TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Omusajja gwe nneefunira katono anzitire mu nju

Omusajja gwe nneefunira katono anzitire mu nju

Added 27th July 2020

NZE Brenda Nakazibwe 18, mbeera Kyaka mu disitulikiti y’e ye Kyegegwa. Ku Lwokuna oluwedde, omwami wange yakomyewo awaka ng’omusujja gumuluma n’agaana okulya ekintu kyonna era ne yeebaka.

Nakazibwe n’omwana. Omukono ku kkono gwe gwakoseddwa ennyo.

Nakazibwe n’omwana. Omukono ku kkono gwe gwakoseddwa ennyo.





Wabula mukwano gwange omuwala bwe yazze okumulaba n'okutusaasira, nansaba ng'ende naye atuwe ku muceere gwe yafumbye ndabe oba anaalyako era ne tugenda.

Olwagumpadde, nagumuleetedde kyokka nagwo n'agugaana era we yatandikidde okuyomba. Obudde bwe bwazibye ne ndowooza nti osanga yabadde abivuddeko kyokka ku ssaawa 6:00 ogw'ekiro, baze kwe kuzuukuka nga sitegedde n'aggulawo oluggi n'aleeta ettoffaali n'alinkuba ku mutwe.

Nasoose kulowooza nti osanga ababbi be baabadde batuyingiridde era kwe kukuba enduulu kyokka nagenze okwetegereza nga baze akutte ejjambiya agenda kuntema mutwe ne nkuba enduulu baliraanwa be bantaasizza ne baggulawo oluggi ne bamukwata. Wadde yabadde ankwasizza ebitundu ebimu ku mutwe. Bakira akola bino byonna nga bwannangira okubeera omwenzi.

Omusajja ono oluvannyuma baamukutte ne bamuggalira ku poliisi y'e Kyegegwa ate nze abatuuze ne bantwala mu ddwaaliro gye banzigye oluvannyuma ne bandeeta e Mulago nga embeera mbi.

Tubadde twakamala naye emyaka ebiri nga tulina omwana omu. Omusajja ono okunkwana, nnali mbeera ne taata wange omuto e Kyazanga ate nga ye akola gwa kusiika chapati era awo we twalabaganira nga ntera okugendayo okumugulako n'okunyumya naye. Omusajja ono tatuwa buyambi wadde okulabirira omwana era buli kimu nze nkitetenkanya.

Kati nasannyaladde omukono n'okugulu era ntambulira mu kagaali naye simanyi na wengenda kutandikira. Nsaba abazirakisa okunziruukirira nga ndi ku ssimu, 0783842675.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Olukiiko lwa NRM e Bukasa L...

WABADDEWO okusika omuguwa ku Ofiisi za NRM e Bukasa-Masozi mu Ggombolola y'e Bweyogerere mu Munisipaali y'e Kira...

Aba Takisi mu ppaaka y'oku ...

WABALUSEWO obutakanya mu ba takisi mu  ppaaka y'oku kaleerwe ekiwayi ekimu bwe kirumirizza nanyini ttaka kwe bakolera...

Nalweyiso ng'atottola obulamu bw'ekkomera

Gwe baakwatira mu Curfew ne...

OMUYIMBI  eyakwatibwa olw'okugyemeera ebiragiro bya pulezidenti oluvudde mu kkomera e Kigo nayiiya oluyimba lw'atumye...

Abaabadde batendekebwa okuyamba abakoseddwa mu mataba.

Ab'e Kasese abaakosebwa ama...

ABANTU b'e Kasese abaakosebwa amataba olw'omugga Nyamwamba okwabika bakyalaajanira gavumenti okubayamba waakiri...

 Abdallah Mubiru ng'ayogerako n'abazannyi be

Mubiru atendeka Police FC a...

OMUTENDESI wa Police FC, Abdallah Mubiru, aweze nga sizoni ejja bw’alina okulaba nga ttiimu ye evuganya ku bikopo....