TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Ssenga- Omusajja yiga okwepimira ky'onoomalawo

Ssenga- Omusajja yiga okwepimira ky'onoomalawo

Added 16th July 2020

Abaabudaabuda bantu bawa abasajja amagezi nti nga tebannavaamu kigambo kisaba mukazi mukwano, basookenga kwepima balabe oba basobola okutikkula omukazi oyo omukwano gwalina n'ebyetaago bye. Bagamba nti kuno kwe bayita okwepimira. Kubanga omukwano okuseeyeeya ne gunyuma, gujja n'ebyetaago. Era oyo omukazi gwe weegomba aba abyetisse nga bw’omukwana aba asuubira nti ojja ku bimutikkula.





Ayinza okuba ng'ayagala kuzaala mwana, bufumbo, kusulanga mu kifuba kyo, okumanya ennyingizaayo ey'obusimooni oba okumutwalangako awutu buli wiikendi.  Kati bwe weepimamu nga toosobole kubimutikkula, tomutankuula na kumusokya bugambo obumuteeka mu muudu ate oluvannyuma odduke, otandike okumwekweka.

Bino ab'ekibiina ekibudaabuda abantu mu Bungereza bye baazuudde ne babifulumiza ku mutimbagano gwabwe ogwa https://www.helpguide.org/articles/relationships-communication/tips-for-finding-lasting-love.htm...

Baagambye era nti ne bwe muba mu kitanda, n'omanyi nti olina ebizibu byo ebiyinza okukulemesa okumutikkula, embeera ya muudu y'akaboozi togimuteekamu. Nti kubanga bo abakazi mu butonde bayinza okugumiikiriza ne babeerawo kasita watabeera abatakudde.

Y'ensonga lwaki abasajja babaleka ne bagenda ku byeyo, mu misoni nga zino ez'e Somalia oba safari ez'engeri zonna ne babasangawo.

Bwe baakyukidde abakazi, nabo baabawadde ebyabwe. Baabawadde amagezi nti bafubenga nnyo okupima abasajja ababa babakwana oba ddala balina obusobozi bw'okubatikkulanga ebyetaago byabwe.

Beewuunyizza ku mulembe guno omukazi bw'akkiriza okugenda n'omusajja atalina mulimu, wadde essuubi ly'okugufuna! Talina mulimu gwa mikono gw'amanyi, abeera wa muganda we kyokka n'afuna amaanyi agakugambako!  Wano we baabuulizza nti omuntu ng'oyo omusuubira otya nti ajja kukulabirira (okukutikkula ebirooto byo)? Kubanga ne bw'omuzaalira omwana, okumulabirira luba lutalo.

Ye nga tonnazaala, anaakugulira mateneti mw'onoonywera eddagala? Atalina ssente tafumita lindaazi n'abasajja bwe bati baabawadde amagezi basookenga kukola nnyo balyokenga batandikenga okufuna amaanyi agakuba abakazi obwama.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bushira ng’akyali ne Dr. Ssebunnya. Ku ddyo, Kamya yasibye Bushira empeta ya nkusibiddaawo.

Bba wa Rema gwe yaleka afun...

OMUWALA Dr. Hamza Ssebunnya bba w’omuyimbi Rema Namakula gwe yalekawo ayanjudde omusajja omulala ne bamusoomooza...

Daddy Andre eyayanjuddwa Nina Rose. Ku ddyo ye muyimbi Katatumba

Angella Katatumba ali mu ki...

OMUYIMBI Angella Katatumba ali mu kiyongobero olwa muyimbi munne Nina Rose okutwala muninkini we, Daddy Andre n’amwanjula...

Abaserikale nga bakunya omusajja eyabadde n'emmundu.

Bamukutte n'emmundu mu luki...

POLIISI ekutte omusajja eyabadde n’abawagizi ba Joe Biden n’emmundu ejjudde amasasi okumpi n’olukuggaana lwa Pulezidenti...

Dokita ng'agema omwana polio.

Polio taggwangayo - Dokita

GAVUMENTI erabudde Bannayuganda ku bulwadde bwa polio ne balagirwa obutabugayaalirira bayongere okutwala abaana...

Ababbi kkamera be yakutte nga banyaga edduuka e Bunnamwaya.

Kkamera zikutte ababbi nga ...

ABABBI balumbye edduuka ly’ebizimbisibwa e Bunnamwaya ne banyaga ebintu nga tebamanyi nti kkamera ezaabadde munda...