MPULIRA akawoowo k’enseenene wano, oba ani azisiika?
Obuuza muntu mukyamu, kuba nze seesembereza nseenene.
Zikubutula? Kuba sizoni yaazo bw’etuuka abantu baba mu keetalo naye ku luno, abantu bazirinze ne zibula era mbadde mmanyi nti abeeno mwazifunyeeko.
Nze nneddira Nseenene era siyinza kulya muziro gwange. Ne bwe zibula, mpulira sizirinaako buzibu.
Eee! nga wasubwa nnyo?
Kati n’abeddira Emmamba tugambe nti baasubwa nnyo?
Si bwe njogedde. ‘Just’ mbadde nkutegeezaako nti abazirya zibawoomera okufa obufi
Anti naffe tulina ebituwoomera nga si nseenene era tetusubwa kuzirya.
Nkuwulira ng’anyiizeemu ng’ate njogeddeko bwogezi...
Era nange ne nkutegeeza nti abatazirya tetulina kye tusubwa.
Kale enseenene tuziveeko, ompe ku mannya go
Eron Imelda Nansikombi.
Akwagala ayinza kukusanga wa?
Nneebeerera Lubaga
Okola biki e Lubaga?
Ndi muyizi ku St. Lawrence University e Lubaga nga nsoma diguli mu by’embeera z’abantu.
Ky’ogamba osobola okutegeera embeera omuntu gy’alimu?
Nkyali muyizi ekitegeeza nti nkyayiga buyizi naye nnina essuubi nti we nnaamalira, nja kuba nfunye obukugu obumala okwetegereza abantu ne mmanya embeera zaabwe.
Kiki ekiyinza okukunyiiza?
Bw’ompaayiriza, tubeera tetujja kukwatagana.
Ayagala okukuteeka kasimayiro ku matama akola atya?
Kunteerako ka myuziki ne mpummuza ebirowoozo. N’okugenda ‘out’ ne mikwano gyange nakyo kinsanyusa.
Otera kwesala bugoye ki ng’ogenzeeko ‘out’?
Nnyumirwa nnyo empale nga nnene n’obuteeteeyi obumpi nga bunkwata naddala nga buli mu langi enjeru ne bbulu atali mukwafu.
Biki by’osinga okwagala okulya?
Toyinza kunzigya ku cipusi n’enkoko. N’ekyennyanja kinkolera.