TOP

Omukyalo anyooma sayizi yange

Added 30th July 2020

SSENGA nafunye ekizibu mu Covid muno. Bulijjo twegatta bulungi ne mukyala wange naye kati tayagala kwegatta. Bwe namubuuzizza yang’ambye nti ndi mutono nnyo simumatiza. Kyokka abadde aleeta bulungi amazzi era nga tetulina buzibu bwonna. Ssenga nkole ki ku nsonga eno kubanga mpulira ntidde. Ekirala mukwano gwange yang’ambye nti alabika alina omusajja omulala. Ssenga nnyamba.

ABAKYALA n'abawala ennaku zino baayiga okunafuya abasajja.

Kati akugamba ekigambo ng'ekyo ekinene n'otya n'otuuka n'okulowooza nti osanga olina ekizibu. Sooka weebuuza nti bulijjo abadde afuna obwagazi kati lwaki bwabuze.

Ekirala abantu bangi COVID baayisizza obubi naddala nga tebamanyidde kubeera wamu era abamu ne batuuka n'okwetamwa.

Kati bwaba tayagala kwegatta ng'agamba nti oli mutono, saagala oggweemu maanyi wabula manya nti walabika waliwo ekimuleetedde okuddamu bwatyo.

N'ekirala oba oli mutono eyo si nsonga nnene ekisinga obukulu osobola otya okukozesa obutono obwo kubanga toyinza kutandika kunoonya ddagala kubanga abafere wano ewaffe bangi abeerimbika mu kugezza sayizi y'obusajja.

Munno akugambye nti ayinza okuba ng'alina omusajja omulala, kino kisoboka naye ate kirungi n'osooka kwetegereza embeera awaka. Weetegereze embeera eri awaka naddala nga waliwo ekitategeerekeka bulungi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Olivia Nakyeyune (ku kkono), maama wa Bogere, Enabu, Kiplimo ne Dr. Rukare.

Muve ku masanyu mukuze ttal...

SSENTEBE w'akakiiko ka NCS, akatwala emizannyo mu ggwanga, Dr. Donald Rukare, akuutidde bannabyamizannyo okulemera...

Abazannyi ba KCCA (ku kkono) mu mupiira gw'omukwano ne ttiimu y'eggwanga eya U17. KCCA yawangudde (5-1).

Bright Stars ne KCCA ziggud...

Bright Stars - KCCA e Kavumba 10:00 ENNYONTA abawagizi ba liigi ya Uganda gye babadde nayo eggwaawo leero, era...

Decolas Kiiza, amyuka akulira emirimu mu FUFA, ng'alambuza abaakakiiko k'Amasaza. Wakati ye Ssejjengo ne Ssekabembe (amuddiridde mu ssuuti).

Ab'Amasaza balabuddwa

ABAKAKIIKO akategeka empaka z'Amasaza balabudde okugoba abazannyi n'abakungu ba ttiimu abanaatoloka mu nkambi awagenda...

Abantu nga badduka okulaba ku Bobi Wine.

Abantu b'e Iganga beeyiye k...

Bobi ng'azina n'abawagizi be. Yali Ggulu gye buvuddeko. Abantu mu bitundu by'e Iganga beeyiye ku nguudo bwe bawulidde...

Wessaali nga yaakamala okugattibwa ne kabiite we Nambi. Ku kkono ye Frank Walusimbi omusomi w'amawulire ku NTV.

Owa Bukedde awasizza mu sit...

Semei Wessaali omumyuka w'atuukirwako amawulire mu Bukedde olupapula akubye embagaa kabiite we Agnes Nambi. ...