Ssenga

Liirino eddagala erireeta amaanyi g'ekisajja nga tosaasanyizza nnusu yadde!

"Bw'oyitiriza eddagala erikuyambako okwaka ate osobola okutta amaanyi go"

Liirino eddagala erireeta amaanyi g'ekisajja nga tosaasanyizza nnusu yadde!
By: Musasi Bukedde, Journalists @New Vision

DOKITA Joseph Mawula owa Novel Biotech LTD, omukugu mu kujjanjabisa obutonde n’okunoonyereza agamba nti okunoonyereza okukolebwa ennaku zino, kulaga ng’omuwendo gwa basajja abatamalaako mu kisenge oba kiyite okubulwa amaanyi g’ekisajja gweyongedde bw’ogeraageranya nga bwe kyali edda. 

Dokita Mawula agamba nti ekizibu kino kisobola okunogerwa eddala nga;
1.Abasajja balina okwewala enkola y’okwematiza. Abafuna endowooza eno, balina okwenyigira mu mirimu egy’enjawulo babulwe obudde obulowooza ku kwematiza.

2.Kirungi okwekebeza endwadde ezitali zimu ate ne bafuna obujjanjabi. Abalina endwadde z’ekikaba, eddagala gye liri eribuwonya ate endwadde nga sukaali ne puleesa, abasawo abakugu gye bali abasobola okukuyamba n’otosubwa ssanyu lya kisenge.

3.Abasajja bakendeeze okunywa ennyo omwenge ate bakozese ebintu ebiggya obutwa mu mubiri. N’abasajja abalina omugejjo bakole dduyiro, bakendeeze n’okulya emmere ey’amasavu naddala ebisiike.

4.Abasajja balye nnyo emiddo ng’empirivuma ne woyiro w’ekiryo ky’ensujju.

5.Abasajja abalina obuzibu bw’okweraliikira bafune ebibasanyusa ate era bayige okuba abasanyufu wadde nga balina ebizibu kuba ebizibu tebiggwaawo. Bakozese n’enkola ezisala okweraliikirira okuli okukola dduyiro.

6. Abasajja beewale okukozesa eddagala eribayambako okwaka kuba abasinga baliyitiriza n’amaanyi amatono ge balina ne gabaggweeramu ddala ate nga liyinza n’okukwabya omutima.

7.N’abazadde bakole ogwabwe, babuulirire abaana ku byomukwano, babategeeze ku kabi akali mu kwematiza era nga babakuze, babawe emmere ebazimba ng 
basajja bakule nga balina amaanyi ag’omubiri n’ag’omu busajja.

Tags:
Ssenga
Kisenge
Maanyi
Mukwano
Bufumbo
Kubuulirira
Bakugu