
Muganzi wo gy'awandiikira mu ssimu ye ng'akuyita Darling, Sweetheart, Honey, Engel n'ebirala, abalala babadde babayita amannya g'otoyinza kwefumiitiriza nga Ddereeva, Porter, omuzimbi, owa Balugu, Rolex, poliisi, Wire n'amalala.
Bangi babadde baawandiika amannya ag'engeri eno mu ssimu zaabwe nga ge bayita baganzi baabwe oba bakyala baabwe be batera okubeera nabo mu bwenzi ne mu mukwano ogw'enkukutu nga tebaagala be bali nabo okubeekengera ssinga wabeerawo akubye.
Waliwo gwe nasanze anyumiza banne nti okwewala mukazi we okumubuuza ku muganzi we ayitibwa Namusoke, mu ssimu yateekamu Musoke. Abalala bw'abeera Nalubwana n'amutuuma Lubwama n'amalala.
Ekibakozesa bino byonna kubeera kwekengera mukazi we oba muganzi we nti ssinga wabaawo akubye essimu, bw'alabako erinnya ly'omusajja tamussaako nnyo mutima.
N'abakazi nabo bwe batyo bwe bakola ng'erinnya lya munne gw'akukuta naye mu mukwano amutuuma lya kikazi nga bw'abeera alina Yiga amuwandiika mu ssimu nga Nayiga, Joseph n'amuyita Josephine n'amalala.
Naye bw'obeera ogoberedde abali enkola eno, muganzi we oba mukyala we bw'abeerako oli n'akuba essimu, by'ayogera tebitera kummuka, olulala n'awuunabuwuunyi oba okulabula nti waali tali ‘safe'.
Ku WhatsApp babadde batera okuzibeerako nga beekweka nga munne bw'ajja akyusa mangu n'agenda ku muntu omulala.