TOP
  • Home
  • Ssenga
  • 'Amafuta' g'omusumba gaanzimbizza olubuto!

'Amafuta' g'omusumba gaanzimbizza olubuto!

Added 10th August 2020

GIFT Katusiime, 20, eyali atembeeya caayi mu Kampala ali mu kusoberwa okutagambika. Alumiriza omusumba gye yali agenze okumusabira okumukaka omukwano nga kati ali lubuto.

Katusiime agamba nti omusumba yamwecangiddeko n'amugoba ennaku gy'alimu agittottola bwati. Twali mu ‘kuluseedi' y'okubuulira enjiri e Wankulukuku, Omusumba Nazuuru n'atubuulira enjiri bangi ne twatula nti tulokose.

Mu kufundikira okutuliisa ekigambo, yatuwa ennamba ye ey'essimu tumukubire ayongere okutusabira. Waliwo ensonga eyali embobbya omutwe ey'okukyusa muganzi wange gwe nnali nfunye Omusiraamu alokoke ne mpalirizibwa okumukubira essimu ampabule bwe kiyinza okukolebwa.

Yandagirira e Bweyogerere gy'abeera n'aηηamba nninnye emmotoka ezidda e Kiwanga nviiremu mu Bbuto. Olwatuukawo yankima n'antwala ewuwe. Yaηηamba nti ensonga zange zaali mpanvu nga tasobola kuzimalira ku ssimu.

Yansabira enfunda nga ssatu oluvannyuma n'aηηamba ndeete amafuta ansabire. Mu kiseera ekyo saalina ssente era olwamusindira ng'ensawo bw'eteyimiridde bulungi, yang'umya ng'agamba nti ekyo agenda kukikolako.

Yatandika okuntegeeza nga Mukama bwe yali amuloosezza ng'alina okunjiira amafuta mpite mu kusoomoozebwa kwe nnalimu. Ku olwo yantegeeza nti amafuta agenda kuganjiira kiro ssaawa nga 6:00 olwo kwe kunsomera n'ekyawandiikibwa ekyekuusa ku mbeera eyo kye sikyajjukira we yakisimbula.

Yagamba nti "Abo abeewaayo eri Omukama nga bamaze okutukula n'amafuta, akkakkanya emitima gyabwe n'atereeza buli nsonga eyeekiise mu kkubo lyabwe…' Essaawa olwawera 6:00 n'aηηamba nnyingire mu kisenge kye.

Yasimbula essaala era wakati mu kwogera mu nnimi yaηηamba nzigyemu engoye ansabire nsobole okusumululwa. Neekanga nga ndaba tuwaba ne mmubuuza nti ‘Mafuta ki ge bayiira omuntu ng'ali bwereere?'' Nasalawo okufukamira nga nkyali mu ngoye zange ekyamuggya mu mbeera n'afuluma nga yeesooza nga bw'annangira okumumalira ebiseera bye.

Yakomawo tatembeka ekyantiisa ennyo ne nkuba enduulu. Engeri gye nnali mu kisenge eddoboozi kirabika teryafuluma kuba saawulirayo ajja kunziruukirira!

Omusumba yantabukira nga bw'agamba nti tategeera kindiko kuba yeewaddeyo okungobamu amasitaani kyokka ndi mu kwesiruwaza. Oluvannyuma ng'ayogedde bingi yantegeeza ng'omusajja gwe mpaalirira bw'atali wange.

Yalaba nkyesisiggirizza kwe kuleeta ejjambiya n'aηηamba nsalewo ku ky'okunziggyako obulago n'okweyambula!

Katusiime agamba yatandika okukankana olwo omusumba n'amuggyamu engoye awatali na kulwana kuba omukono ogumu gwali gukutte ejjambiya.

We zaawerera essaawa 7:00 ez'ekiro yali amaze okunkaka omukwano era n'anneeyongeza ne ku ssaawa 9:00. Ayansuubiza mu kusooka okungobako ebisiraani neekanga ansudde mu bisiraami kuba waayita emyezi mitono ne ntandika okusinduukirirwa emmeeme n'obutabeera na mirembe ekyangobya ku mulimu.

Katusiime agamba nti bwe yakubira Omusumba essimu ng'amutegeeza nga bwe yafuna olubuto n'amulagira okukikuuma nga kya kyama. Yampita ewuwe tubyogereko n'aηηana n'okuluggyamu kyokka n'asigala ng'akyankozesa.

Buli lwe nagezangako okugaana okumuwa akaboozi olwo nga sijja kufuna kyakulya. Lumu yeecanga n'angoba nti nzireyo gye nnava.

Natuukira mu mikwano gyange naye nabo baatuuka ne bankoowa olw'engeri gye nnali ndya obuli nga sireetayo kasente kuba sikola.

Nasalawo okupangisa omuzigo nga ssente ezaasasula baaba ye yazimpa. Ssente ze nnasasula olwaggwaayo ate nga n'embeera ekalubye olwa Covid- 19 landiroodi n'angoba .

Bwe nnasazeewo okudda ew'omusumba kuba ye nnannyini lubuto namazeewo akaseera katono n'akasuka ebintu byange ebweru. Ensonga nazitutte ku poliisi y'e Bbuto mu Bweyogerere nga kati we nsula mu mmotoka.

Wabula omusumba poliisi bwe yamukubidde okujja okutuula mu nsonga kwe kugitegeeza nga bw'ataliiwo. Omusango guli ku fayiro nnamba SD:05/28/07/2020 ku poliisi y'omu Bbuto.

Katusiime nga kati olubuto luwezezza emyezi 7 agamba talina kyakulya ate asula na mu mmotoka enkadde eziri ku poliisi. Asaba abazirakisa okumudduukirira n'okumuwa amagezi ku 0700381789 ku ky'ayinza okukola.

Katusiime, 20, eyali atembeeya caayi
mu Kampala ali mu kusoberwa okutagambika.
Alumiriza omusumba gye yali agenze
okumusabira okumukaka omukwano nga
kati ali lubuto.
Katusiime agamba nti omusumba yamwecangiddeko
n'amugoba ennaku gy'alimu
agittottola bwati.
Twali mu ‘kuluseedi' y'okubuulira enjiri
e Wankulukuku, Omusumba Nazuuru
n'atubuulira enjiri bangi ne twatula nti
tulokose. Mu kufundikira okutuliisa
ekigambo, yatuwa ennamba ye ey'essimu
tumukubire ayongere okutusabira. Waliwo
ensonga eyali embobbya
omutwe ey'okukyusa
muganzi wange gwe
nnali nfunye Omusiraamu
alokoke ne mpalirizibwa
okumukubira essimu
ampabule bwe kiyinza
okukolebwa.
Yandagirira e Bweyogerere
gy'abeera n'aηηamba nninnye
emmotoka ezidda e Kiwanga nviiremu mu
Bbuto. Olwatuukawo yankima n'antwala
ewuwe. Yaηηamba nti ensonga zange
zaali mpanvu nga tasobola kuzimalira
ku ssimu. Yansabira enfunda nga ssatu
oluvannyuma n'aηηamba ndeete amafuta
ansabire.
Mu kiseera ekyo saalina ssente era
olwamusindira ng'ensawo bw'eteyimiridde
bulungi, yang'umya ng'agamba nti ekyo
agenda kukikolako. Yatandika okuntegeeza
nga Mukama bwe yali amuloosezza
ng'alina okunjiira amafuta mpite mu
kusoomoozebwa kwe nnalimu. Ku olwo
yantegeeza nti amafuta agenda kuganjiira
kiro ssaawa nga 6:00 olwo kwe kunsomera
n'ekyawandiikibwa ekyekuusa ku mbeera
eyo kye sikyajjukira we yakisimbula.
Yagamba nti "Abo abeewaayo eri Omukama
nga bamaze okutukula n'amafuta,
akkakkanya emitima gyabwe n'atereeza buli
nsonga eyeekiise mu kkubo lyabwe…'
Essaawa olwawera 6:00 n'aηηamba
nnyingire mu kisenge kye. Yasimbula
essaala era wakati mu kwogera mu nnimi
yaηηamba nzigyemu engoye ansabire
nsobole okusumululwa. Neekanga nga
ndaba tuwaba ne mmubuuza nti ‘Mafuta
ki ge bayiira omuntu ng'ali bwereere?'' Nasalawo
okufukamira nga nkyali mu ngoye
zange ekyamuggya mu mbeera n'afuluma
nga yeesooza nga bw'annangira okumumalira
ebiseera bye.
Yakomawo tatembeka ekyantiisa ennyo
ne nkuba enduulu. Engeri gye nnali mu
kisenge eddoboozi
kirabika
teryafuluma kuba
saawulirayo ajja
kunziruukirira!
Omusumba
yantabukira
nga bw'agamba
nti tategeera
kindiko kuba yeewaddeyo okungobamu
amasitaani kyokka ndi mu kwesiruwaza.
Oluvannyuma ng'ayogedde bingi yantegeeza
ng'omusajja gwe mpaalirira bw'atali
wange. Yalaba nkyesisiggirizza kwe
kuleeta ejjambiya n'aηηamba nsalewo ku
ky'okunziggyako obulago n'okweyambula!
Katusiime agamba yatandika okukankana
olwo omusumba n'amuggyamu engoye
awatali na kulwana kuba omukono ogumu
gwali gukutte ejjambiya. We zaawerera essaawa
7:00 ez'ekiro yali amaze okunkaka
omukwano era n'anneeyongeza ne ku
ssaawa 9:00.
Ayansuubiza mu kusooka okungobako
ebisiraani neekanga ansudde mu bisiraami
kuba waayita emyezi mitono ne ntandika
okusinduukirirwa emmeeme n'obutabeera
na mirembe ekyangobya ku mulimu.
Katusiime agamba nti bwe yakubira
Omusumba essimu ng'amutegeeza nga
bwe yafuna olubuto n'amulagira okukikuuma
nga kya kyama. Yampita ewuwe
tubyogereko n'aηηana n'okuluggyamu
kyokka n'asigala ng'akyankozesa. Buli
lwe nagezangako okugaana okumuwa
akaboozi olwo nga sijja kufuna kyakulya.
Lumu yeecanga n'angoba nti nzireyo gye
nnava. Natuukira mu mikwano gyange
naye nabo baatuuka ne bankoowa
olw'engeri gye nnali ndya obuli nga sireetayo
kasente kuba sikola.
Nasalawo okupangisa omuzigo nga
ssente ezaasasula baaba ye yazimpa.
Ssente ze nnasasula olwaggwaayo ate
nga n'embeera ekalubye olwa Covid-
19 landiroodi n'angoba .
Bwe nnasazeewo okudda
ew'omusumba kuba ye
nnannyini lubuto namazeewo
akaseera
katono n'akasuka ebintu
byange ebweru.
Ensonga nazitutte ku
poliisi y'e Bbuto mu
Bweyogerere nga
kati we nsula mu
mmotoka.
Wabula omusumba
poliisi bwe yamukubidde
okujja okutuula
mu nsonga kwe
kugitegeeza nga
bw'ataliiwo. Omusango
guli ku
fayiro nnamba
SD:05/28/07/2020
ku poliisi y'omu Bbuto.
Katusiime nga kati olubuto
luwezezza emyezi 7 agamba
talina kyakulya ate asula na
mu mmotoka enkadde eziri ku
poliisi.
Asaba abazirakisa okumudduukirira
n'okumuwa
amagezi ku 0700381789 ku
ky'ayinza okukola.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Joseph Nuwashaba ng'atwalibwa mu kkooti

Eyakwatibwa ku by'omwana ey...

Omusajja agambibwa okutemako omwana Faith Kyamagero ow'emyaka 4 omutwe aleeteddwa mu kkooti.

Omwana eyasalibwako omutwe ...

Omwana eyasalibwako omutwe e Masaka ne bagutwala ku Palamenti aziikiddwa

Ssebbumba eyakubiddwa lwa bubbi

Abadde mu jjaamu e Kawempe ...

Abadde mu jjaamu e Kawempe bamukubye mizibu

Namasole wa Ssekabaka Mwang...

OLWALEERO Mariam Nampewo omusika wa Majeeri Lunkuse Namasole wa Mwanga II lwe bamuyingizza mu Lubiri lwe e Mpererwe...

Poliisi erung'amizza ku bib...

OMWOGEZI wa poliisi mu ggwanga Fred Enanga ategeezezza nti poliisi ssi yaakukoma kuvunaana bantu abazzizza obusango...