TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Abakugu bazudde nga abasajja abatigiinya essimu ng'essaawa y'ekigwo etuuse tebamalaako

Abakugu bazudde nga abasajja abatigiinya essimu ng'essaawa y'ekigwo etuuse tebamalaako

Added 16th July 2020

Abakugu bazudde nti abasajja abayingira obuliri okunyuma akaboozi ne basookera ku kutigiinya essimu essimu, bakendeeza ku nkuba ya saluti zaabwe ekintu ekinyiiza abaagalwa baabwe.

Baagambye nti amasannyalaze agatambulira mu ssimu ezo eza Seereza (smart phone) gakosa omusajja bw'ageesembeereza ku ssaawa eri ng'etuuse, gakendeeza amaanyi ge ag'ekisajja naddala eri abasajja abo nga bw'ogatta essaawa ze bamala ku ssimu zino ziwera 18 ku 24 eziri mu lunaku. Era omusajja alina enkola bweti, singa aba tagyekutuddeeko, eyinza okumufuula owookuyimbiranga ...Tengerere...! ng'atuuse mu buliri okubaako ky'akola.

Bino bye biri mu kunoonyereza okwakoleddwa abakugu mu kukebera obwongo abaakulembeddwa Polof. Sharon Gilchrest O'Neill ne Denise Knowles abo mu Amerika ne bifulumira ku mutimbagano gwa https://www.mirror.co.uk/lifestyle/sex-relationships/modern-life-killing-your-sex-9258332.

Abakugu bano era baazudde nti ng'oggyeeko okufuula saluti z'abasajja abayiseemu amasannyalaze g'essimu zino ekipiirapiira, amasimu gano era gakendeeza ku bwagazi bw'abasajja kubanga batandika okugeraageranya bakyala baabwe n'embooseera z'abawala ze baba balabye ku mutimbagano. Ate nno nga bali abo ku mutimbagano, kompyuta ze ziba zibanyirizza oluusi naye ne basula abasajja bano amatu.

Olulala n'abasajja bano ne batandika okwenyooma nti tebalina sitayiro z'akaboozi ze bakola nga balabye ku ezo eziri ku mitimbagano; ezibaamu okwekola obusolosolo oluusi obuyinza n'okukumenya omugongo ng'obwetaddeko.

Abakugu bano kye baavudde bawa amagezi nti kyandibadde kirungi omusajja anaanyumya kaboozi okwewala essimu ng'ekyabula essaawa nga nnamba okwekkata mu buliri. Mpozzi nga waliwo ensonga ennyo.

Era nti bwe mutandika okwenoonya, essimu zandibadde zivaako kubanga oluusi obubaka obujjirako busobola okutwala muudu yonna gye muba muzimbye, ssemusajja ne yeeveera, munno n'aviiramu awo. Amagezi gano baagambye nti gazingiramu n'abakyala.

Kubanga wadde oluusi baba baagala okutunula ku mutimbagano gw'essimu zino bakoppeyo sitayiro, naye emirundi mingi gye biggweera nga bireetedde omukazi obutekkiririzaamu nti ddala naye akikola bulungi.

Ate ng'emu ku mpagi ezifuga akaboozi kwe kuba nga wekkiririzaamu nti ddala omanyi okucanga.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bushira ng’akyali ne Dr. Ssebunnya. Ku ddyo, Kamya yasibye Bushira empeta ya nkusibiddaawo.

Bba wa Rema gwe yaleka afun...

OMUWALA Dr. Hamza Ssebunnya bba w’omuyimbi Rema Namakula gwe yalekawo ayanjudde omusajja omulala ne bamusoomooza...

Daddy Andre eyayanjuddwa Nina Rose. Ku ddyo ye muyimbi Katatumba

Angella Katatumba ali mu ki...

OMUYIMBI Angella Katatumba ali mu kiyongobero olwa muyimbi munne Nina Rose okutwala muninkini we, Daddy Andre n’amwanjula...

Abaserikale nga bakunya omusajja eyabadde n'emmundu.

Bamukutte n'emmundu mu luki...

POLIISI ekutte omusajja eyabadde n’abawagizi ba Joe Biden n’emmundu ejjudde amasasi okumpi n’olukuggaana lwa Pulezidenti...

Dokita ng'agema omwana polio.

Polio taggwangayo - Dokita

GAVUMENTI erabudde Bannayuganda ku bulwadde bwa polio ne balagirwa obutabugayaalirira bayongere okutwala abaana...

Ababbi kkamera be yakutte nga banyaga edduuka e Bunnamwaya.

Kkamera zikutte ababbi nga ...

ABABBI balumbye edduuka ly’ebizimbisibwa e Bunnamwaya ne banyaga ebintu nga tebamanyi nti kkamera ezaabadde munda...