TOP
  • Home
  • Ssenga
  • 'Balamu bangobaganya kati ndage wa..?'

'Balamu bangobaganya kati ndage wa..?'

Added 12th September 2020

WAYISE emyaka 10 bukya baze afa kati balamu bange banneefuulidde bangobya abaana olw’ebintu.

Nze Joweria Nalweyiso 60, mbeera Bamunaanika mu Kisambu Zooni.

Twasisinkana ne baze mu 1990 ne twagalana ne tuzaala n'abaana baffe musanvu. Nga tutandise okubeera ffembi, yanyanjulira balamu bange be saalabamu buzibu mu kusooka kuba banjagala nange ne mbaagala.

Olw'enkolagana gye twalina, ennaku enkulu bajjanga awaka ne tuzijaguza ffena nga n'abaana be tuzaala be babatuuma amannya.

Ekiseera kyatuuka baze n'atandika okulwala era ne mujjanjaba naye nga sirowooza nti ayinza okuva mu bulamu bw'ensi amangu.

Nnajjanjaba baze naye ebbanga lye yamala mu ddwaaliro, balamu bange tebaalinnyayo okutuusa lwe yafa. Saategeera kyakyusa balamu bange naye kino saakiremerako nnyo. Mu kuziika, baafuba okwetala era ne bakola buli kimu nga n'ebikozesebwa byonna weebiri.

Baze mu kufa yandeka n'olubuto nga kati omwana awezezza emyaka 10 era yandekera emmwaanyi we yali alimira nti mwemba nzigya ssente okulabirira abaana baffe.

Baze ye yali yasikira kitaabwe era naye n'asikisa mutabani we, omukulu ekyatabula balamu bange nga bagamba nti asikidde mu 

ganda waabwe tebamwagala.

Kati myaka 10 bukyanga baze afa, omwaka guno balamu bange bangobya abaana nti mbatwale gye nabazaala. Abantu be siyombangako nabo ne batuuka n'okuleeta abasajja awaka nti bakuuma nsuku omuli emmere gye neerimira.

Nabeegayirira tutuule twogere era bwe mba nnina kye nnasobya bansonyiwe naye baagaana nga bagamba nti, gwe balina okwogera naye yafa dda nze tebalina kye baneetaaza n'abaana bange era tubaviire.

Embeera empitiriddeko era nsaba ebitongole ebirwanirizi by'eddembe ly'obuntu okunnyamba kubanga nsobeddwa. Balamu bange bangobaganya mu kiseera kino ekizibu ate era simanyi na waakutandikira.

Nneekubira enduulu ku poliisi n'abakulumbeze b'oku kyalo naye siyambiddwa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kaweefube okutaasa ekibira ...

AMAWULIIRE  | EKIBIRA KY'EBUGOMA  

Ssebaggala omu ku battiddwa

Abasudan ab'emmundu bawamby...

AKABINJA ka bannansi ba South Sudan ababagalidde emmundu bawambye Bannayuganda abavuga loole ezitwalayo amatooke,...

Ab'amasomero g'obwannannyin...

ABAKULIRA amasomero g’obwanannyini bateegezezza nga bwebetegese okuddamu okusomesa abaana.

NABILLAH ABUUZIZZA ABA FDC ...

Mercy Walukamba, akulira akakiiko k’ebyekulonda mu kibiina kya NUP, yalangiridde Nabillah ku buwanguzi oluvannyuma...

Abaana nga balaba ttivvi.

Engeri omuzadde gy'olambika...

MU mbeera eno ng’abayizi basomera ku ttivvi kitegeeza nti ebbanga abaana lye bamala ku ttivvi lyeyongera. Ng’oggyeeko...