TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Ebintu 12 ebiyamba omuto okukula n'obuvunaanyizibwa

Ebintu 12 ebiyamba omuto okukula n'obuvunaanyizibwa

Added 26th January 2021

OMWANA ow’obuvunaanyizibwa y’oyo aweesa bazadde be ekitiibwa ng’akuze olw’ebikolwa bye by’akola ebyobuvunaanyizibwa era bye bivaako ensi okumwaniriza n’okumwogerako ng’eyakuzibwa nga wabuvunaanyizibwa.

Gorret Nanyuzi asoma Top Class ng’ayoza ebintu. Omwana bw’ava buto ng’akola emirimu awaka abeera n’obuvunaanyizibwa.

Gorret Nanyuzi asoma Top Class ng’ayoza ebintu. Omwana bw’ava buto ng’akola emirimu awaka abeera n’obuvunaanyizibwa.




Obuvunaanyizibwa mu muntu bulabirwa ku bintu ebyenjawulo nga mu kwogera, mu kutuukiriza by'asuubiza, mu kukola by'alina okukola mu kiseera ekituufu era bino emirundi mingi omuntu okubituukiriza kiba kiva ku buvunaanyizibwa obwamuteekebwamu mu buto wadde ng'abazadde bangi beerabira okukikola ne beekanga nga bakuzizza abaana abatalina buvunaanyizibwa.

Ssenga Juliet Nakiwomya e Kasubi nga mukugu mu kugunjula abaana agamba nti omuntu obuvunaanyizibwa bw'abeera nabwo mu bukulu buba bwamuteekebwamu okuva mu buto naddala abantu b'abeera yakula nabo. Nakiwomya agamba nti omuzadde asobola okuyita mu bino wammanga okusobola okukuza omwana ow'obuvunaanyizibwa:

1 Kirungi okuwa omwana omukisa okwenyigira mu mirimu. Omuntu yenna buli lw'abeera nga yeenyigira mu kukola ekintu afuuka wabuvunaanyizibwa era ayiga enkola ye ey'ebintu n'okumanya amakulu g'okukola n'okukolagana n'abalala. Noolwekyo omuzadde okugunjula omwana alimu omulamwa oba owoobuvunaanyizibwa kirungi okumuggya obuto ng'amuwa omwagaanya okwenyigira mu mirimu okusinziiira ku myaka gye okutuuka bw'akula so si kumuleka n'atuula wali kubanga omwagala nnyo. Okugeza, bw'oba oyoza ebintu muwe anyumunguze, bw'agenda akula bw'oba ojjula ng'omulagira okutegeka amasowaani kitegeeza ojja kuba omulaga by'alina okukola ng'eno obuvunaanyizibwa mu ye bukula mpolampola.

2 Muteerewo olukangaga kw'akolera ebintu. Omuntu yenna alimu omulamwa abeera n'enkola gy'agoberera mu kukola ebintu bye nga bw'olaba nti omuntu ssinga asooka okulya n'alyoka anaaba mu ngalo kiba kya bwewussa wadde nga byonna ebikolwa bituufu kyokka enkola yaabyo nga y'ebisse. Noolwekyo, omuzadde okusobola okuzimba omwana owoobuvunaanyizibwa olina okumuggya buto ng'omulaze nti omuntu bw'amala kino azzaako kino. Okugeza omulaga nti omuntu bw'azuukuka tagenda mu bantu nga tanaabye ngeregeze oba abuuza abantu nga tannabaako kye yakoze ojja kuba omuyambye okufuuka owoobuvunaanyizibwa ne mu bukulu.

3 Okuwuliriza n'okuteesa n'omwana kikulu ng'omuzimba n'okuba owoobuvunaanyizibwa. Omuntu alina obuvunaanyizibwa abeera alina obusobozi okuwuliriza abalala n'okuteesa nabo bwatyo n'omuzadde okukuza omwana owoobuvunaanyizibwa anaawuliriza abalala naye ateekwa okuba ng'amukuzizza mu mbeera ya kuteesa. Okugeza singa olaba ng'omwana akola ekintu mu nkola enkyamu katugambe, bw'azuukuka ku makya tanaaba mu maaso oba tabuuza bakulu be yasuze nabo ate toggyaayo muggo wabula mubuulirire era omuwabule.

4 Mukwasizeeko okulongoosa ebyonoonese. Kituufu omwana yenna omuto ayonoona oba asobya naye ate ng'omuzadde singa omwana abeera asobezza oba ayonoonye olina okumulaga nti okugolola ensobi kya buvunaanyizibwa. Okugeza singa abeera ayasizza eddirisa awaka tomutunuulira butunuulizi muyambe ng'omulambika ate bwaba aliko gw'asobezza ku banne, batuuze obeere omutabaganya wakati waabwe era bwe kuba kwetonda beera musale okulaba nga yeetonda ate nga ne gwe yeetondedde amusonyiye ajja kumanya nti okwetonda ng'asobezza kya buvunaanyizibwa ate era ne gw'asobezza ajja kumanya nti okusonyiwa kya buvunaanyizibwa.

5 Topapa kumuggya mu kusoomozebwa kw'aba atubiddemu. Bulooka yonna okuguma esobole okuzimba ennyumba erina okubeera ng'eyise mu muliro kyokka ate era erina okuba nga tesiridde. Kino kitegeeza nti n'omwana yenna waliwo ebizibu omuzadde by'alina okumuleka n'alwana n'abiyitamu okusobola okufuuka ow'omulamwa oba ow'omugaso. Kino tekitegeeza kumulekerera, wabula olina okubaawo ku bbali okumuyamba bwe kiba kigaanyi.

6 Omuzadde okutuukiriza ebisuubizo byo kikulu. Obuvunaanyizibwa bw'omuntu yenna busooka kulabikira mu kubeera mwesimbu ng'akola oba okutuukiriza by'ayogera. Noolwekyo, omuzadde ng'oyagala omwana wo abeere n'obuvunaanyizibwa oteekeddwa okubeera omwesimbu asobole okukuyigirako.

7 Weegendereze ebigambo by'oyogera eri omwana wo. Okugeza singa omwana abeera ng'omugamba ekintu n'osanga ng'akoze kirala ate gwe n'omulangira nga bw'atalina buvunaanyizibwa kiba kikyamu. Bw'aba takoze mulambike ng'omuwa n'essuubi nti wadde akoze ekikyamu naye bw'akyusa ajja kufuuka omuntu omutuufu.

8 Muyigirize okuwandiika by'alina okukola. Mu mulembe guno ogwa tekinologiya era ogulimu ebitawaanya abantu obwongo kikulu nnyo omuntu okubeera ng'ebintu by'alina okukola abiwandiise wansi okusobola okumanya kiki ky'azzaako bw'amaliriza ky'aliko. Kino si kyangu okubeera ng'omuntu akigoberera okuggyako nga yava nakyo buto noolwekyo omuzadde kirungi omwana n'okimukulizaamu kubanga kimuyamba okukola ebintu mu ngeri ey'obuvunaanyizibwa.

9 Omwana bw'abaako ky'akola musasule. Omwana yenna alina okukula ng'akimanyi omuntu bw'abaako ky'akoze asasulwa oba afunamu okusiimibwa. Okugeza, omwana bw'aba ayozezza emmotoka tewali nsonga lwaki tomusasulayo ku kasente akatono okumusiima, okumuzzaamu amaanyi.

10 Omwana muggye buto ng'omuwa obuvunaanyizibwa. Omwana buli lw'omu obuvunaanyizibwa awaka, okugeza okulabirira ebisolo, omuli okubifunira ebyokulya n'amazzi, kijja kumusigamu obuvunaanyizibwa era ne bw'anaaba akuze ajja kubeera nabwo.

11 Muwe obuvunaanyizibwa okukulembera banne bwe babaako emirimu gye bakola. Kirungi omuzadde bw'olaba ng'omwana wo alinamu embala y'obukulembeze, omuyambe okugikuza. Okugeza bw'oba waakubatuma ku luzzi, mugambe y'aba akulemberamu banne, era ojja kwesanga nga y'abakubiriza okwanguwa okudda awaka.

12 Omwana bw'abaako ekinene ky'akoze totya kumutendereza ng'omusukkulumya ku banne. Singa olaba ng'omwana aliko ky'akoze okusukkuluma ku banne mu ngeri y'obuvunaanyizibwa kikulu nnyo okugulumiza ku banne. Kino kigenda kumuwa okwagala okukola ekintu ekirala mu ngeri ey'obuvunaanyizibwa.

OMWANA ow'obuvunaanyizibwa
y'oyo aweesa bazadde be ekitiibwa
ng'akuze olw'ebikolwa bye
by'akola ebyobuvunaanyizibwa
era bye bivaako ensi okumwaniriza
n'okumwogerako ng'eyakuzibwa
nga wabuvunaanyizibwa.
Obuvunaanyizibwa mu muntu
bulabirwa ku bintu ebyenjawulo
nga mu kwogera, mu kutuukiriza
by'asuubiza, mu kukola by'alina
okukola mu kiseera ekituufu era
bino emirundi mingi omuntu
okubituukiriza kiba kiva ku buvunaanyizibwa
obwamuteekebwamu
mu buto wadde ng'abazadde bangi
beerabira okukikola ne beekanga
nga bakuzizza abaana abatalina
buvunaanyizibwa.
Ssenga Juliet Nakiwomya e
Kasubi nga mukugu mu kugunjula
abaana agamba nti omuntu obuvunaanyizibwa
bw'abeera nabwo
mu bukulu buba bwamuteekebwamu
okuva mu buto naddala
abantu b'abeera yakula nabo.
Nakiwomya agamba nti omuzadde
asobola okuyita mu bino
wammanga okusobola okukuza
omwana ow'obuvunaanyizibwa:
1 Kirungi okuwa omwana
omukisa okwenyigira mu mirimu.
Omuntu yenna buli lw'abeera nga
yeenyigira mu kukola ekintu afuuka
wabuvunaanyizibwa era ayiga
enkola ye ey'ebintu n'okumanya
amakulu g'okukola n'okukolagana
n'abalala.
Noolwekyo omuzadde okugunjula
omwana alimu omulamwa
oba owoobuvunaanyizibwa kirungi
okumuggya obuto ng'amuwa
omwagaanya okwenyigira mu
mirimu okusinziiira ku myaka
gye okutuuka bw'akula so si
kumuleka n'atuula wali kubanga
omwagala nnyo. Okugeza, bw'oba
oyoza ebintu muwe anyumunguze,
bw'agenda akula bw'oba
ojjula ng'omulagira okutegeka
amasowaani kitegeeza ojja kuba
omulaga by'alina okukola ng'eno
obuvunaanyizibwa mu ye bukula
mpolampola.
2 Muteerewo olukangaga
kw'akolera ebintu. Omuntu yenna
alimu omulamwa abeera n'enkola
gy'agoberera mu kukola ebintu
bye nga bw'olaba nti omuntu ssinga
asooka okulya n'alyoka anaaba
mu ngalo kiba kya bwewussa
wadde nga byonna ebikolwa
bituufu kyokka enkola yaabyo nga
y'ebisse.
Noolwekyo, omuzadde
okusobola okuzimba omwana
owoobuvunaanyizibwa olina
okumuggya buto ng'omulaze nti
omuntu bw'amala kino azzaako
kino. Okugeza omulaga nti
omuntu bw'azuukuka tagenda mu
bantu nga tanaabye ngeregeze oba
abuuza abantu nga tannabaako
kye yakoze ojja kuba omuyambye
okufuuka owoobuvunaanyizibwa
ne mu bukulu.
3 Okuwuliriza n'okuteesa
n'omwana kikulu ng'omuzimba
n'okuba owoobuvunaanyizibwa.
Omuntu alina obuvunaanyizibwa
abeera alina obusobozi
okuwuliriza abalala n'okuteesa
nabo bwatyo n'omuzadde okukuza
omwana owoobuvunaanyizibwa
anaawuliriza abalala naye ateekwa
okuba ng'amukuzizza mu mbeera
ya kuteesa. Okugeza singa olaba
ng'omwana akola ekintu mu nkola
enkyamu katugambe, bw'azuukuka
ku makya tanaaba mu maaso
oba tabuuza bakulu be yasuze
nabo ate toggyaayo muggo wabula
mubuulirire era omuwabule.
4 Mukwasizeeko okulongoosa
ebyonoonese. Kituufu omwana
yenna omuto ayonoona oba asobya
naye ate ng'omuzadde singa
omwana abeera asobezza oba
ayonoonye olina okumulaga nti
okugolola ensobi kya buvunaanyizibwa.
Okugeza singa abeera ayasizza
eddirisa awaka tomutunuulira butunuulizi
muyambe ng'omulambika
ate bwaba aliko gw'asobezza
ku banne, batuuze obeere
omutabaganya wakati waabwe
era bwe kuba kwetonda beera
musale okulaba nga yeetonda ate
nga ne gwe yeetondedde amusonyiye
ajja kumanya nti okwetonda
ng'asobezza kya buvunaanyizibwa
ate era ne gw'asobezza ajja
kumanya nti okusonyiwa kya
buvunaanyizibwa.
5 Topapa kumuggya mu kusoomozebwa
kw'aba atubiddemu.
Bulooka yonna okuguma
esobole okuzimba ennyumba
erina okubeera ng'eyise mu
muliro kyokka ate era erina okuba
nga tesiridde. Kino kitegeeza nti
n'omwana yenna waliwo ebizibu
omuzadde by'alina okumuleka
n'alwana n'abiyitamu okusobola
okufuuka ow'omulamwa oba
ow'omugaso. Kino tekitegeeza
kumulekerera, wabula olina
okubaawo ku bbali okumuyamba
bwe kiba kigaanyi.
6 Omuzadde okutuukiriza
ebisuubizo byo kikulu. Obuvunaanyizibwa
bw'omuntu yenna
busooka kulabikira mu kubeera
mwesimbu ng'akola oba okutuukiriza
by'ayogera. Noolwekyo,
omuzadde ng'oyagala omwana
wo abeere n'obuvunaanyizibwa
oteekeddwa okubeera omwesimbu
asobole okukuyigirako.
7 Weegendereze ebigambo
by'oyogera eri omwana wo.
Okugeza singa omwana abeera

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

'cokoleti'

Omufumbi wa Kkwiini ayoged...

KKWIINI Elizabeth II ayagala kkeeki erimu ekirungo kya ‘chocolate' wabula okusinziira ku biragiro by'abasawo waakiri...

Fr. Anthony Musaala (ku ddyo) ng’abuuza ku Kiwanda ne Ying. Joseph Ssewava oluvannyuma lwa Mmisa mu Lutikko e Lubaga.

▶️ Mutusonyiwe bye twayog...

AMYUKA ssentebe wa NRM mu Buganda, Godfrey Kiwanda Ssuubi yeetondedde Eklezia olw'okusowagana okwaliwo mu kiseera...

Abamu ku batuuze nga bali mu maka g’omubaka Betty Nambooze (mu katono).

Ab'e Kigombya balabudde Gav...

ABATUUZE ku kyalo Kigombya mu disitulikiti y'e Mukono, bawadde gavumenti nsalessale ya myezi ena okutuuka mu mwezi...

Emmotoka ya Kyagulanyi (mu katono) empya.

Enkalu zeeyongedde ku mmoto...

EBY'EMMOTOKA ya Bobi Wine bijjulidde kkooti erina okuyisa ekiragiro ekiwaliriza nnannyini yo okugizzaayo mu kitongole...

Muzaata ne Bakazi be Kluthum ne Bugirita

Ekiraamo kya Muzaata kirees...

SHEIKH Umar Swidiq Ndawula asomye ekigambibwa okuba ekiraamo kya Sheikh Nuhu Muzaata ne kyongera okusajjula embeera...