TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Engeri omuzadde gy'olambikamu omwana mu kulaba ttivvi

Engeri omuzadde gy'olambikamu omwana mu kulaba ttivvi

Added 29th September 2020

MU mbeera eno ng’abayizi basomera ku ttivvi kitegeeza nti ebbanga abaana lye bamala ku ttivvi lyeyongera. Ng’oggyeeko okugisomerako, abaana bangi engeri gye bali awaka beesanga ng’ebbanga lye bamala nga balaba ttivvi liba ggwanvu ddala.

Abaana nga balaba ttivvi.

Abaana nga balaba ttivvi.





Omwana okulaba ttivvi okumala ebbanga eddene kyabulabe eri obulamu bwe, so ng'era n'ebimu ebiteekebwawo tebiba birung kulabibwa abaana.

Ate mu kiseera kino ng'abazadde abasinga tebaagala baana kutaayaaya, amagezi ge basala ga kubasasulira ttivvi olwo ne basiiba nga balaba.

Mu maka agamu, abaana oluzuukuka batandikir ku ttivvi okuzibya obudde kubanga kye kyokka ekibabeesabeesa. Omukugu mu kugunjula abaana, Edith Mukisa agamba nti wadde ng'omuzadde kimukakatako okufaayo ku ttivvi kubanga singa togifaako oyinza okwesanga ate ng'omwana akoseddwa oba ng'ayonoonese olw'ebyo by'alaba ku ttivvi.

ENGERI GY'EKOSA OMWANA

1 Obuseegu. Ttivvi nnyingi eziraga obuzannyo oba firimu z'abakulu nga kiba kyetaagisa omuzadde okubaawo n'asalawo oba abaana bagiraba. Wabula mu mbeera eno ng'abazadde abasinga bakeera kunoonya ssnete, abaana basigaza ebbeetu olulaba buli kye basanze omuli n'ebyobuseegu, olwo omwana n'abikoppa.

2 Erwaza amaaso. Omwana buli lw'amala ebbanga eddene ng'alaba ttivvi, ekitangaala ekyo kikosa amaaso ge era ssinga tofaayo mukukomako, ajja kutuuka ekiseera nga talaba bulungi, olwo ng'ajuliridde kwambala gaalubindi ng'akyali muto.

Noolwekyo, momuzadde kyandibadde kirungi omwana n'omugerera obudde bw'abeera ku ttivvi.

3 Ekugira omwana okuyiiya. Omwana buli lw'abeera ku ttivvi abeera alowooza ebyo by'alaba byokka, kubanga temuwa bbanga kulowooza n'okubaako ky'ayiiya.

Ssinga kino tokirwnyisa nga bukyali, omwana ayinza okutuusa ekiseera nga talowooza nga bato banne bwe benkanya emyaka, kubanga teyaweebwa mukisa kubaako kye yeerowooleza, buli kiseera obwongo ng'abujjuzzaamu by'alaba ku ttivvi.

4 Ttivvi eyinza okumalamu omwana omutima. Ebintu ku biragibw aku ttivvi, bitiisa ekitegeeza nti bisobola okukosa omwana obulamu bwe bwonna. Oyinza okwesanga n'omwana buli lw'abeera ku ttivvi alaba firimu ezirimu ebitiisa (horror). Abo be baana oluusi abagugumuka mu kiro ne bakuba enduulu n'abalala baba batya buli kimu.

5 Omwana asiiba ng'alaba ttivvi kyangu okufuna obulwadde bw'omugejjo. Kino kibaawo kubanga omwana abeera atudde wamu ebbanga lyonna, ate nga bwe bamuwa ebyokulya n'okunywa. Ate omuntu bw'atuula awamu enjala emulumira kumukumu, ojja kwesanga ng'omwana ono buli kiseera abeera yeegaaya, sso nga talina ngeri yonna gy'akozesaamu omubiri okusobozesa emmere gyalya okuggwa mu mubiri. Ekiva mu kino gwe mugejjo. Omugejjo gulina ebizibu bingi omuli omwana okunafuwa, ssaako okufuna endwadde nga sukaali, ez'entambula z'omusaayi n'ebirala.

6 Firimu ezimu ziyigiriza abaana emize, okugeza, ezirimu ebyekirogo ssinga abaana baziraba tebalina kirungi kye bafunamu, so nga zikosa obwongo bwabwe ne batandika okulowooza nti osanga eby'eddogo bikola.

7 Oluusi zireetera omwana okuba n'omutima omugumu ng'ejjinja.

Omwana buli lw'alaba ekintu nga kikolebwa ate nga n'abakikola batenderezebwa yeesanga nti naye ky'akola.

Y'ensonga lwaki abaana abalaba ttivvi ezibaako firimu ezirimu okutta ayinza okukola ekintu ne weewunya gy'aggye omutima naye nga kiva kw'ebyo by'alaba mu firimu ng'omuzadde we tamanyi.

BANDIGIRABIDDE BBANGA KI

Rebecca Naluyima agamba nti olwokuba abaana bali waka si kyangu kumulemesa kulaba ttivvi wabula ekinene ennyo yandigirabidde essaawa bbiri mu lunaku, okugeza mu biseera by'amawulire n'alabayo ne katuuni nga za mirundi ebiri.

Naluyima agamba nti mu mbeera y'obulamu omwana kimukakatako okwebaka essaawa ezitakka wansi wa munaana olunaku n'okuzannya ekimala wadde nga bino byonna ttivvi ebisaanyizzaawo.

Omuzadde okusobola okukendeeza ku budde omwana bw'abeera ku ttivvi oluusi n'alaba n'ebitagasa osobola okuyita mu ngeri zino waamanga.

* Okulaga abaana awaka nti ttivvi ya taata ne maama. Amaka agamu agafaayo ku nkuza y'abaana, abaana baba bakimanyi nti ttivvi taata oba maama y'agivunaanyizibwako era nga y'alina okugiteekako. Osobola okuggyako emikutu egimu.

Omuzadde osobola okusalawo okuggyamu emikutu gya ttivvi egimu okutangira abaana okugiraba naddala egyo egibaako ebitalina kulabibwa baana bato.

Okunyigira abaana mu bintu eby'enjawulo. Omwana buli w'abeera awo nga talina ky'akola ekiddirira kubeera kudda ku ttivvi noolwekyo omuzadde okukendeeza ku budde bw'abeera ku ttivvi muteerewo emirimu nga ttivvi okugiraba abeera alina kusooka kumala kukola mirimu, musindiike azannye mu kifo ky'okumuteerako ttivvi.

 

 

MU mbeera eno ng'abayizi
basomera ku ttivvi kitegeeza
nti ebbanga abaana
lye bamala ku ttivvi lyeyongera.
Ng'oggyeeko okugisomerako,
abaana bangi engeri gye bali
awaka beesanga ng'ebbanga lye
bamala nga balaba ttivvi liba
ggwanvu ddala.
Omwana okulaba ttivvi okumala
ebbanga eddene kyabulabe eri
obulamu bwe, so ng'era n'ebimu
ebiteekebwawo tebiba birung
kulabibwa abaana.
Ate mu kiseera kino ng'abazadde
abasinga tebaagala baana
kutaayaaya, amagezi ge basala ga
kubasasulira ttivvi olwo ne basiiba
nga balaba. Mu maka agamu,

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lukwago (ku ddyo) mu lukiiko.

Lipooti ku ddwaaliro lya KC...

MU lukiiko Loodi Mmeeya Erias Lukwago mwe yayombedde olwa Gavumenti okusala ssente zegenda okuwa KCCA, yayanjudde...

Abawagizi ba NUP nga batongoza ekipande kya Bobi ekipya.

Lwaki Bobi akyusizza akakoo...

OMUBAKA Kyagulanyi Sentamu ‘Bobi Wine’, akyusizza ekifaananyi kye ekitongole ekigenda okukozesebwa ku kakonge mu...

Ettaka osobola okulikubirako bbulooka ng'ono omuvubuka.

By'olina okukolera ku ttaka...

Ettaka kye kimu ku by'obugagga ebirabwako omuntu by'abeera nabyo abantu abatali bamunda ne bategeera obukozi bwe...

Paasita Ssennyonga ng'ayogerera mu lukung'aana lwa bannamawulire

Paasita Ssenyonga yeeyamye ...

OMUSUMBA Jackson Ssenyonga owa Christian life church e Bwaise yeeyamye okulabirira abaana ba Pasita Yiga abanaakeberebwa...

Ekisse Paasita Yiga Mbizzaa...

PASITA Augustine Yiga Abizzaayo afiiridde ku myaka 43. Ono abadde nga nnawolovu atafiira ku bbala limu.