TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Engeri embaliga mu mukwano gye zongedde okutabula abafumbo

Engeri embaliga mu mukwano gye zongedde okutabula abafumbo

Added 27th August 2020

ABAAGALANA abamu bwe balemeddwa okwesonyiwa embaliga mu mukwano, bangi ate basigadde bakiraga abaagalwa baabwe be babeera nabo awaka ekyongedde obutabanguko mu maka ensangi zino.





Mu kulwana mwetobeseemu okwonoona amasimu nga bagaasa n'okugamenya, okugakasuka n'okugasuula mu kaabuyonjo ng'akwatidde munne mu mbeera y'obwenzi alowooza nti essimu ssinga evaawo kyakumalawo okukwatagana okubaawo ku muntu we n'oli omulala amuleetera okukola embaliga.

Abalala bagamba nti libeera ssomo oba ekibonerezo ky'okulekayo obwenzi. lWaliwo embeera endala eyongedde okweyoleka ennaku zino ey'abantu okwekumako omuliro ne beeyokya!

Ebimu ku bizuuliddwa ku bantu bano abeekumyeko omuliro, ku bamu byetooloolera ku nsonga z'obufumbo ng'omu ku bafumbo ateeberezebwa okubaliga mu mukwano olwo munne ne yeekyawa!

Kuno bwe kwegasseeko abantu obutakyagenda mu masinzizo okulyoyebwa emyoyo olwa kalantiini olwo ne gujabagira. Kuba abantu abamu bannaddiini bwe bababuulirirako bafuna okukkakkana n'okwefumintiriza ku bye bakola ne bakwata ekkubo eggolokofu.

Dan Ddamulira owa NANA Counselling Services ababuulirira abaagalana n'abafumbo agamba nti ng'oggyeko obutabanguko mu maka, embaliga mu mukwano zibaamu okufuna endwadde nga siriimu n'ez'ekikaba.

lKu basajja beetikka omugugu gw'okulabirira abakazi abasukka mu omu ekiyinza okuvaako ab'awaka obutafuna bulungi byetaago. Embeera eno ate ayongera okukuma omuliro mu mukyala ow'awaka n'ayongera okunyiiga, okuyomba n'okwekyawa ekimuleetera okukuba bba omugongo nga batuuse mu buliri.

Ate mu mbeera y'okubeera n'emirembe awaka, abaagalana bandyewaze okulingirira mu masimu g'abaagalwa baabwe.

Yadde oluusi tebubeera bwenzi waliwo ababeera mu kusaagamu ne mikwano gyabwe naddala ku WhatsApp oba facebook kyokka munne singa alaba bye boogera ayinza okulowooza ebirala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Obwongo bw'abaana abadda ku...

OLUVANNYUMA lwa Gavumenti okulangirira nti abayizi abamu baddyo okusoma nga October 15, 2020, abazadde baatandise...

Abaana nga balaba ttivvi.

Engeri omuzadde gy'olambika...

MU mbeera eno ng’abayizi basomera ku ttivvi kitegeeza nti ebbanga abaana lye bamala ku ttivvi lyeyongera. Ng’oggyeeko...

VAR y'asinga amazima

Batunuulira nnyo ebisobyo mu ntabwe omuva okugaba peneti oba okugiggyawo, okugiddamu nga waliwo ekisobyo ekikoleddwa...

Dr. Donald Rukare (ku kkono) ne David Katende.

'Gavt. terina ssente zikebe...

ABAKUNGU b'ebibiina by'emizannyo bannyogogedde e Lugogo, Gavumenti bwe yakabatemye nti tejja kubawa ssente zikebeza...

Moses Magogo, Pulezidenti wa FUFA

FUFA eweze ttiimu okutendek...

FUFA eweze ttiimu zonna okutendekebwa n’okuzannya omupiira kagube gwa mukwano. Ekiragiro kino kikola okutuusa nga...