TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Aba Bobi Wine bayomba lwa lukalala lwa kibiina

Aba Bobi Wine bayomba lwa lukalala lwa kibiina

Added 23rd September 2020

OLUTALO luzzeemu ku kitebe ky’ekibiina kya Bobi Wine ekya National Unity Platform e Kamwokya nga luva ku lukalala lw’amannya g’abantu abaasunsuddwa okuweebwa ttikiti y’ekibiina kino bavuganye ku bifo ebitali bimu mu gavumenti ez’ebitundu mu Kampala ne Wakiso.

Abamu ku baagala okufuna tikiti nga balwanira ku kitebe kya NUP.

Abamu ku baagala okufuna tikiti nga balwanira ku kitebe kya NUP.

Abamu ku bakaayana bagamba nti baabadde bawangudde bendera y'ekibiina kyokka abakikulira ne balwawo okubawa sitampu ebakkiriza okugenda okusunsulwa akakiiko k'ebyokulonda. Abamu baabadde batya nti waliwo ababaseketerera abaabaggye ku lukalala ng'ate baayiseewo dda.

Oluvannyuma lw'okwogera ebisongovu, omu ku bakulira ebyokwerinda ku kitebe kino, William Ntege (Kyumakyayesu) yalumbye abaabadde bakaayana mu weema ng'ali n'omu ku baaweebwa obuyinza okusunsulamu abanaavuganyiza ku ttikiti ya NUP mu Kira n'asoma amannya g'abaayiseemu.

Abaavuganya bano beekutuddemu ebiwayi bibiri okuli ekya Eddie Yawe ne Jimmy Lukwago amanyiddwa nga Kira Young nga buli kimu kirumiriza kinnewakyo okuleetawo emivuyo n'okwagala okuyisaawo abantu baakyo.

Abaafulumidde ku lukalala olutongole kuliko Hamdan Ssemugooma agenda okuvuganya ku bwammeeya mu Kampala Central, e Nakawa eriyo Namata Florence Mungi, e Kawempe waliyo Emanuel Sserunjogi, e Makindye eriyo Kasirye Nganda Ali n'e Rubaga Zacchy Mbeeraze Mawula. Ku bano kugattiddwaako abalala abagenda okukiikirira ekibiina mu Kampala n'ebimu ku bitundu bya Wakiso.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omusumba Kaggwa ng'asala keeki n'abamu ku bataka b'ekika ky'Embogo.

Katikkiro Mayiga alabudde a...

EBYA poliisi okukuba omukka ogubalagala ku mukolo gw'abeekika kye Embogo biranze, Mmengo bw'etadde Gavumenti ku...

Abaserikale nga batwala omuvubuka gwe baakutte.

Ababazzi ku Bbiri bataayizz...

ABABAZZI b'oku Bbiri bataayizza abavubuka abagambibwa okuba mu kabinja akatigomya abantu ne babakuba.  Akabinja...

Minisita Kasolo ng'ayogera

Kampala mugigye mu by'obufu...

Minisita omubeezi ow'ebyensimbi n'ebibiina by'obwegassi Kyeyune Haruna Kasolo, yennyamidde olwabantu abafudde Kampala...

Paasita Yiga

Paasita Yiga mulwadde muyi

EMBEERA y'omusumba w'ekkanisa ya Revival Christian Church e Kawaala, Augustine Yiga yeeraliikirizza abagoberezi...

Namuli kati atunda nnyaaya e Kyengera.

Abaana be nasomesanga bansa...

Nga tukyatunuulira engeri ekitiibwa ky'abasomesa gye kityobooddwaamu, Teopista Namuli, akulira essomero lya Wonderworld...