TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Omukazi yabuuka n'eyavaako okufa kw'omwana waffe

Omukazi yabuuka n'eyavaako okufa kw'omwana waffe

Added 19th September 2020

ABAKAZI abasinga tebalina bugumiikiriza! Maama w’abaana bange bwe bansiba mu kkomera e Luzira nagenda okuvaayo ng’afumbiddwa.




Ekisinga okunneewuunyisa buli kadde yaηηambanga nti okufa kwe kulitwawukanya. Nze Isma Ntalo, 39, nga mbeera mu Kalagi e Mukono.

Mu 2002 nafuna omukyala era olw'okuba yalina omukwano mungi gyendi, namuteeka mu maka ne tuzaala abaana 3.

Wabula nkitegedde kati nti eby'omukwano biringa zzaala, Katonda akuyamba buyambi n'akuwa omuntu akwagala n'akunywererako. Mu 2007 bansibako omusango gw'obutemu ne bantwala mu kkomera e Luzira.

Namalayo emyaka 3 era mukyala wange namusangawo awaka. Nga naakamala emyezi ebiri wabweru baddamu ne bansiba mu 2010 ku musango omulala.

Mba ndi mu kkomera ηηenda okuwulira nga baηηamba nti omu ku baana baffe yagudde mu kinnya ky'essomero n'afa. Ensi yambijjira era eby'okumuziika bannyumiza binyumize.

Nga wayiseewo ennaku eziwera nga bamaze okuziika mukyala wange yajja mu kkomera n'aηηamba nti nnannyini ssomero ampeerezza 100,000/- ng'amabugo.

Nasooka ne ηηaana okuzikwata nga njagala tutwale omusango mu kkooti omwana wange afune obwenkanya naye olw'okuba embeera y'ekkomera yannyiga ne nzikiriza kyokka ηηenda okuwulira ng'omukazi afumbiddwa nga n'ebintu by'omu nju byonna yabitwala.

Nga nvudde mu kkomera bambuulira buli ekyaliwo ng'omukazi bwe yakwatagana n'omugagga nnannyini ssomero n'amuwa 700,000/- kwe yampa 100,000/-. Nnagezezzaako okwogera n'omukazi ku ssimu omusango

ABAKAZI abasinga tebalina bugumiikiriza!
Maama w'abaana bange bwe bansiba
mu kkomera e Luzira nagenda okuvaayo
ng'afumbiddwa. Ekisinga okunneewuunyisa
buli kadde yaηηambanga nti okufa
kwe kulitwawukanya.
Nze Isma Ntalo, 39, nga mbeera mu
Kalagi e Mukono. Mu 2002 nafuna
omukyala era olw'okuba yalina
omukwano mungi gyendi, namuteeka
mu maka ne tuzaala abaana
3. Wabula nkitegedde kati nti
eby'omukwano biringa zzaala,
Katonda akuyamba buyambi
n'akuwa omuntu akwagala
n'akunywererako.
Mu 2007 bansibako
omusango gw'obutemu ne
bantwala mu kkomera e
Luzira.
Namalayo emyaka 3 era
mukyala wange namusangawo
awaka. Nga naakamala
emyezi ebiri wabweru baddamu
ne bansiba mu 2010 ku
musango omulala.
Mba ndi mu kkomera ηηenda
okuwulira nga baηηamba nti
omu ku baana baffe yagudde mu
kinnya ky'essomero n'afa. Ensi
yambijjira era eby'okumuziika bannyumiza
binyumize. Nga wayiseewo ennaku
eziwera nga bamaze okuziika mukyala
wange yajja mu kkomera n'aηηamba nti
nnannyini ssomero ampeerezza 100,000/-
ng'amabugo.
Nasooka ne ηηaana okuzikwata nga
njagala tutwale omusango mu kkooti
omwana wange afune obwenkanya naye
olw'okuba embeera y'ekkomera yannyiga ne
nzikiriza kyokka ηηenda okuwulira ng'omukazi
afumbiddwa nga n'ebintu by'omu nju byonna
yabitwala.
Nga nvudde mu kkomera bambuulira
buli ekyaliwo ng'omukazi bwe yakwatagana
n'omugagga nnannyini ssomero n'amuwa
700,000/- kwe yampa 100,000/-. Nnagezezzaako
okwogera n'omukazi ku ssimu omusango

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omuzibizi wa Arsenal eyafun...

Tierney yafunye obuvune mu vviivi era asuubirwa okumala ebbanga eriwerako nga tazannya wabula Arteta agamba nti...

Bassita ba Leicester bameny...

TTIIMU ya Leicester eraze lwaki abazannyi baayo basatu baayo basatu tebaazannye mupiira gwa Premier, West Ham bwe...

Wabaddewo vvaawompiteewo n...

WABADDEWO vvaawompiteewo ku kisaawe kya MTN Arena e Lugogo ng'abakungu ba FUFA balondesa abakulembeze b'omupiira...

Abamu ku bayizi be basabidde.

Abayizi ba S.6 babuuliriddw...

ABAYIZI ba S6 babuuliriddwa okutwala ebigezo eby'akamalirizo bye batandika enkya ng'ensonga kuba kati batandise...

Fr. Dominic Kagoye  ng'akwasa Kironde (afukamidde wansi ) pikipiki gye baamutonedde,nnyina (mu gomesi) n'abaana be.

Omusomesa eyaziba amaaso ki...

Eyali Omusomesa wa Siniya okubala ne 'Physic's eyaziba amaaso mu ngeri eyewuunyisa ng'ali mu kibiina asomesa n'akubwa...