TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Omwana by'aganyulwa mu kuzannya ne muzadde we

Omwana by'aganyulwa mu kuzannya ne muzadde we

Added 28th July 2020

WADDE abaana beetaaga obudde okuzannya ne bannaabwe, nga tebataataaganyizibwa bazadde oba abakulu ababalabirira, okunoonyereza kulaga nti, omwana okuzannyako ne bazadde be nakyo kikulu ddala.

Maama ng’abuuka omuguwa ne bawala be.

Maama ng’abuuka omuguwa ne bawala be.





Ojja kwesanga nga bw'obeera awaka, omwana wo akusaba muzannyeko mwembi. Kino bwe kibaawo togaana kubanga kikola kinene mu kukula kw'omwana.

Omwana bw'azannya ne muzadde we, awulira nga wa njawulo, y'ensonga lwaki emirundi mingi bayaayaana okufunayo akadde okuzannyako ne bazadde baabwe.

Omwana bw'azannya ne muzadde we, kimuwa ebbeetu okubeera omuyiiya era eyekkiririzaamu, naddala nga muzadde we amuzzaamu amaanyi. Omuzadde bw'owaayo obudde okuzannyamu n'omwana wo, kimuyamba okufuna obukugu obw'enjawulo.

Bw'ozannya n'omwana nga mwogera, naye ayiga, ojja kwesanga ng'ajja kukuwuliriza nnyo bw'obaako ky'omugamba nga bwe muzannyamu. Omwana bw'azannyamu n'omuntu omukulu kimuwa obukugu okukolagana n'abantu abalala, era amanya ne bw'akwatamu ebintu naddala ebimusoomooza.

Omuzadde bw'azannya n'omwana afaayo nnyo okumwekkaanya mu buli ky'akola ne kimwongera okumutegeera, oluusi ekitabaawo ssinga omwana ono abeera azannya ne bato banne, kubanga tewaba afaayo.

Hanifah Naluyima omusomesa era nga mukugu mu nkuza y'abaana ng'asomesa mu Aga Khan Nursery School ku Old Kampala agamba nti, okuzannya kikulu nnyo mu nkula y'omwana era y'ensonga lwaki ne ku masomero bassaawo ekiseera ky'abaana okuzannya nga balabirirwa abasomesa mu masomo ga PE (Physical Education).

Mu masomo gano, abaana bazannya n'abasomesa, era abaana baba bakola ebyo abasomesa bye babalaga. Kino kiyamba omwana okwongera okusemberera omusomesa n'okumuggyamu okumutya.

Noolwekyo, n'omuzadde yandibadde assaawo obudde n'azannya n'omwana we asobole okwongera okumutegeera n'okumusembeza.

ENGERI OKUZANNYA GYE KUYAMBA OBWONGO BW'OMUTO

Okuzannya kukola kinene mu kukula kw'obwongo bw'omwana. Omwana bw'azannya, obwongo busisimuka ne busindika obubaka mu bitundu by'omubiri eby'enjawulo. Kino kye kimu ku biyamba omwana okukula mu mubiri n'asobola okutambula, okudduka, okubuuka n'ebirala.

EBIKA BY'EMIZANNYO GY'ABATO

Emizannyo girimu ebiba eby'enjawulo, ate nga byonna bya mugaso mu kukula kw'omwana;  Okuzannya ng'okozesa ebitundu by'omubiri omuli emikono, amagulu, omutwe n'ebirala.

 Okuzannya ng'okozesa ebintu eby;enjawulo nga omupiira, omuguwa, omuggo n'ebirala.

Okuzannya mu ngeri y'okukolagana nga okwegoba, okwekweka ne mwekwekula, okuyimba, okuzina n'emirala.

Okuzannya nga mwefudde ng'abagole, maama ne taata, okwefuula pulezidenti oba omusomesa oba omuntu omulala yenna.

Okunyumya emboozi enjiiye ezitiisa oba ezisanyusa. Abaana abasinga bwe baba bakola ebika byonna babizannya, era kyandibadde kirungi omuzadde n'ofunayo akadde k'okuzannyako n'omwana wo mu bika ebyo.

WALIWO ENJAWULO WAKATI W'OKUZANNYA NE MAAMA NE TAATA

Enjawulo weeri, kubanga taata atera okwagala emizannyo egy'okukozesa amaanyi omuli okudduka, okusamba omupiira n'emirala, so nga maama atera kwagala egirimu okwongera.

Emizannyo gyombi mikulu nnyo mu nkuza y'omwana, kubanga buli muzadde abeera ayagala omwana omulamu obulungi mu nkula ate ng'era asobola n'okweyogerako mu bantu.

Emizannyo egy'ebika byombi giyamba omwana okukula nga mulamu bulungi mu mubiri ne mu birowoozo, ate ng'era kimuwadde ekyanya okweyabiza obulungi bazadde be. Jjukira nti okuzannya n'omwana kikwetaagisa, okumwetegereza, okumuwuliriza, okwogera naye n'okumutegeera.

Tekitegeeza kumuwakanya buli ky'aba aleese, oba okukkiriza buli kimu, wabula okukola ekituufu ekimugyamu. Naluyima agattako nti omuzadde bw'azannya n'omwana we, kimwanguyira okumweyabiza era bw'abaako n'okusoomoozebwa kw'asanze, ayanguwa okutegeeza muzadde we kubanga abeera mukwano gwe.

Joseph Sseremba, omusawo ku ddwaaliro lya Sseremba Medical Centre e Kabalagala annyonnyola nti omwana okuzannya ne muzadde we kirimu ebirungi bingi; Okuzimba obwongo.

Agamba nti omwana obwongo bwe businga kuzimbibwa ng'ali n'omuntu gw'atatya, kubanga tamulemesa oba okumukambuwalira mu mbeera yonna.

Akubiriza abazadde okufuna akadde babeereko n'abaana era bazannye nabo babaggyemu okubatya, kubanga omwana bw'atya omuzadde yeesanga nga talina muntu amwanguyira okubuulira ebimunyigiriza. Ekirala, omwana anyumirwa nnyo by'aba azannya ne muzadde we engeri gye kitabeera kya bulijjo, era ojja kwesanga n'omwana abeera yeesunga lwe banaddamu

 

Abamu ku bavunaanibwa; Wamala (ku kkono) ne Nyakana nga bava mu kkooti.
Noolwekyo, n'omuzadde yandibadde
assaawo obudde
n'azannya n'omwana we asobole
okwongera okumutegeera n'okumusembeza.
ENGERI OKUZANNYA GYE
KUYAMBA OBWONGO BW'OMUTO
Okuzannya kukola kinene mu
kukula kw'obwongo bw'omwana.
Omwana bw'azannya, obwongo
busisimuka ne busindika obubaka
mu bitundu by'omubiri eby'enjawulo.
Kino kye kimu ku biyamba
omwana okukula mu mubiri
n'asobola okutambula, okudduka,
okubuuka n'ebirala.
EBIKA BY'EMIZANNYO GY'ABATO
Emizannyo girimu ebiba eby'enjawulo,
ate nga byonna bya mugaso
mu kukula kw'omwana;
 Okuzannya ng'okozesa
ebitundu by'omubiri omuli emikono,
amagulu, omutwe n'ebirala.
 Okuzannya ng'okozesa ebintu
eby;enjawulo nga omupiira, omuguwa,
omuggo n'ebirala.
Okuzannya mu ngeri y'okukolagana
nga okwegoba, okwekweka
ne mwekwekula, okuyimba,
okuzina n'emirala.
Okuzannya nga mwefudde
ng'abagole, maama ne taata, okwefuula
pulezidenti oba omusomesa
oba omuntu omulala yenna.
Okunyumya emboozi enjiiye
ezitiisa oba ezisanyusa.
Abaana abasinga bwe baba bakola
ebika byonna babizannya, era
kyandibadde kirungi omuzadde
n'ofunayo akadde k'okuzannyako

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Joseph Nuwashaba ng'atwalibwa mu kkooti

Eyakwatibwa ku by'omwana ey...

Omusajja agambibwa okutemako omwana Faith Kyamagero ow'emyaka 4 omutwe aleeteddwa mu kkooti.

Omwana eyasalibwako omutwe ...

Omwana eyasalibwako omutwe e Masaka ne bagutwala ku Palamenti aziikiddwa

Ssebbumba eyakubiddwa lwa bubbi

Abadde mu jjaamu e Kawempe ...

Abadde mu jjaamu e Kawempe bamukubye mizibu

Namasole wa Ssekabaka Mwang...

OLWALEERO Mariam Nampewo omusika wa Majeeri Lunkuse Namasole wa Mwanga II lwe bamuyingizza mu Lubiri lwe e Mpererwe...

Poliisi erung'amizza ku bib...

OMWOGEZI wa poliisi mu ggwanga Fred Enanga ategeezezza nti poliisi ssi yaakukoma kuvunaana bantu abazzizza obusango...