TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Omukazi lw'atulugunya bba mu kisenge

Omukazi lw'atulugunya bba mu kisenge

Added 22nd July 2020

ABAKAZI bangi ennaku zino balina engeri gye batulugunya abasajja nga bali mu kisenge! Abamu bwe babeera n’ekibanyiizizza, obusungu babutwala ne mu buliri ekireetera abasajja abasinga okuggwaamu amaanyi oba okubulwa apetayiti y’ensiitaano.




Bwe babeera beebaka bombi, omukazi ayinza okwesenda ne yeebakira ddala ku kabebenu k'ekitanda nga tayagala musajja kumusemberera.

Ye omusajja ne kamutanda n'amusemberera oba okumukwatako, ayinza okumuboggolera nti, "twala eri agagalo, nze saagala kunkwatako nnina ebizibu byange.

Abalala beesogga obuliri nga mu nnayiti bambaliddemu ebipale okuli n'oluwuzi n'alusiba ng'omusajja talina kakisa konna kuyisaamu mukono kumutuukako.

Bw'oba okyali ku abo ne zireeta abaleeta abaana mu buliri nga be bakozesa nga ekyokulwanyisa kyabwe. Babaddira mu babateeka wakati mu buliri ng'omusajja akuluubirizibwa okwegazaanya n'okukola ky'ayagala.

Abamu bamanyi n'okubazuukusa nga beebase atere alemese omusajja okubaako kye yeekolera. Mubeeramu abayingira ekisenge ne bayomba okuva lwe mukyesogga okutuusa otulo lwe tubatwala.

Oluusi bayombera nsonga za nsiitaano naddala ng'omusajja takyalina mbavu bulungi. Ye omusajja n'amala amuteeka mu muudu wabula n'alemwa okubaako ky'akola, gujabagira!

Olulala kubeera kulemwa kutuukiriza ebyatumiddwa omusajja okugula oba okukolako. Olwo bayomba era abasinga babinnyuka nga waliwo otulo gwe tututte. Mulimu abakyala abatasonyiwa oba okwerabira.

Ab'engeri eno bwe bayomba bakujjukiza n'ensobi ze wakola emyaka nga etaano emabega oba okusingawo olwo omusajja ne yeetamwa ekisusse.

Dan Ddamulira abuulirira abaagalana n'abafumbo owa NANA counselling services agamba nti omukazi buli lw'ajja mu kisenge ng'aliko obusungu ayinza okubulwa muudu y'okusanyusa omwagalwa we.

Awa amagezi nti ensonga ezimalako abasajja obwagazi baleme kuzirinza kitanda. Ddamulira agamba nti ekizibu ekirala ekiva mu kutulugunya omusajja mu kitanda oba mu kisenge kwe kubaliga mu mukwano n'anoonyaayo abayinza okumuwa emirembe. Abalala bubeera butabanguko mu maka.

ABAKAZI bangi ennaku zino
balina engeri gye batulugunya
abasajja nga bali mu kisenge!
Abamu bwe babeera
n'ekibanyiizizza, obusungu babutwala
ne mu buliri ekireetera
abasajja abasinga okuggwaamu
amaanyi oba okubulwa apetayiti
y'ensiitaano.
Bwe babeera beebaka bombi,
omukazi ayinza okwesenda ne
yeebakira ddala ku kabebenu
k'ekitanda nga tayagala musajja
kumusemberera.
Ye omusajja ne kamutanda
n'amusemberera oba okumukwatako,
ayinza okumuboggolera
nti, "twala eri agagalo, nze saagala
kunkwatako nnina ebizibu
byange.
Abalala beesogga obuliri nga
mu nnayiti bambaliddemu ebipale
okuli n'oluwuzi n'alusiba
ng'omusajja talina kakisa konna
kuyisaamu mukono kumutuukako.
Bw'oba
okyali ku abo ne zireeta abaleeta
abaana mu buliri nga be
bakozesa nga ekyokulwanyisa
kyabwe.
Babaddira mu babateeka
wakati mu buliri ng'omusajja
akuluubirizibwa okwegazaanya
n'okukola ky'ayagala. Abamu
bamanyi n'okubazuukusa nga
beebase atere alemese omusajja
okubaako kye yeekolera.
Mubeeramu abayingira
ekisenge ne bayomba okuva lwe
mukyesogga okutuusa otulo lwe
tubatwala. Oluusi bayombera
nsonga za nsiitaano naddala
ng'omusajja takyalina mbavu
bulungi. Ye omusajja n'amala
amuteeka mu muudu wabula
n'alemwa okubaako ky'akola,
gujabagira!
Olulala kubeera kulemwa
kutuukiriza ebyatumiddwa
omusajja okugula oba okukolako.
Olwo bayomba
era abasinga babinnyuka nga
waliwo otulo gwe tututte.
Mulimu abakyala abatasonyiwa
oba okwerabira. Ab'engeri
eno bwe bayomba bakujjukiza
n'ensobi ze wakola emyaka nga
etaano emabega oba okusingawo
olwo omusajja ne yeetamwa
ekisusse.
Dan Ddamulira abuulirira
abaagalana n'abafumbo owa
NANA counselling services
agamba nti omukazi buli lw'ajja
mu kisenge ng'aliko obusungu
ayinza okubulwa muudu
y'okusanyusa omwagalwa
we. Awa amagezi nti ensonga
ezimalako abasajja obwagazi
baleme kuzirinza kitanda.
Ddamulira agamba nti ekizibu
ekirala ekiva mu kutulugunya
omusajja mu kitanda oba mu
kisenge kwe kubaliga mu mukwano
n'anoonyaayo abayinza
okumuwa emirembe. Abalala
bubeera butabanguko mu maka.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Olukiiko lwa NRM e Bukasa L...

WABADDEWO okusika omuguwa ku Ofiisi za NRM e Bukasa-Masozi mu Ggombolola y'e Bweyogerere mu Munisipaali y'e Kira...

Aba Takisi mu ppaaka y'oku ...

WABALUSEWO obutakanya mu ba takisi mu  ppaaka y'oku kaleerwe ekiwayi ekimu bwe kirumirizza nanyini ttaka kwe bakolera...

Nalweyiso ng'atottola obulamu bw'ekkomera

Gwe baakwatira mu Curfew ne...

OMUYIMBI  eyakwatibwa olw'okugyemeera ebiragiro bya pulezidenti oluvudde mu kkomera e Kigo nayiiya oluyimba lw'atumye...

Abaabadde batendekebwa okuyamba abakoseddwa mu mataba.

Ab'e Kasese abaakosebwa ama...

ABANTU b'e Kasese abaakosebwa amataba olw'omugga Nyamwamba okwabika bakyalaajanira gavumenti okubayamba waakiri...

 Abdallah Mubiru ng'ayogerako n'abazannyi be

Mubiru atendeka Police FC a...

OMUTENDESI wa Police FC, Abdallah Mubiru, aweze nga sizoni ejja bw’alina okulaba nga ttiimu ye evuganya ku bikopo....