
Yandeka mu nsiisira ewaabwe ne nvaayo ne nzira ewa maama wange. Kati ssenga mmaze emyaka 15 nga siraba ku mwami ono kyokka kati agamba nti ayagala kukomawo abeere nange.
Yagenda e Congo naye ndowooza tebyagenda bulungi. Nnina obuzibu kubanga nafuna omusajja omulala gwe njagala. Ennyumba yange eri mu kibanja kya maama wange. Abaana baagala akomewo naye nze njagala asigale nga taata w'abaana. Nnyamba ku nsonga eno.
Mwana wange nga bw'omanyi, omusajja okubeera ku buko kivve.
Ekirala abaana batuufu kubanga baagala okubeera ne kitaabwe naye tebamanyi nti kitaabwe tasobola kukomawo ku buko. Ate kati tasobola kunzimbira nnyumba kubanga eby'e Congo tebyatambula bulungi.
Ekirala oba olina omwami gw'oyagala ate lwaki oddira ono amaze emyaka 15 nga tomuwuliza. Olina n'okwebuuza ekimukomezzaawo.
Ddala akwagala oba akomyewo kubanga olina bw'oli? Olowooza omwami ono ayagala ggwe oba ayagala bubudamo?. Ssinga abadde akyali bulungi yandikomyewo ewuwo?
Mwana wange ggwe olina okwesalirawo ku nsonga eno naye ono anoonya w'abeera. N'ekirala abaana tebalina kukusalirawo oli muntu mukulu olina omusajja omulala era tekigaana kwagala musajja mulala. Abaana baagala kitaabwe naye asigale nga taata wa baana.