Ssenga ndi mukazi naye ndabika ndiko ekikyamu kuba sirina musajja ambiita. Ssenga nnyamba. SN e Nateete
Mwana wange bakyala bangi balina ekizibu kino. Naye kye tulina okumanya abasajja batono ku bakyala kale embeera eno tulina ogibeeramu. Ekirala nga bwe tuli abatono olina okulaba nga weefaako okufuna omusajja. Genda mu bifo w'osobola okukola omukwano n'abasajja kyokka nga weegendereza obutakwatibwa bulwadde
bwa Covid-19. Ekirala weefeeko olabike bulungi. Olina okubeera mu mbeera ekusobozesa okufuna abasajja, bw'osigala awaka buli kiseera kizibu omusajja okukusanga. N'ekirala mwana wange oluusi tetufuna basajja olw'empisa ze tulina. Abasajja ennaku zino bamanyi enjawulo y'omukyala n'omukazi.
Kale weeyise ng'omukyala osoboole okufuna omusajja. Ekirala tolina kweyisa mu ngeri eyinza okutiisa abasajja okukugambako.