TOP

Buli musajja gwe nfuna andekawo

Added 3rd July 2020

NZE Joan Nankya mbeera Kyebando mu zzooni ya Kanyanya. Twasisinkana ne baze my 2017 e Bwaise mu mbaawo nga ntambuza caayi ate ye ng’akola mu mbaawo. Yali omu ku bakasitoma bange.





Yatandika okunfuula mukwano gwe ng'awaana caayi wange nga bw'asinga okuwooma n'ebirala abasajja bye boogera.

Nze saabifangako kubanga abasajja nali mbalabye nga mbamanyi bulungi. Obudde obusinga nabuwanga mulimu gwange.

Omusajja namwegobako kyokka yasigala ajja gyendi okutuusa lwe nakkiriza ne tutandika okwagalana.

Baze yansaba tutandike okubeera ffembi nga wayise akabanga. Nalwawo okukkiriza olw'ebizibu bye nnali mpiseemu kyokka ono yannemerako.

Namala ne mmukkiriza ne tutandika okubeera ffena mu bufumbo nga tukkaanya bulungi.

Namuzaalira abaana babiri nga wayise ebbanga kyokka lwakya lumu omusajja n'atandika okunneekyangirako awatali nsonga. Nakanya kumubuuza ekyali kimutabudde ensobi bw'eba yange neetonde naye nga tambuulira.

Olunaku lwe yakeera n'akwatamu ebibye n'atuleka mu nju n'abaana sisobola kulwerabira. Twagenda okuzuukuka kumakya nga tewali kintu kye kyonna mu nnyumba. Nakanya kukuba ku ssimu ye nga buteerere. N'okutuusa kati, abaasooka nga bwe baagenda, n'ono bwe yandekawo.

Nsaba abazirakisa okunziruukirira kuba embeera entabuseeko sirina kyendiisa baana Ennamba yange eri 0706808183.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omumyuka wa Pulezidenti wa FDC Joyce Ssebuggwawo (ow’okubiri ku ddyo) ng’atongoza akakiiko k’ekibiina akagenda okuyigga obululu bwakyo mu Kampala ne Wakiso.

FDC etongozza akakiiko akan...

FDC etongozza akakiiko akagenda okunoonyeza abantu baayo akalulu mu Kampala ne Wakiso n’etegeeza nti Col. Kiiza...

Shakira Bagume ng'ayonsa bbebi we

Laba okusoomooza bamaama ab...

Okuyonsa abaana kyankizo nnyo eri abaana abawere era Maama yenna ateekeddwa okuyonsa kino kisobozese omwana okukula...

Aba LDU bazzeemu okukola eb...

ABASERIKALE b’eggye ekkuuma byalo erya LDU, bazzeemu okukola ebikwekweto okufuuza abateeberezebwa okubeera abamenyi...

Poliisi ng'eggyawo omulambo gwa Mukiibi

Omusuubi w'e Nakulabye yeek...

OMUSUUBUZI w’e Nakulabye omututumufu aguze amafuta ga petulooli ne yeekumirako omuliro mu kinaabiro emisana ttuku...

Abeegwanyiza entebe y'obwap...

EBBUGUMU lyeyongedde ku kitebe ky’akakiiko k’ebyokulonda abantu abeegwanyiza entebe y’obwapulezidenti bw’eggwanga...