TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Omukazi yeefudde n'abuuka ne muliraanwa

Omukazi yeefudde n'abuuka ne muliraanwa

Added 12th September 2020

OMUSAJJA yenna bw’aba anoonya omukyala owokuwasa yeegomba nnyo okumuggya mu maka amalungi era agalimu empisa n’eddiini okumuyamba okweyagalira mu bufumbo obutaliimu ntalo.





Nze Alex Sseruwagi, 38, mbeera Bunga. Bwe nnali nvubuka natyanga nnyo okubeera n'omuwala nga sisoose kutuuka mu bakadde be olw'ensonga nti nawuliranga abantu abanyumya nti si kirungi okumala galonda muwala kkubo nga tosoose kumwetooloola.

Natuuka ekiseera nga nneetaaga okufuna omubeezi era nalina omuwala gwe nnali neegwanyiza olw'obulungi bwe n'empisa ennungi ezaali zimulabika. Olw'omukwano omungi gwe nnalina eri omuwala ono nalwa ddaaki ne mwatulira nti mwagala.

Munnange bwe nnamusaba omukwano teyasooka kumpa budde wabula nange saggwaamu maanyi olw'engeri gye nnali mwagadde.

Wabula oluvannyuma lw'ebbanga munnange ono yakkiriza ne twagalana era wano nafuna essanyu eritagambika kubanga yali antegedde ng'ampa ekitiibwa kyange nga buli ky'akola asooka kuntegeeza.

Embeera z'omukyala ono zansikiriza okukyala ewa ssenga ne nsaba bamumpe mmuwase ekintu ssenga kye yakkiriza oluvannyuma lw'omuwala okumutegeeza nti naye yali anjagalira ddala.

Twatandika obufumbo bwaffe mu ssanyu era tumaze emyaka 15. Tuzadde abaana basatu nga tetulina buzibu bwonna kubanga mbadde nkola ne ntuukiriza obuvunaanyizi ng'omusajja.

Mu myaka egyo saamanyaako nti munnange alinayo omusajja gw'akukuta naye ebbali kubanga ne bwe yabeeranga ku ssimu nga nze ndowooza ayogera na bantu be nga n'oluusi bamukubira ekiro.

Eddembe lye nnawa mukyala wange, saamanya nti ye yali ensibuko y'obulumi n'okunyolwa bye nnina.

Yakwatagana ne muliraanwa ne bagwa mu mukwano era mu kiseera kino ekya Corona lwe yamunsiguddeko ng'ebyenfuna byange byesibyemu. We njogerera mu kiseera kino ali lubuto lwe.

Ndi mu bulumi obuyitirivu olwa muliraanwa okunzibira omukazi mu kiseera kino ekizibu ekya Corona era nneewuunya engeri omukazi gy'awugulwa ne batuuka n'okumufunyisa olubuto!

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kaweefube okutaasa ekibira ...

AMAWULIIRE  | EKIBIRA KY'EBUGOMA  

Ssebaggala omu ku battiddwa

Abasudan ab'emmundu bawamby...

AKABINJA ka bannansi ba South Sudan ababagalidde emmundu bawambye Bannayuganda abavuga loole ezitwalayo amatooke,...

Ab'amasomero g'obwannannyin...

ABAKULIRA amasomero g’obwanannyini bateegezezza nga bwebetegese okuddamu okusomesa abaana.

NABILLAH ABUUZIZZA ABA FDC ...

Mercy Walukamba, akulira akakiiko k’ebyekulonda mu kibiina kya NUP, yalangiridde Nabillah ku buwanguzi oluvannyuma...

Abaana nga balaba ttivvi.

Engeri omuzadde gy'olambika...

MU mbeera eno ng’abayizi basomera ku ttivvi kitegeeza nti ebbanga abaana lye bamala ku ttivvi lyeyongera. Ng’oggyeeko...