Emize 11 gye mukola egibuza amaanyi g'ekisajja

Oct 18, 2023

"Omusajja okwenyigira mu kikolwa eky’okwematiza nga tali na kitonde kikazi."

NewVision Reporter
@NewVision

1. Omusajja okwenyigira mu kikolwa eky’okwematiza nga tali na kitonde kikazi. Kino kivaamu ebibi bingi okuli; Okulumwa olususu lw’obusajja kuba lwereeguula, Obuttoffaali obubeera mu busajja bwandinafuwa, Obwongo bwe bwe buggukira ku kwematiza, akona n’atuuka nga takyayimirira ne
bw’aba atuuse ku mukazi n'ebirala bingi.
.
2. Okuyitirira okunywa omwenge: Omwenge oluusi, gwongeza ekirungo ekikendeeza okukola enkwason’ okuwangaala mu kisaawe. Era abaguyitiriza baviirako obuttofaali bw’omusajja obutenkanankana n’atandika okuzimba amabeere.

3. Obulwadde bwa sukaali ne puleesa: Okulemererwa okukozesa ekirungo kya sukaali mu mubiri kireeterawo okweyongera kwa sukaali mu musaayi n’okukendeeza amaanyi gw’omubiri. Okukendeera kw’amaanyi g’omubiri kikendeeza ekirungo ky’omubiri ekiyambako okukola enkwaso n’okumalako mu kisenge.

Ate puleesa y’omusaayi eri waggulu eyonoona ebisenge by’emisuwa egitambuza omusaayi ekireetera emisuwa okukaluba n’okufunda nga kino kikendeeza entambula y’omusaayi okugenda mu busajja.

4. Omugejjo ogusukkiridde: Omuntu okugejja n’ayitawo ennyo kikendeeza obuvumu bwe era kireetera omusajja okuba nga teyekkiririzaamu. N’ekirala,omusajja okusituka obulungi omusaayi gulina okuba nga gutambulira bulungi mu misuwa egigenda mu busajja era olw’okubanga aba n’omugejjo kimuviirako okuba n’amasavu amangi mu mubiri agamukwata mu misuwa omusaayi ne gutatambula bulungi n’anafuwa.

5. Okugaziwa kw’ebinywa by’obusajja (Prostrate enlargement): Ebinywa by’omu busajja bwe birwala biviirako obusajja bwe okuzimba, ekitaataaganya ebitundu by’omubiri ne bikwatagana bulungi era muntu agaziye mu busajja bwe abeera afukaafuka. Kimuviirako obuteesobola mu kisenge.

6. Okweraliikirira: Ebizibu ebikwata obwongo ng’okweraliikirira bikyusa engeri obubaka bw’obwongo gye busindikibwamu ku busajja okwongera entambula
y’omusaayi mu busajja ne busituka.

7. Emyaka: Buli musajja lw’akula n’amaanyi gagenda gakendeera.

8. Obukosefu ku mugongo obuva ku lugumba lw’omugongo. Okusituka kw’omusajja era kufugibwa ebitundu by’omubiri okuli n’omugongo era omugongo gulimu obusimu obuyita mu busajja kati omugongo bwe gufuna obuzibu kiviirako omusajja okubulwa amaanyi g’ekisenge.

9. Endwadde z’ekikaba okuli; enziku, kandida, kabotongo, zireeta obulumi mu basajja ekibaleetera okuba n’obuzibu mu kwegatta.

10. Okulumizibwa kw’amagumba n’ennyingo; Abantu abalumizibwa mu nnyingo babeera balina obulemu mu kwegatta kuba babeera bafuna obulumi buli bwe baba bagezaako okwegatta era ekivaamu nga babiviirako ddala.

11. Obutakkaanya mu maka; Omusajja yenna bw’aba ayombayomba ne mukyala we, abulwa amaanyi g’ekisajja olw’obusungu n’okweraliikira kw’abeera alina.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});