Nze nasooka ne nzikiriza nti eddiini yange erina bw'erung'amya ku mukwano era nange bino bye bimu ku bye nnagobereranga okutuusa bwe nnafuna mukyala wange gwe nnina awaka kati.
Nze ndi musajja mukozi newankubadde omulimu gwange si gwe mulungi ennyo naye nneebaza Katonda nti ngufunyeemu ssente ezitubeezaawo olwo ne tusigala nga tuli basanyufu mu mukwano.
Mukyala wange mwenyumirizaamu kubanga mukkakkamu, mugumiikiriza ate ng'atya Katonda. Nze buli lwe nkeera ne ngenda okukola nsaba Katonda ansaasire nfune ssente nsobole okumutuusaako buli kye yeegomba wamu n'abaana bange basobole okubeera abasanyufu.
Kye nsinga okwenyumiriza mu mukyala wange kiri nti yakitegeera nti omulimu gwe nkola tegufuna nnyo era nze ne bweziba nga ssente zimbuze nzija ne munnyonnyola ate era n'akitegeera.
Kyokka ne bwe mba nga nfunye ssente, nzimwanjulira olwo ne tutandika okusala amagezi ku ngeri gye tubeera tulina okuzisaasaanyaamu. Neebaza Katonda nti yampa omukyala ow'enzikiriza yange era bwe tukkaanya.
NZE Peter Mugisha, mbeera
wano mu Kampala era mwe
nkolera emirimu gyange. Ekikulu
kya byonna, ndi musajja
mulokole akkiririza ennyo
mu Katonda.
Bwe ntunuulira abaagalana
ennaku zino naddala
abavubuka, mbasaasira nnyo
kubanga tebamanyi kye kitegeeza
kwagala nga Katonda
bw'akirambika.
Nze nasooka ne nzikiriza
nti eddiini yange erina
bw'eruhhamya ku mukwano
era nange bino bye bimu ku
bye nnagobereranga okutuusa
bwe nnafuna mukyala
wange gwe nnina awaka kati.
Nze ndi musajja mukozi
newankubadde omulimu
gwange si gwe mulungi ennyo
naye nneebaza Katonda
nti ngufunyeemu ssente
ezitubeezaawo olwo ne tusigala
nga tuli basanyufu mu
mukwano.
Mukyala wange mwenyumirizaamu
kubanga mukkakkamu,
mugumiikiriza ate
ng'atya Katonda.
Nze buli lwe nkeera ne
ngenda okukola nsaba Katonda
ansaasire nfune ssente
nsobole okumutuusaako
buli kye yeegomba wamu
n'abaana bange basobole
okubeera abasanyufu.
Kye nsinga okwenyumiriza
mu mukyala wange kiri nti
yakitegeera nti omulimu gwe
nkola tegufuna nnyo era nze
ne bweziba nga ssente zimbuze
nzija ne munnyonnyola
ate era n'akitegeera. Kyokka
ne bwe mba nga nfunye
ssente, nzimwanjulira olwo
ne tutandika okusala amagezi
ku ngeri gye tubeera tulina
okuzisaasaanyaamu.
Neebaza Katonda nti yampa
omukyala ow'enzikiriza
yange era bwe tukkaanya.