
NG'OKIMANYI oli mufumbo tekiba kya buvunaanyizibwa kulagirira muganzi wo awaka. Oba tolina njawulo na mutemu.
Nze Vincent Ssennyange 45, mbeera Kanyanya. Naakamala emyaka 13 ne mukyala wange. Tulina abaana basatu. Mu kusooka yali muntumulamu ng'omwegombesa wabula okuva lwe yakwatagana n'ebikoosi by'abakazi yatandika okukyusa empisa awaka ne tutandika kufugawo babiri.
Yatandika okudda matumbibudde n'ankonkona muggulire nga bwe mmubuuza gy'ava mu kifo ky'okumbuulira addayo buzzi n'asulayo n'akomawo nkeera. Olw'okuba nnali saagala twawukane olw'abaana bange, yakola ensobi nnyingi ne neefuula atazirabye .
Wabula, ku ntandikwa ya March w'omwaka guno kyambuukako omusiguze bwe yakubira mukyala wange mu maaso gange ng'amulanga obutabeera waka (ewange).
Mukyala wange yajja ku saluuni we nkolera n'annindako ne tuddayo ffembi awaka. Mu kugenda yahhamba ayagala kugula chapatti ne nfuna we mmulindirako.
Aba yaakatambulako katono omusajja n'amukwata ku mukono n'atandika okumukuba empi nga bw'amubuuza lwaki tabeera waka. Bwe nagenda okutaasa maama w'abaana bange nange bankubiramu empi. Okumanya abasiguze bajooga, naye yahhamba ajja kunzita ssinga omukazi simwesonyiwa.
Natunuulira maama w'abaana bange nga bimukalidde ku matama. Ekyasinga okunneewuunyisa, omusiguze yali ammanyi era mukyala wange yamulaga ekifaananyi kyange n'omulimu gwe nkola n'obudde bwe nkomerawo awaka.
Tetugaanye okwagala kubaawo naye kino ekyantuukako nali sisoboola kuddamu kubeera na mukyala wange. Katonda yannyamba bwe twatuuka awaka nafuga obusungu.
Enkeera yasibamu ebibye n'agenda n'abaana. Nasigaza gwa kubawa buyambi naye mpulira ng'ebyomukwano byantama. Nsaba abasajja okutangira bakyala baabwe ebikoosi by'abakazi abatalina mulamwa kuba nkakasa bye byavaako mukyala wange okwonooneka.