TOP

Abasajja kirabika bangwa kkono

Added 18th March 2021

Nze Slyvia Nabasumba 22. Engeri gye ntawaanyeemu n’abasajja ku myaka emimpi gye nnina ntuuse okulowooza nti osanga sibalinaamu mukisa. Mu 2014 nafuna omusajja twali tubeera naye e Bukomero, era ne tuzaala n’omwana wabula ng’ankuba okukira akuba eky’okuttale!

Nabasumba n'omwana we.

Nabasumba n'omwana we.

Bya MOSES LEMISA

Nze Slyvia Nabasumba 22. Engeri gye ntawaanyeemu n'abasajja ku myaka emimpi gye nnina ntuuse okulowooza nti osanga sibalinaamu mukisa. Mu 2014 nafuna omusajja twali tubeera naye e Bukomero, era ne tuzaala n'omwana wabula ng'ankuba okukira akuba eky'okuttale!

Kuno kwe yagatta obutandabirira era mu 2018 ne musegulira n'omwana ne mmumulekera. Bwe nnava eyo nagenda e Magoma mu disitulikiti y'e Nakaseke gye nafuna omusajja omulala. Ono yali abeera kumpi ne bazadde be, wabula nga mwavu lunkupe.

Twakkiriziganya ne tutandika okukuba amatoffaali era akasente ne kawera, wabula ate bazadde be ne batandika okunjogerera amafuukuule, ate nga naye tafaayo. Twazimba ennyumba, wabula olwagiyingira n'anfuumuula era tebampa wadde obuyambi bw'omwana waabwe.

Nnali ntunda eby'okulya ku ssomero lye Magoma ate COVID -19 we yayingirirawo amasomero ne bagaggalawo. Bwe wabaayo asobola okunnyamba anfunire eky'okukola ndi ku ssimu 0779119435.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lubega akulembedde ne Amatos ku kkooti e Makindye.

Abaali bafera paasita basin...

ABASUUBUZI b'omu Kampala basindikiddwa mu kkomera lwa kugezaako kufera Paasita ssente ezikunukkiriza mu buwumbi...

Spice Diana asiibuludde aba...

Bya Mukasa Lawrence  ABAYIMBI okuli Spice Diana ne munne Fik Femaika bavuddeyo ne baduukirira abasiraamu ku...

Abakozi ba Rock bavudde mu ...

Bya Phoebe Nabagereka Abakozi mu kampuni ya Roko e Gerenge mu town council ye Katabi bekalakasiza nga balaga...

FDC evumiridde effujjo erik...

Bya Doreen Namaggala AMYUKA ssabawandiisi w'ekibiina ki FDC, Arnold Kaija asabye bannayuganda okukomya okutiisatiisa...

Abazigu balumbye ekigo ne b...

Abazigu ababadde n'ebijambiya, emitayimbwa saako ennyondo bazinze ekigo kya Kabulamuliro Catholic Parish, ne bamenya...