TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Batabani ne bawala bange kye kiseera okuzza ku bbali eby'obululu

Batabani ne bawala bange kye kiseera okuzza ku bbali eby'obululu

Added 19th January 2021

BATABANI ne bawala bange mukulikeeyo mu kalulu. Emirundi egisinga bwe wabaawo okulonda amaka gatera okufuna enjawukana nga kiva ku kuwagira ebibiina eby’enjawulo nga bwe gubadde ku kulonda pulezidenti mpozzi n’abantu ab’enjawulo.





Mu mbeera eno mubaddemu ababadde bawagira langi eya kyenvu ate abalala babadde ba mmyuufu nga mulimu abatonotono aba kiragala ne bbulu.

Mu maka agasinga weesanga nga ssinga omusajja abadde awagira langi emu ate omukyala n'awagira langi endala, wabaddewo okuwakana kungi abamu ne batuuka n'okusibawo nti ne bwe kinaabeera kiki tebajja kuwangulwa.

Ebivudde mu kalulu ka pulezidenti n'ababaka ba palamenti kati we tuli kumpi buli muntu abimanyi naddala ng'obaddeko omuntu oba ekibiina ky'owagira. Wadde oludda oluwangudde lubadde mu kujaganya na kusugumbiza, bbo abawanguddwa bayinza okubeera nga bakyali mu kiyongobero! Kati kye kiseera ebyo tubizze ku bbali tuteme empenda z'okulaba ng'amaka gaffe gagenda mu maaso.

Tekigasa kusigala ng'osiba obusungu oba okukaayana nga bagundi bwe babbiddwa omuntu waabwe n'atayitamu oba okukuba kalyonso nga abooludda gundi bwe kyabagwanidde obutayitamu!

Bw'oba ku ludda olwawangudde, tekikola makulu kusigala ng'oyogera ebigambo ebisoomooza n'okusosonkereza be bawangudde ekiyinza okuvaako obutabanguko.

Kuba oyinza okwesanga ng'abaalondeddwa tebalina ngeri gye bagenda kukyusa ntambula ya mukwano gwammwe mu maka oba bwe muddukanya emirimu.

Mpuliddeko nti abamu ku mmwe enjawukana zino mubadde muzituusizza ne mu kitanda ne mutuuka ne kussa ly'okwekuba emigongo oba okwawula ebitanda oluusi n'ebisenge.

Baana bange ebyobufuzi bwe munaabiyingiza mu kisenge mujja kuttattana amaka. Nze ndaba ekiseera kya kutandika kulowooza ku bitwala amaka mu maaso okugeza abayizi abalina okukola ebigezo eby'akamalirizo abalina okuddayo ku masomero wiiki eno.

N'abayizi b'ebibiina ebirala nabo tebakyalina myezi giwera okuddayo ku masomero kuba engeri akalulu gye kanaatera okukomekkerezebwa, okusoma kye kimu ku bigenda okussibwako omulaka.

N'omukwano gwammwe nagwo gulina okusigala nga gutinta nga kati kye kiseera okuyiiyizaamu ebigutwala mu maaso n'okuzzaawo embeera ya buli omu okuddamu okwesunga munne.

BATABANI ne bawala
bange mukulikeeyo mu
kalulu. Emirundi egisinga bwe
wabaawo okulonda amaka
gatera okufuna enjawukana
nga kiva ku kuwagira ebibiina
eby'enjawulo nga bwe gubadde
ku kulonda pulezidenti
mpozzi n'abantu ab'enjawulo.
Mu mbeera eno mubaddemu
ababadde bawagira
langi eya kyenvu ate abalala
babadde ba mmyuufu nga
mulimu abatonotono aba
kiragala ne bbulu.
Mu maka agasinga weesanga
nga ssinga omusajja
abadde awagira langi emu
ate omukyala n'awagira langi
endala, wabaddewo okuwakana
kungi abamu ne batuuka
n'okusibawo nti ne bwe kinaabeera
kiki tebajja kuwangulwa.
Ebivudde mu kalulu
ka pulezidenti n'ababaka ba
palamenti kati we tuli kumpi
buli muntu abimanyi naddala
ng'obaddeko omuntu oba
ekibiina ky'owagira.
Wadde oludda oluwangudde
lubadde mu kujaganya
na kusugumbiza, bbo abawanguddwa
bayinza okubeera
nga bakyali mu kiyongobero!
Kati kye kiseera ebyo tubizze
ku bbali tuteme empenda
z'okulaba ng'amaka gaffe
gagenda mu maaso.
Tekigasa kusigala ng'osiba
obusungu oba okukaayana
nga bagundi bwe babbiddwa
omuntu waabwe n'atayitamu
oba okukuba kalyonso nga
abooludda gundi bwe kyabagwanidde
obutayitamu!
Bw'oba ku ludda olwawangudde,
tekikola makulu kusigala
ng'oyogera ebigambo ebisoomooza
n'okusosonkereza
be bawangudde ekiyinza
okuvaako obutabanguko.
Kuba oyinza okwesanga
ng'abaalondeddwa tebalina
ngeri gye bagenda kukyusa
ntambula ya mukwano gwammwe
mu maka oba bwe muddukanya
emirimu.
Mpuliddeko nti abamu
ku mmwe enjawukana zino
mubadde muzituusizza ne mu
kitanda ne mutuuka ne kussa
ly'okwekuba emigongo oba
okwawula ebitanda oluusi
n'ebisenge.
Baana bange ebyobufuzi
bwe munaabiyingiza
mu kisenge mujja kuttattana
amaka. Nze ndaba ekiseera
kya kutandika kulowooza
ku bitwala amaka mu maaso
okugeza abayizi abalina okukola
ebigezo eby'akamalirizo
abalina okuddayo ku masomero
wiiki eno. N'abayizi
b'ebibiina ebirala nabo
tebakyalina myezi giwera
okuddayo ku masomero kuba
engeri akalulu gye kanaatera
okukomekkerezebwa, okusoma
kye kimu ku bigenda
okussibwako omulaka.
N'omukwano gwammwe
nagwo gulina okusigala nga
gutinta nga kati kye kiseera
okuyiiyizaamu ebigutwala mu
maaso n'okuzzaawo embeera
ya buli omu okuddamu okwesunga
munne.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omulabirizi  Bukomeko (ku ddyo), omulabirizi Wilson Mutebi, Minisita Nabakooba neKatuukiro wa Busoga, Joseph Muvawala.

Dr. Bukomeko ajaguzza omwak...

Omulabirizi wa Mityana, Dr. James Bukomeko alangiridde enkola, ey'okutandikawo ebintu ebivaamu ensimbi n'agamba...

Abakulembeze ba Rwampara ku mukolo.

Balaze ebiyinza okuvaako ab...

AKULIRA ebyenjigiriza mu disitulikiti y'e Rwampara, Muky. Kelen Tukamuhirwe ategeezezza nti ng'abayizi beetegeka...

Kkwiini ow'emyaka 94  ne bba Philip 99.

Ebintu 8 Kkwiini wa Bungere...

KKWIINI Elizabeth yagattibwa n'Omulangira Philip (mu kiseera kino ali ku ndiri mu ddwaaliro) nga November 20, 1947...

Fr. Anthony Kakumba Mwanje mu Mmisa eggulo.

'Mweyambise ekisiibo mudde ...

BWANNAMUKULU w'ekigo ky'e Kitovu  Fr. Anthony Kakumba Mwanje awabudde Abakristu ababadde beesambye Omukama olw'okwetaba...

Omulabirizi Kityo Luwalira ng'asaba eggulo mu Kkanisa ya St. Apollo Kivebulaaya  e Bukondo.

Mudde eri Katonda kubanga l...

OMULABIRIZI w'e Namirembe, Wilberforce Kityo Luwalira  akuutidde Abakulisitaayo okudda eri Katonda kubanga ly'ekkubo...