAKA Kato Lubwama owa Lubaga South asulirira kusiibulwa oluvanyuma lw’ekyenda ekibadde kikuumirwa ebweru w’olubuto...

Kajoba azzeemu okukwatagana...

Ku wiikendi Vipers SC yawadde omutendesi Kiwanuka endagaano ya myaka ebiri okumyuka omutendesi Fred Kajoba ng’ono...