TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Omukazi ampa ssente n'alina empisa ng'ende n'aliwa?

Omukazi ampa ssente n'alina empisa ng'ende n'aliwa?

Added 10th August 2020

Nnina abakazi babiri ng’omu ndaba alina empisa era ava mu maka malungi. Omulala ansiga obukulu era akola ng’ampa ku ssente naye talina mpisa buli kiseera abeera mu kuyomba.

Annangira ssente zampa ate tayagala mmanye wuwe. Nga Corona tannajja buli lw'abadde ayagala twesanyuse nga tugenda mu loogi era ng'ampaana nga bwe mmanyi okwesa empiki. Ssenga nkoze ntya kubanga ssente nzaagala.

Ssente mwana wange nnungi naye zirina we zikoma. Ate n'ekirala ssente bakola nkole. Omukyala ono alina ssente tayagala kukutwala wuwe naye ndowooza akikola nga tayagala kulaga nti akyaza omusajja oba si kyekyo ayinza okuba ng'alina abaana awaka nga tayagala kubalaga mbeera gyalimu kati ey'okufuna omusajja.

Ekirala ayinza okuba nga tayagala ogende wuwe kubanga tomanya ayinza okuba nga mufumbo; ng'alina omusajja. Ssente ozaagala naye omukyala ono akuwa ssente sooka omwetegereze ddala gwe musajja gw'ayagala wekka oba alina abasajja abalala. Kubanga ennaku zino abakyala tebakyatya bwenzi n'abafumbo benda.

Ate n'omuwala gw'ogamba nti alina empisa era ava mu maka malungi era olina okumwetegereza olyoke osalewo. Kubanga okusalwo olina kubeera n'omuntu okumala ebbanga.

Mu myaka ng'esaatu oba ena osobola okuyiga omuntu n'omanya oba ddala y'asaana okubeera mukyala wo. N'oyo akuwa ssente sooka omwetegereze bulungi.

Nnina abakazi babiri ng'omu
ndaba alina empisa era ava mu
maka malungi. Omulala ansiga
obukulu era akola ng'ampa ku
ssente naye talina mpisa buli
kiseera abeera mu kuyomba.
Annangira ssente zampa ate
tayagala mmanye wuwe.
Nga Corona tannajja buli
lw'abadde ayagala twesanyuse
nga tugenda mu loogi era
ng'ampaana nga bwe mmanyi
okwesa empiki. Ssenga nkoze
ntya kubanga ssente nzaagala.
Ssente mwana wange nnungi
naye zirina we zikoma. Ate
n'ekirala ssente bakola nkole.
Omukyala ono alina ssente
tayagala kukutwala wuwe naye
ndowooza akikola nga tayagala
kulaga nti akyaza omusajja oba
si kyekyo ayinza okuba ng'alina
abaana awaka nga tayagala
kubalaga mbeera gyalimu kati
ey'okufuna omusajja.
Ekirala ayinza okuba nga
tayagala ogende wuwe kubanga
tomanya ayinza okuba nga
mufumbo; ng'alina omusajja.
Ssente ozaagala naye omukyala
ono akuwa ssente sooka omwetegereze
ddala gwe musajja
gw'ayagala wekka oba alina
abasajja abalala. Kubanga ennaku
zino abakyala tebakyatya
bwenzi n'abafumbo benda.
Ate n'omuwala gw'ogamba nti
alina empisa era ava mu maka
malungi era olina okumwetegereza
olyoke osalewo. Kubanga
okusalwo olina kubeera
n'omuntu okumala ebbanga.
Mu myaka ng'esaatu oba
ena osobola okuyiga omuntu
n'omanya oba ddala y'asaana
okubeera mukyala wo. N'oyo
akuwa ssente sooka omwetegereze
bulungi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Engeri gy'ofuna mu nkoko z'...

ENKOKO z’amagi zirimu ssente mu kiseera kino, naddala ng’ozirabiridde obulungi ne zitandikira mu budde obutuufu...

Hajji Musa ng'annyonnyola

Enkoko z'ennyama 100, zikuk...

NGA buli omu asala entotto ku ngeri gy'asobola okuyingiza akasente mu nsawo okuyita mu mbeera y'ekirwadde kya Corona,...

Akulira  Tourism board Lilly Ajarova ng'ayogera ku by'obulimi

Akulira Uganda Tourism boar...

Akulira ekitongole kye byobulambuzi mu gwanga ekya Uganda tourism board Lilly Ajarova akubirizza abalimi mu gwanga...

Omubuulizi Moses Tumwebaze okuva ku St.Stephen’s ng’akwasibwa ebbaluwa.

Bannaddiini balaze engeri g...

BANNADDIINI basanyukidde ekya Pulezidenti Museveni okuggulawo amasinzizo ne balaga engeri gye bagenda okuluhhamyamu...

Trump asimattuse omukazi ey...

AB'EGYE erikuuma Pulezidenti wa Amerika singa tebaatebuse mukazi eyabadde ateze Pulezidenti Donald Trump obutwa...