
Mu kiseera we twalabaganira nali nsoma S3. Omukwano gwaffe gwatandikira mu ggiya ya maanyi nga twesuubiza ensi n'eggulu omwali n'embaga.
Nga wayise ebbanga, yahhambanti takyasobola kumala bbanga ddene nga tali nange n'ansaba anzigye mu kyalo e Rukungiri andeete e Kampala ampangisize tutandike okubeera ffembi wadde bazaddde baali tebakimanyiiko. Emyezi ebiri nga ntuuse e Kampala nafuna olubuto.
Bwe nategeeza baze teyasanyuka nga bwe nnali nsuubira. Yatandika okukyusa enneeyisa nga bwe mubuuza tannyanukula.
Eyali ambuuza nga tannyanukula, eyali ampaana nga takyakikola. nga n'oluusi agaana okugula emmere awaka. Landiroodi yatugoba mu nnyumba gye twali tupangisa olw'okuba baze yali alemereddwa okusasula ssente. Nasigala mu muzigo nga nsasula mpolampola era mu kiseera ekyo we nazaalira.
Natuuka ne nnemererwa nga bw'omanyi embeera okutali buyambi bwa musajja. Mu kiseera ekyo nnali sirina kyakukola okuggyako okuddukira ewa mulamu wange gye mbadde okumala omwaka.
Eby'embi eno embeera yannemeredde olwa mulamu wange okungoba ng'agamba nti akooye okutuliisa.
Nsaba ebibiina oba ofiisi eyinza okunnyamba banziruukirire kuba omusajja tampa buyambi simanyi na gy'ali.