TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ssenga nfunye okutya omusajja ayinza okunfunyisa obuluto

Ssenga nfunye okutya omusajja ayinza okunfunyisa obuluto

Added 27th July 2020

Ssenga nnina emyaka 18 ate omusajja gwe njagala alina emyaka 25. Omusajja ono buli kiseera aba ayagala kwegatta nange. Ntya okufuna obulwadde n’olubuto kubanga nkyasoma.






Okusookera ddala mwana wange okwegatta sigaanye kabonero akalaga nti omuntu akwagala naye okwegatta kwokka tekitegeeza nti omuntu akwagala. Eriyo abasajja n'abakyala bangi abeegatta naye ng'omukwano teguliiwo.

N'ekirala ennaku zino okwegatta kwafuuka bizinensi. Kati okumanya nti omuntu akwagala olina okwetegereza n'ebirala nga okukufaako, okukuwa ebyetaago n'ebirala. Kale mwana wange sooka weetegereze embeera gy'olimu mu mukwano n'omusajja ono.

Omusajja mulage ekizibu ky'okufuna olubuto ng'okyasoma. Ekirala mulina okwekebeza omusaayi okuzuula oba temulina siriimu kuba ogambye nti otya okukwatibwa obulwadde. Mugambe mwekebeze.

GAVUMENTI efulumizza ebiragiro
ku bavuzi ba bodaboda abatandise
leero okuddamu okusaabaza
abantu. Ebiragiro ebikakali
okusinga bissiddwa mu kibuga
wakati nga biraga zzooni mwe
balina okukolera n'obutakolera.
Kyokka bo abasaabaze bazeesunze
nga bagamba nti zinaabawonya
abattakisi abaseera ssaako akalippagano.
Mu nteekateeka ya KCCA empya
olukiiko lwa baminisita gye lwayisizza,
waliwo ekitundu ekimu mu
Kampala awagaaniddwa bodaboda
era kituumiddwa ‘bodaboda free
zone'. Kino kitandikira ku nkulungo
ya Wampeewo, okugenda
mu masahhanzira g'ebitaala bya
Jinja Road ku kizimbe kya Kitgum
House, okuyita ku luguudo lwa
Mukwano.
Oluguudo lweyongerayo
okugenda ku ssaawa ya Kwiini,
okuyita ku luguudo lwa Kafumbe
Mukasa mu Kisenyi, okugenda ku
Mackay, okuyunga ku lwa Kyagwe
n'okwambuka ku kkanisa ya Watoto.
Ppikippiki ebalaamiriza okugenda
mu bitaala bya Wandegeya
n'eweta ku nkulungo y'e Mulago,
okuyita mu masahhanzira g'e
Kamwokya, okugenda ku luguudo
lwa Sturrock, okuyita ku Prince
Charles Drive okudda ku Lugogo
By pass n'okuddayo ku nkulungo
ya Wampeewo.
KCCA yayanjula nti tewali

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lubega akulembedde ne Amatos ku kkooti e Makindye.

Abaali bafera paasita basin...

ABASUUBUZI b'omu Kampala basindikiddwa mu kkomera lwa kugezaako kufera Paasita ssente ezikunukkiriza mu buwumbi...

Spice Diana asiibuludde aba...

Bya Mukasa Lawrence  ABAYIMBI okuli Spice Diana ne munne Fik Femaika bavuddeyo ne baduukirira abasiraamu ku...

Abakozi ba Rock bavudde mu ...

Bya Phoebe Nabagereka Abakozi mu kampuni ya Roko e Gerenge mu town council ye Katabi bekalakasiza nga balaga...

FDC evumiridde effujjo erik...

Bya Doreen Namaggala AMYUKA ssabawandiisi w'ekibiina ki FDC, Arnold Kaija asabye bannayuganda okukomya okutiisatiisa...

Abazigu balumbye ekigo ne b...

Abazigu ababadde n'ebijambiya, emitayimbwa saako ennyondo bazinze ekigo kya Kabulamuliro Catholic Parish, ne bamenya...