TOP

Omukazi lwe yeeronda n'atama omusajja

Added 4th August 2020

ABASAJJA abamu babeera mu maka nga bali ku maggwa olw’abakazi abeeronda ku buli nsonga. Ab’engeri eno mu kiseera we tubeeredde mu kkalantiini nga kafiyu atandika ssaawa 1:00 ey’akawungeezi, kati engeri gye baamwongezzaayo ku ssaawa 3:00, mulimu omukazi ate ayinza okwemulugunya nti bba asusse okukeeranga okudda awaka n’abazimbirira ng’alinga atalina gy’ayinza kuyita n’anyumyako ne mikwano gye!

Jjukira mu bbaala ne mu bivvulu abasajja gye baatwalirizanga ku budde, byonna tebinnaggulwawo.

  • Omukazi eyeeronda, omusajja ayinza okugula ennyama ensava n'abuuza oba yagenderedde kubayimbulukusa ng'obapiika amasavu!
  • Ate bw'eba enkapa n'ajuliza nti ssinga yatuleeteddemu ebijanjaalo ne tumanyirirwa! lBwe wabaawo akaakunyumidde ku mulimu n'okumunyumiza ng'ozzeeyo awaka, bwe kakutanda n'oyogera ku mukozi munno nga mukazi katugeze Diana, olwo ng'atandika okukulumba nti heeee..!! abo ba Diana b'obeeramu banaatulekera akasente akagula ebyetaago awaka!
  • Omusajja oluusi ayinza okuyiiyiza munne akagatto, olugoye oba ekintu ekirala kyokka gy'amalira nga yeevumye ekyabimuguzizza. Ku mukazi eyeeronda, atandikira awo nti obimuleetedde bimaze kudiba ku malaaya yo. Ate lw'otomuguliddeyo ogwo nagwo ne gufuuka musango.
  • Leero ku zino WhatsApp eziriwo, mukwano gwo ayinza okukuweereza akatambi akanyuma, obubaka oba akafaananyi, bw'okasindikira omukyala ayinza okukugamba nti, ku luno k'oyendere ku WhatsApp oba Facebook ne mukerere amwenye!
  • Ye bw'ateebereza nti oba olinayo omukazi omulala, bw'akusanga ku ssimu ne bw'oba oyogera na mikwano gyo ayinza okukulumba nti, leero k'oteeterere ku ssimu ne bakazi bo!
  • Lw'omusabye okugendako e Namboole bw'atakubuuza nti ‘simanyi leero munno yagenze mu nsonga', akutegeeza nga bwe yakoowa okugattiriza ‘muggya we' we yakomye. Bw'omulagirira okubaako by'atereeza eby'omu kitanda n'awoza nti ‘leero kye bataakusomese nga tekiriiyo.'
ABASAJJA abamu babeera
mu maka nga bali ku maggwa
olw'abakazi abeeronda ku buli
nsonga.
Ab'engeri eno mu kiseera we
tubeeredde mu kkalantiini nga
kafiyu atandika ssaawa 1:00
ey'akawungeezi, kati engeri gye
baamwongezzaayo ku ssaawa
3:00, mulimu omukazi ate ayinza
okwemulugunya nti bba asusse
okukeeranga okudda awaka
n'abazimbirira ng'alinga atalina
gy'ayinza kuyita n'anyumyako
ne mikwano gye!
Jjukira mu bbaala ne mu
bivvulu abasajja gye baatwalirizanga
ku budde, byonna tebinnaggulwawo.
lOmukazi eyeeronda,
omusajja ayinza okugula ennyama
ensava n'abuuza oba
yagenderedde kubayimbulukusa
ng'obapiika amasavu! Ate
bw'eba enkapa n'ajuliza nti
ssinga yatuleeteddemu ebijanjaalo
ne tumanyirirwa!
lBwe wabaawo akaakunyumidde
ku mulimu
n'okumunyumiza ng'ozzeeyo
awaka, bwe kakutanda
n'oyogera ku mukozi munno
nga mukazi katugeze Diana,
olwo ng'atandika okukulumba
nti heeee..!! abo ba Diana
b'obeeramu banaatulekera akasente
akagula ebyetaago awaka!
lOmusajja oluusi ayinza
okuyiiyiza munne akagatto,
olugoye oba ekintu ekirala
kyokka gy'amalira nga yeevumye
ekyabimuguzizza. Ku
mukazi eyeeronda, atandikira
awo nti obimuleetedde bimaze
kudiba ku malaaya yo. Ate
lw'otomuguliddeyo ogwo nagwo
ne gufuuka musango.
lLeero ku zino WhatsApp
eziriwo, mukwano gwo
ayinza okukuweereza akatambi
akanyuma, obubaka oba
akafaananyi, bw'okasindikira
omukyala ayinza okukugamba
nti, ku luno k'oyendere ku WhatsApp
oba Facebook ne mukerere
amwenye!
lYe bw'ateebereza nti
oba olinayo omukazi omulala,
bw'akusanga ku ssimu ne
bw'oba oyogera na mikwano gyo
ayinza okukulumba nti, leero
k'oteeterere ku ssimu ne bakazi
bo!
lLw'omusabye okugendako
e Namboole bw'atakubuuza nti
‘simanyi leero munno yagenze
mu nsonga', akutegeeza nga bwe
yakoowa okugattiriza ‘muggya
we' we yakomye. Bw'omulagirira
okubaako by'atereeza eby'omu
kitanda n'awoza nti ‘leero kye
bataakusomese nga tekiriiyo.'

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Joseph Nuwashaba ng'atwalibwa mu kkooti

Eyakwatibwa ku by'omwana ey...

Omusajja agambibwa okutemako omwana Faith Kyamagero ow'emyaka 4 omutwe aleeteddwa mu kkooti.

Omwana eyasalibwako omutwe ...

Omwana eyasalibwako omutwe e Masaka ne bagutwala ku Palamenti aziikiddwa

Ssebbumba eyakubiddwa lwa bubbi

Abadde mu jjaamu e Kawempe ...

Abadde mu jjaamu e Kawempe bamukubye mizibu

Namasole wa Ssekabaka Mwang...

OLWALEERO Mariam Nampewo omusika wa Majeeri Lunkuse Namasole wa Mwanga II lwe bamuyingizza mu Lubiri lwe e Mpererwe...

Poliisi erung'amizza ku bib...

OMWOGEZI wa poliisi mu ggwanga Fred Enanga ategeezezza nti poliisi ssi yaakukoma kuvunaana bantu abazzizza obusango...