
OKUBUDAABUDA abaana obwongo kati kya nsonga olwa Covid-19 n'okulonda bye tuyiseemu. Teebereza waliwo omuzadde omusajja gwe baasabye ffiizi z'omwana ne yeecanga n'atuuka n'okugamba nti ye eby'okuzaala omwana oyo yali abyesambye nga nnasswi bwe yeesamba engalabi era kye yava yali awadde ne mukyala we amagezi olubuto lw'omwana oyo baluggyemu kyokka omukyala n'agaana.
Kyokka teebereza boogera bino byonna ng'omwana naye ali awo! Kati teebereza ebiri omwana oyo mu mutwe olw'okutegeera nti taata we yali asazeewo amusubye obulamu bw'ensi eno.
Abalala bayinza okutuuka mu mbeera eyo lwa kuba nti ssente baazimalidde mu kalulu ate ne kabamegga. Ebikangabwa nga bino ebituuse ku baana mu luwummula luno oluwanvu, biyinza okuleeta abaana okutandika okwekomomma, n'obuteerabawo ne bafuna emize gye batabadde nagyo!
Omwana ayise mu bintu nga ebyo, ayinza n'okutya n'ataddayo kusaba kitaawe ekintu kyonna. Waakiri okusabiriza mu banne. Kyokka omusomesa bw'aba tafuddeeyo kumanya buvo na buddo bwa nsonga eyo, ate n'anyiikira kumujulizanga nga bw'ajja okumuloopa ewa kitaawe! Ebiva mu kino biyinza obutawoomya Nnakabululu.
Naye nga ekikolo kya byonna bwe bwavu okwejabaata olwa Covid n'obululu buno obutuleeze ebikya. Abazadde bangi abasiibudde abaana baabwe n'amaloboozi ag'obukambwe.
Balangidde abaana bano okutwala ssente ennyingi kubanga abazadde bangi naddala abasajja bwe baba abaavu, boogera baboggoka. Kale amaloboozi ag'okuboggoka ge baasiibuzza abaana, gayinza okuteeka abaana bano mu mbeera ey'obunkenke ne bafuna enkola ya ‘nkole mpoomye…', ne bagoya amayuuni- emisomo ne gibamegga!
Singa kisoboka, ekyokubudaabuda obwongo bw'abaana okubuzza mu mbeera ey'okusoma, abasomesa kye baalisoose, ebyokumalako sirabaasi ne bijja oluvannyuma.
Ate ne bakifuula ekyolutentezi; oboolyawo ne kisikira amasomo nga okuyimba ne P.E ebirabika nga bijja kulwawo okuddamu olw'okuba biteeka abaana mu mugotteko.
Ssinga omwana tabudaabudibwa ojja kwesanga ng'omusomesa by'amusomesa tabiyingiza kubanga ebirowoozo bye tebitebenkedde, so nga kino kikulu nnyo mu nsoma y'omwana.