Bya Ignatius Kamya
ZARI akoze embaga n’ayita abaali balamu be okubaawo ng’atongoza obufumbo bwe n’omwami we Shakib Lutaaya.
Mu bamu ku baabaddewo kwe kwabadde n’abaaliko balamu be nga bano baganda b’omugenzi Ivan Ssemwanga gwe yazaalira abaana 3 nga baakulembeddwa Reagan Ssenyonjo omuggaga abeera e Bulaaya.
Kwabaddeko abagenyi ab’ebitiibwa abalala okwabadde n’abo okuva mu gavumenti ye South Africa nga baakulembedwamu minisita w’ebyenjigiriza owaayo eyeebazizza Zariolw’okuyambako mu kutumbula ebyenjigiriza n’okukyusa ebyensoma mu ggwanga eryo.
Abagagga Bannayuganda ababeera e South Africa nga bakulembeddwa Dumba Adams be bamu ku batono abaayitiddwa kwosa ne mikwano gye okuva e Uganda nga Vivian Mbuga.
Abagole baatuuse mu kifo ku ssaawa mukaaga ez’omu ttuntu nga batambulira mu luseregende lw’emmotoka ez’ebbeeyi era nga bbo bayingiddewo mu Rolls Royce ate olwo abagenyi baavugiddwa mu mmotoka okwabadde Bentley ne Mercedes G-Class.
Sseeka eyatongoza obufumbo bwa Zari ne Shakib yabadde mu South Africa. Keeki yakoleddwa mu Turkey nga yabadde ya madaala 12.
Essaawa nga ziwera nga 1:00 ey’ekiro, Shakib yatadde ku Zari empeta n’ategeeza nga bwajja okumwagala okutuusa okufa olwo no abaabaddewo ne bafa essanyu nga bagamba nti era kale kino nakyo kiwedde.
Omukolo gwagendedde ddala okutuusa ku ssaawa 8:00 ez’ekiro anti ng’abantu balya n’okunywa ebintu ebyabadde ebingi ssaako okutema ddansi.