TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Engeri gy'oyagazisa omwana emirimu gy'awaka

Engeri gy'oyagazisa omwana emirimu gy'awaka

Added 22nd July 2020

EKISEERA kya kalantiini eyaleetebwawo ssennyiga omukambwe kye tulimu kiwadde abayizi oluwummula oluwanvu okusinga ku ze baali babadde nazo, nga kati giri mu myezi ena ate nga tewali amanyi oba nga banaddayo okusoma omwaka guno.

Abaana nga bawaata amatooke ne nnyaabwe

Abaana nga bawaata amatooke ne nnyaabwe






Ebimu ku bintu ebikubirizibwa abazadde mu luwummula luno olutali lugere, kwe kuyigiriza abaana emirimu gy'awaka bagikugukemu. Naye abaana bangi tebaagala kukola mirimu, ebiseera byabwe ebisinga baagala kuzannya na kulaba ttivvi.

Maxensia Nakanjakko, omutuuze w'e Kabowa era nga mukugu mu kubuulirira abaana n'abafumbo agamba nti, ekiseera kino, buli mwana asaana okuba n'omulimu ogumukakatako nti gundi akola kino, awatali kusooka kumulagira, ng'alina n'obudde obugere bw'alina okugukoleramu. Era omuzadde asaana afube okulaba nti omulimu ogwo agukola bulungi ne gutuukirira.

Kyetaagisa okukyusakyusa emirimu egyo, ono bw'aba ye yafumbye emmere wiiki eno, ate wiiki ejja omulala agifumbe, ono naye akole omulimu omulala.

Okuwaanyisiganya mu mirimu kiyamba abaana okuyiga buli mulimu ogukolebwa awaka. "Omwana okuyiga emirimu gy'awaka bwe bukugu obusooka era obukulu ennyo mu bulamu bwe ne mu nsi gy'alaga mu maaso kubanga gimuwa obukugu obwetaagisa omuli; okwekubiriza, okuyiiya, okukwata obudde, obukozi n'ebirala," bwatyo Nakanjakko bw'agamba.

Cissy Nannyondo amanyiddwa nga Muzaana, awa abazadde amagezi ku ngeri gye basobola okwagazisa abaana baabwe okukola emirimu nga basanyufu;

1 Beera ekyokulabirako. Ggwe kennyini okwenyigira mu mirimu kyanguyira n'abaana okugikola nga balaba naawe gwe batwala ng'ekyokulabirako kyabwe ogikola. Omuzadde sooka obeere ekyokulabirako n'abaana bajja kukola ate nga basanyufu.

2 Teekawo akasiimo ssinga bakola bulungi emirimu. Abaana bwe bakola naawe omuzadde n'obasiima kibazzaamu amaanyi, era ojja kwesanga nga buli omu yeenyigiramu. Ebirabo ebibaweebwa ng'obasiima kibayamba okukola nga basanyufu. Omwana oyinza okumusiima ne ssente, olugoye, sswiiti oba n'ekintu ekirala kyonna ekimusanyusa. Ate bwe wabaawo awatateredde omugambe nti, yongeramu amaanyi okole bw'oti oyongere okutereeza, ajja kukikola n'essanyu atandike n'okweragira kubanga akirabye nti omusiimye.

3 Emirimu togifuula kibonerezo. Abazadde abamu emirimu bagifuula ebibonerezo, omwana bw'asobya gwe balagira okugikola. Kino kikyamu kuba kikyayisa abaana okukola. Babonereze olw'obutakola mirimu so ssi kubawa mirimu ng'ekibonerezo olw'ebikyamu bye baba bakoze.

4 Okuteekawo empaka mu nkola y'emirimu awaka, ng'asinga okukola obulungi n'okukolera mu budde obugere y'abeera omuwanguzi, buli omu ajja kufuba okukola obulungi naye abeereko omuwanguzi.

5 Pima obudde. Abaana tobawa buwi mirimu okukola, giteekeko obudde, okugeza; njagala afumba emmere ku ssaawa musanvu tube nga tulya, engoye njagala okuwera ssaawa bbiri nga ziri ku waya, kijja kubayamba Omwana mufuule mukwano gwo nga ne bw'oba omutumye emirimu tasobola kugyekaanya kubanga oli mukwano gwe era ajja kufuba okugikola agituukirize okukusanyusa nga mukwano gwe.

6 Ebibonerezo nabyo tetusaanye kubyerabira kubanga biteekamu abaana obuvunaanyizibwa, nti singa takola bulungi mulimu gumuweereddwa, abonerezebwa. Kale bw'aba akola emirimu gye okugituukiriza mu budde ate alina okukimanya nti alina okugikola obulungi kubanga eriyo ebibonerezo singa aba akoze bubi.

7 Mupimire by'asobola. Omwana muwe omulimu okusinziira ku busobozi bwe, awo ajja kugukola bulungi nga musanyufu kubanga agusobola, ssi kumutikka mirimu mizito ku ye. Omwana bw'omutikka ky'atasobola kimwetamya emirimu ne yeekyawa okukola emirimu kubanga aba ng'atulugunyizibwa.

9 Emirimu egisoboka giteekemu obuzannyo. Olw'okuba abaana baagala nnyo okuzannya, emirimu giteekemu ku muzannyo okugeza; osobola okuteekawo omupiira oba omuguwa n'obagamba banguye emirimu muzannye omupiira oba mubuuke omuguwa, bajja okukola emirimu mu bwangu ate nga baagala kubanga obasuubizza kye baagala.

8. Omwana mufuule mukwano gwo nga ne bw'oba omutumye emirimu tasobola kugyekaanya kubanga oli mukwano gwe era ajja kufuba okugikola agituukirize okukusanyusa nga mukwano gwe.

10 Okwebaza n'okusiima. Buli akola obulungi asiimibwa. Omwana buli lw'akola obulungi muzzeemu amaanyi ng'omwebaza, ne bw'aba tatuukirizza bulungi sooka omwebaze ayongere okwagala okukola, olwo ate omuwabule bw'aba alina ky'atatuukirizza bulungi.

Bw'aba ava ku luzzi mubudeebude ng'omunyoolako mu nsingo kubanga abeera yeetisse nga bw'omuwaana okubeera omwana omulungi akola emirimu. Kino kijja kumusanyusa, ayagale buli kiseera okubaako ky'akola kubanga abeera akimanyi nti omusiima.

Oyinza okusalawo okubafumbira emmere oba enva ze basinga okwagala ng'obeebaza emirimu gye bakola awaka, ate bwe muba mulya n'obaddizaayo ku kifi ky'ennyama oba enkoko, nti, gundi kwako wasiimudde bulungi ennyumba, kibazzaamu amaanyi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Olukiiko lwa NRM e Bukasa L...

WABADDEWO okusika omuguwa ku Ofiisi za NRM e Bukasa-Masozi mu Ggombolola y'e Bweyogerere mu Munisipaali y'e Kira...

Aba Takisi mu ppaaka y'oku ...

WABALUSEWO obutakanya mu ba takisi mu  ppaaka y'oku kaleerwe ekiwayi ekimu bwe kirumirizza nanyini ttaka kwe bakolera...

Nalweyiso ng'atottola obulamu bw'ekkomera

Gwe baakwatira mu Curfew ne...

OMUYIMBI  eyakwatibwa olw'okugyemeera ebiragiro bya pulezidenti oluvudde mu kkomera e Kigo nayiiya oluyimba lw'atumye...

Abaabadde batendekebwa okuyamba abakoseddwa mu mataba.

Ab'e Kasese abaakosebwa ama...

ABANTU b'e Kasese abaakosebwa amataba olw'omugga Nyamwamba okwabika bakyalaajanira gavumenti okubayamba waakiri...

 Abdallah Mubiru ng'ayogerako n'abazannyi be

Mubiru atendeka Police FC a...

OMUTENDESI wa Police FC, Abdallah Mubiru, aweze nga sizoni ejja bw’alina okulaba nga ttiimu ye evuganya ku bikopo....