Ssenga

Sandra MUNNAKIBUGA: Okunyigirizibwa bboosi kw’ayitamu ng’ali mu maka ge kunkutteko

ABANTU abamu tubalaba ne tubeesiimisa nga tulowooza nti ebyabwe biri ku kaweweevu.

Sandra MUNNAKIBUGA: Okunyigirizibwa bboosi kw’ayitamu ng’ali mu maka ge kunkutteko
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalists @NewVision

Wabula bw’oba ofunye omukisa abamu ne bakwebikkulira ne bakulaga kye bayitamu, mwattu ate oluusi onyeenya omutwe wakati mu kwewuunaganya ku kiri mu maka agawerako.

Wiiki ewedde bwe nnabadde mu ofiisi ya mukama wange, kirabika namusanyusizza era ne mmusigala ne mu bwongo.

Bwe twabadde tumaliriza ensonga ezantutte mu bofiisi ya bboosi wange onob yansabye ennamba y’essimub eri ku WhatsApp erab olwagimuwandiikidde kweb kundaga ekigalo mu ngerib y’okunneebaza nti kyekyo.

Nga wayise ennaku bbirib zokka bboosi yampeerezza ku whatsApp ka ‘Hi sweet  Sandra...’ Nange mu ngeri y’okwagala okwetega bboosi kwe kumuddamu nti ‘Hello my superb Boss...’.

Wano nninga gwe nabadde nsumuludde. Yatandise bwati: Sandra kantuukire ku nsonga. Nnina okunyigirizibwa kwe mpitamu awaka naye nzikiriza nkugabaneko naawe osanga olumu onookwatibwanga ekisa ate ggwe n’ompa ku ssanyu obulamu ne butambula.

Mmaze emyaka 12 mu bufumbo ne mukyala wange. Baatugatta mu Lutikko e Lubaga era kati tulina abaana basatu. Mukyala wange yakyuka kati emyaka nga esatu emabega. Ekisooka mukambwe mubalagavu.

Okwogera kwe tekutera kubeeramu bukkakkamu!
Ebyo nandibigumidde naye bwe kyatuuka ku mateeka ge yanteerawo lwe njagadde okwesogga ‘ekiwanja’ ky’omu kisenge, mu mazima ebigambo byanzigwako era nasigaza buntubulamu.

Amateeka ge yampa mulimu gano:

  • Nga njagala okwegatta naye mu kitanda nnina okusooka okumubuuza oba anaasobola okufuna mmuudu.
  • Nti sitawaananga okumuggya mu tulo twe mbu njagala kaboozi, kuba bwe kuba kwebaka abeera yeebase.
  • Lwe tugenze mu nsiitaano, tayagala kumumalirako mubiri gwange gwonna kuba buli lwe nkikola, mbu ekifuba kimala ennaku kumpi 4 nga kimuluma.
  • Tayagala bintu bya kumukulubula era nti singa nnemwa ‘okumubisiwaza egindi’ awo akazannyo kabeera kagaanyi.

Sandra waabwe mu butuufu nange nakwatiddwa ekisa nga bwe nneebuuza nti oba abakazi twagala ki kuba bboosi yahhambye nti ate kumpi buli kimu ku bikozesebwa awaka abigula mu bungi nga n’emmotoka gye yamugulira y’ateekamu
amafuta n’okumuwa ezigula by’ayambala.

Bboosi yagambye nti engeri gyali mwana wa Bikira Maria, abadde afubye nnyo okwewala okubaliga naye we bituuse takyasobola kukyebeera.

Wano we yanzijuukirizza bwe nnabadde mu ofiisi ne ngezaako okuwumba amagulu, amangu ago n’ansaba ngate manya ngagaziye kuba awo w’afunira ku ssanyu n’okweggyako situleesi!

Walaayi ekisa kyankutte ne mpulira muli nga njagala mwongere ku ‘ssanyu’ essaawa eyo.

Namusaasidde nga bwe mmusuubiza nti nze wendi mu mbeera yonna emuwa essanyu.

Bboosi yakomekkerezza agamba nti yeesunga lwe tunaddamu okwesis