TOP

Balamu bannemesa okuziika ku baze

Added 27th August 2020

TWALINA omukwano n’omwami wange nga buli kimu tuteesa naye bwe yafa, aba ffamire ye ne bangobaganya ne batuuka n’okuhhaana okumuziikako lwakuba tebansiimirawo mu kusooka.

Nansubuga n'omwana we

Nansubuga n'omwana we





Amina Nansubuga 25, mbeera mu Ssebina Zooni e Kawempe. Emyaka ebiri emabega nafuna omusajja ne twagalana.

Oluvannyuma nga tumaze okukwatagana, yantwala mu ba ffamire ye bandabe era bamusiimireko. Olwatuuka ewaabwe, waliwo abahhambirawo nti, mulamu tetukusiimye era wandibadde ofuna omusajja omulala.

Bino omwami wange olwabitegeera yayongera kunjagala ng'agamba nti teyampasirizza kika. Wabula ekiseera kyatuuka ne tudda mu kyalo e Ssingo ewaabwe ne tutandika okulima ng'era aba ffamire bangigganya.

Olwo nga twakazaala abaana babiri. Mu November wa 2019, yalumbibwa obulwadde bw'omutwe n'omusajja ekyamuviirako okufa kyokka nga ndi lubuto lwa myezi ebiri.

Balamu bange ne nnyazaala wange baayingira mu nju mwe twali tusula ne baggyamu buli kimu n'abaana ne babanziggyako ne bahhaana n'okuziika. Olw'okuba nnali simanyi waakutandikira, nasalawo okudda e Kampala ne ntandika okusula mu kkanisa y'abalokole e Bwaise okutuusa lwe nnazaala.

Nabakubira nga nzadde nga njagala bampeereze ku buyambi naye baagaana. Obulwadde bwa COVID-19 bwe bwajja baatugoba ku kkanisa ne nfuna ku kaabuyonjo mu Ssebina zooni ne ntandiika okugisulamu n'omwana wange okutuusa lwe nnafuna eyampa omuzigo mwe yali asula ne nsula omwo.

Kati nnanyini mayumba angobamu simanyi waakudda kuba n'ekyokulya okukifuna lutalo.

Nsaba bakyala bannange nti, bw'oba olina omusajja nga ffamire ye tebakwagala, kolerera abaana bo naye bwe kiba tekisoboka omusajja mwesonyiwe ojja kufuna emirembe.

Nsaba omuzirakisa asobola okunnyamba akube ku ssimu eno eya mukwano gwange eri; 0751560185.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

NABILLAH ABUUZIZZA ABA FDC ...

Mercy Walukamba, akulira akakiiko k’ebyekulonda mu kibiina kya NUP, yalangiridde Nabillah ku buwanguzi oluvannyuma...

Abaana nga balaba ttivvi.

Engeri omuzadde gy'olambika...

MU mbeera eno ng’abayizi basomera ku ttivvi kitegeeza nti ebbanga abaana lye bamala ku ttivvi lyeyongera. Ng’oggyeeko...

Obwongo bw'abaana abadda ku...

OLUVANNYUMA lwa Gavumenti okulangirira nti abayizi abamu baddyo okusoma nga October 15, 2020, abazadde baatandise...

VAR y'asinga amazima

Batunuulira nnyo ebisobyo mu ntabwe omuva okugaba peneti oba okugiggyawo, okugiddamu nga waliwo ekisobyo ekikoleddwa...

Dr. Donald Rukare (ku kkono) ne David Katende.

'Gavt. terina ssente zikebe...

ABAKUNGU b'ebibiina by'emizannyo bannyogogedde e Lugogo, Gavumenti bwe yakabatemye nti tejja kubawa ssente zikebeza...