Bya Peter Ssaava
NNAMUKADDE alaajana olw’abaamufera ekyapa kati emyaka 40 nga mu kiseera kino bakyusizza obwanga nga baagala kutwala kibanja kye. Alaajanidde minisita w’ebyettaka Judith Nabakooba okumuyamba.
James Kiwanuka Kamoga, omutuuze w’e Kitetikka mu disitulikiti y’e Wakiso yali mu kusattira oluvannyuma lw’abeeyita bannannyini ttaka okumugobaganya ku kibanja kye.
Kiwanuka agamba nti yagula ekibanja kye ekiwezaako yiika 1 n’ekitundu mu 1974 ku booluganda basatu okuli: Solome Navuga, Stone Ssajjabbi ne Loza Namigadde era ne bamukolera endagaano.
Kyokka nti famire ya Bitabareho yayingirawo mu 1980 n’eraga nti be bannannyini ttaka era ne bamusaba yeesaleko ekitundu kya yiika bamukolere ekyapa.
Nti kyokka bano baamuwa ekyapa wabula okugenda okukinoonyerezaako nga kicupule nga ne ofiisi z’ebyettaka e Wakiso tezikirina. Nti ekitundu kya yiika baali bamaze okukimusalako.
“Nnatuuse okusala emiti mu kibanja kyange, famire ya Bitabareho ne nyimiriza nti emiti ngisala mu kibanja ekitali kyange. Nneewuunya okuba nga mmaze emyaka egisoba mu 40 ate abaansangako ne bangobaganya.” Kamoga bweyayongeddeko.
Ekinnenyamizza be bano okundeetera abaserikale ku kibanja kyange nga bagamba nti sirina kukolerako kintu kyonna kyokka nga n’abaana bange kwe mbazaalidde nga sirinaako buzibu.
Ssentebe w’ekyalo Kitetikka, Moses Asaba yagambye nti Bitabareho yasangako Kamoga, kuba yagula tebannafuuka balandiroodi nga kino kimuwa obwannannyini ku ttaka.
Yeewuunyizza nnyo famire ya Bitabareho obutamwanjuliranga kyapa mu ofiisi ye ssaako bbo okumweyanjulira nga balandiroodi era n’asaba aboobuyinza waggulu bataase Kamoga.