TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Njagala kugatta muganzi wange eyannyiigira

Njagala kugatta muganzi wange eyannyiigira

Added 22nd October 2020

Ssenga nasobezza muganzi wange naye saakikoze mu bugenderevu. Yajja awaka nga simanyi kubanga teyah− hamba. Kyokka yali tajjangayo, nalaba boda naye nali ku ssimu oluvannyuma boda n’egenda. Kati agamba nti yajja awaka ne simufaako. Naye mu butuufu boda nagiraba naye omuntu eyagiriko teyavaako yakyuka bukyusi n’agenda. Kati nsobi ki gye nnakola ssenga? Njagala kumugatta nkoze ntya kubanga agamba nti saamufaako.

Ahaa ate wasobezza ki? Teyakubuulira nti ajja, naawe walaba boda ng'ekyuka tewamanya muntu yagiriko kati wakola nsobi ki?

Baana bange abawala oluusi tweteekako ensobi nga tetuzikoze kati munno bw'omumannyiza bwotyo ng'atandika okuteeka mu nsobi buli kiseera. Mu butuufu oba tewamanya olina mwetondera naye bw'omugatta agenda kulowooza nti ddala wamanya nti yali ye ku boda era mu maaso agenda kutandika okwagala omugatta.

N'ekirala ogenda mumanyiiza okuteekako ensobi z'otokoze. Oba ddala omuvubuka ono akwagala agenda kusigala ng'akwagala oba alowooza nti wamanya oba tewamanya.

Naye oba ye muntu ayagala okunenyaamu ensobi era agenda kusigala ng'akunoonyaamu ensobi buli kiseera. N'ekirala weebuuza lwaki yakoma awo oba yakulaba?

Yali azze kuketta nti oli waka oba yali azze kulaba waka? Oba yali azze kulaba yandibadde akyama bulungi.

Kitegeeza nti ekigendererwa kye tekyali kya kukyala waka wabula okulaba gy'obeera oba ddala oli wammwe. Gwe sirika ate tomugatta kubanga tolina nsobi gye wakola.

Ssenga nasobezza
muganzi wange naye
saakikoze mu bugenderevu.
Yajja awaka
nga simanyi kubanga teyah−
hamba. Kyokka yali tajjangayo,
nalaba boda naye nali ku ssimu
oluvannyuma boda n'egenda.
Kati agamba nti yajja awaka ne
simufaako. Naye mu butuufu
boda nagiraba naye omuntu
eyagiriko teyavaako yakyuka
bukyusi n'agenda. Kati nsobi ki
gye nnakola ssenga? Njagala
kumugatta nkoze ntya kubanga
agamba nti saamufaako.
Ahaa ate wasobezza ki?
Teyakubuulira nti ajja, naawe walaba
boda ng'ekyuka tewamanya
muntu yagiriko kati wakola nsobi
ki? Baana bange abawala oluusi
tweteekako ensobi nga tetuzikoze
kati munno bw'omumannyiza
bwotyo ng'atandika okuteeka mu
nsobi buli kiseera. Mu butuufu
oba tewamanya olina mwetondera
naye bw'omugatta agenda
kulowooza nti ddala wamanya
nti yali ye ku boda era mu
maaso agenda kutandika okwagala
omugatta. N'ekirala ogenda
mumanyiiza okuteekako ensobi
z'otokoze. Oba ddala omuvubuka
ono akwagala agenda kusigala
ng'akwagala oba alowooza nti
wamanya oba tewamanya. Naye
oba ye muntu ayagala okunenyaamu
ensobi era agenda
kusigala ng'akunoonyaamu ensobi
buli kiseera. N'ekirala weebuuza
lwaki yakoma awo oba yakulaba?
Yali azze kuketta nti oli waka oba
yali azze kulaba waka? Oba yali
azze kulaba yandibadde akyama
bulungi. Kitegeeza nti ekigendererwa
kye tekyali kya kukyala waka
wabula okulaba gy'obeera oba
ddala oli wammwe. Gwe sirika ate
tomugatta kubanga tolina nsobi
gye wakola.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sheikh Mulindwa ng'asaaza Idd e Luweero.

'Gavumenti eyalayidde erwan...

Sheikh Mulindwa ku muzigiti gw'e Kasana Luweero. Ba Samuel Kanyike           DISITULIKITI Khadi wa Luweero,...

Lubega akulembedde ne Amatos ku kkooti e Makindye.

Abaali bafera paasita basin...

ABASUUBUZI b'omu Kampala basindikiddwa mu kkomera lwa kugezaako kufera Paasita ssente ezikunukkiriza mu buwumbi...

Spice Diana asiibuludde aba...

Bya Mukasa Lawrence  ABAYIMBI okuli Spice Diana ne munne Fik Femaika bavuddeyo ne baduukirira abasiraamu ku...

Abakozi ba Rock bavudde mu ...

Bya Phoebe Nabagereka Abakozi mu kampuni ya Roko e Gerenge mu town council ye Katabi bekalakasiza nga balaga...

FDC evumiridde effujjo erik...

Bya Doreen Namaggala AMYUKA ssabawandiisi w'ekibiina ki FDC, Arnold Kaija asabye bannayuganda okukomya okutiisatiisa...