TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Amenyese mu nsonga z'omukwano kola bino

Amenyese mu nsonga z'omukwano kola bino

Added 15th July 2020

ABAVUBUKA bangi bafuna abaagalwa nga balina ebintu eby’enjawulo bye basuubira okufuna. Oluusi beesanga ng’ebintu bino abaagalwa baabwe tebabituukirizza ekivaako okuva mu mukwano ogwo okudda awalala. Ne wano bavaawo ne beesanga nga bamenyese emitima emirundi mingi ekireetera abamu okukyawa eby’omukwano.

Abantu be bakyaye abasinga beeteekako omusango ne badda mu kweraliikirira bwe banaaba.

Abantu be bakyaye abasinga beeteekako omusango ne badda mu kweraliikirira bwe banaaba.





 

  1. Gwe amenyese omutima mu mukwano, kola bino okusobola okutereeza omutima n'obutaswala mu bantu.
  2. Bw'obeera oyawukanye n'omuntu fuba okulaba nti tomutambulirako kuba kijja kwongera kukulumya. Okwekuumira ewala okuva w'ali kijja kukuyamba obutalumizibwa.
  3. Togezaako kukola kintu kusanyusa muganzi wo abeera akuleseewo okusobola okumweddiza kuba oyinza okwesanga ng'ebintu ebimu by'okola bikuswaza mu bano.
  4. Tosiba busungu bw'olina ku muntu bw'aba akukyaye kuba bw'obutereka oyinza okukola ekikyamu. Okugeza abamu batta bannaabwe nga babakyaye olw'okusiba obusungu ku mutima. Teweesigama ku muntu mulala kukwerabiza oyo eyakukyawa kuba era naye weesanga tagenda kusobola kubeerawo ku lulwo bbanga lyonna.
  5. Ebiseera ebisinga omuwala bw'aba akyayiddwa, abeera n'abalenzi b'ayita mikwano gye . Bano b'atandika okukozesa okusobola okwerabira bba so ng'ate oluusi nabo baba n'abaagalwa ne beesanga nga basigadde mu bbanga.
  6. Ekisinga kwe kwegumya wekka n'ofuna ebikutwalira obudde okusobola okwerabira oyo aba yakukyawa.
  7. Teweesibaako musango kuba oyinza okwekola ekikyamu. Abavubuka abamu abakyayibwa balowooza nti be baavaako ensonga eyabakyayisa. Oba olina okukkiriza nti abantu abamu tebeetaaga nsonga kuleka bannaabwe era si gwe asoose oba asembye okukyayibwa.
  8. Kyusa engeri gy'okolamu ebintu oggyewo n'ebyo ebisobola okukujjukiza omwagalwa wo. Ebintu bino buli lw'obitunulako bikujjukiza eyali omwagalwa wo.
  9. Wettanire ebintu ebikukuuma nga buli kiseera olina ky'okola okugeza dduyiro kuba ayongera okuddusa omusaayi ate n'okukukuuma nga toli mu birowoozo. Kino kikuyamba obutalowooza ku kigenda mu maaso mu bulamu bwo.
  10. Dan Ddamulira owa Nana Counselling Services omukugu mu kubudaabuda abaagalana agamba nti kibeera kirungi obutasiba busungu kuba bangi beesanga nga bakoze ensobi ng'okuttihhaana.
ABAVUBUKA bangi bafuna
abaagalwa nga balina ebintu
eby'enjawulo bye basuubira
okufuna.
Oluusi beesanga ng'ebintu bino
abaagalwa baabwe tebabituukirizza
ekivaako okuva mu
mukwano ogwo okudda awalala.
Ne wano bavaawo ne beesanga
nga bamenyese emitima emirundi
mingi ekireetera abamu
okukyawa eby'omukwano.
1Gwe amenyese omutima
mu mukwano, kola bino okusobola
okutereeza omutima
n'obutaswala mu bantu.
2Bw'obeera oyawukanye
n'omuntu fuba okulaba nti tomutambulirako
kuba kijja kwongera
kukulumya. Okwekuumira ewala
okuva w'ali kijja kukuyamba
obutalumizibwa.
3Togezaako kukola kintu
kusanyusa muganzi wo abeera
akuleseewo okusobola okumweddiza
kuba oyinza okwesanga
ng'ebintu ebimu by'okola bikuswaza
mu bano.
4Tosiba busungu bw'olina ku
muntu bw'aba akukyaye kuba
bw'obutereka oyinza okukola
ekikyamu.
Okugeza abamu batta bannaabwe
nga babakyaye
olw'okusiba obusungu ku mutima.
Teweesigama ku muntu mulala
kukwerabiza oyo eyakukyawa
kuba era naye weesanga
tagenda kusobola kubeerawo ku
lulwo bbanga lyonna.
5Ebiseera ebisinga omuwala
bw'aba akyayiddwa, abeera
n'abalenzi b'ayita mikwano gye .
Bano b'atandika okukozesa okusobola
okwerabira bba so ng'ate
oluusi nabo baba n'abaagalwa
ne beesanga nga basigadde mu
bbanga.
6Ekisinga kwe kwegumya
wekka n'ofuna ebikutwalira
obudde okusobola okwerabira
oyo aba yakukyawa.
7Teweesibaako musango
kuba oyinza okwekola ekikyamu.
Abavubuka abamu abakyayibwa
balowooza nti be baavaako
ensonga eyabakyayisa. Oba olina
okukkiriza nti abantu abamu
tebeetaaga nsonga kuleka bannaabwe
era si gwe asoose oba
asembye okukyayibwa.
8Kyusa engeri gy'okolamu
ebintu oggyewo n'ebyo ebisobola
okukujjukiza omwagalwa wo.
Ebintu bino buli lw'obitunulako
bikujjukiza eyali omwagalwa wo.
9Wettanire ebintu ebikukuuma
nga buli kiseera olina
ky'okola okugeza dduyiro kuba
ayongera okuddusa omusaayi
ate n'okukukuuma nga toli mu
birowoozo. Kino kikuyamba obutalowooza
ku kigenda mu maaso
mu bulamu bwo.
10Dan Ddamulira owa Nana
Counselling Services omukugu
mu kubudaabuda abaagalana
agamba nti kibeera kirungi
obutasiba busungu kuba bangi
beesanga nga bakoze ensobi
ng'okuttihhaana.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Dodoviko (aliko ssaako) ne banne ku mukolo ogumu.

Ebipya ebizuuse ku Dodoviki...

DODOVIKO Mwanje gwe balumiriza okumenya ekkanisa bongedde okumufunza! Lt. Col. Edith Nakalema olwamaze okukwata...

Lukwago nga bamukwasa empapula za FDC

FDC ewadde Lukwago bbendera...

ESSUUBI lya Ssalongo Erias Lukwago okwesimbawo ku bwa Pulezidenti bw’eggwanga ku tikiti ya FDC mu 2021 likomye...

Omukuumi ng'atwala Trump

Engeri abakuumi ba Trump gy...

PULEZIDENTI wa Amerika, Donald Trump yabadde wakati mu lukung’aana lwa bannamawulire ng’attaanya ensonga ey’obutale...

Ekizimbe kya Mabiirizi ku Bombo Road. Mu katono ye Winnie Mabirizi

Nnamwandu wa Mabirizi asony...

ABAKULEMBEZE b'abasuubuzi basabye bannannyini bizimbe okutwala ekyokulabirako kya nnannyini kizimbe kya Nalubega...

Abakungu mu kibiina kya Gen.Muntu nga baslaa Cake okwaniriza Winnie Kiiza

Winnie Kiiza yegasse ku kib...

OMUBAKA omukyala owa Kasese, Winfred Kiiza yegaasse ku kibiina kya Alliance for National Transformation (ANT) n’aweza...