Ssenga

‘Ekya Miss Bukedde kinsaana’‘kinsaana’

Ndi mulungi ekimala ate nnekkiririzaamu. N’ekirala, nja kwongera ettoffaali ku kutumbula Bukedde.

‘Ekya Miss Bukedde kinsaana’‘kinsaana’
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

Nnnalulungi gye baleko?

Kale bambi naawe gyebale.

Oba nkwefaananyirizza?

Simanyi nange okuggyako ng’ombuulidde gye wandabako.

Nnina omuwala omubalagavu gwe nasangako mu bitundu by’e Kawaala oba ye ggwe?

Nange gye mbeera oyinza okuba walaba nze.

Wamma ye ggwe kkenyini. Kaakati abakkirizibwa okuvugira mu kkubo ly’omutima gwo babeera na kiraasi ki eya pameti?

Omutima mulimu nnyini gwo, walwawo okutuuka.

Ekyo tokikola!

Sirimba. Okulimba kunsiikuula emmeema.

Eky’obulungi n’okwambala wasalawo kujooga! Ani dizayina wo?

Nze kennyini kuba ebyemisono mbitegeera era mbikolamu.

Olina emyaka emeka ?

26 gyokka.

Biki ebisinga okukunyumira mu budde bwo obw’obweddembe?

Njagala nnyo okuyimba n’okutambula.

Ekitegeeza oli muyimbi?

Ekitone nkirina era nzize kuvuganya mu mpaka za Miss ne Mr Bukedde ez’omwaka 2024.

Lwaki olowooza ggwe alina okubeera Miss Bukedde?

Ndi mulungi ekimala ate nnekkiririzaamu. N’ekirala, nja kwongera ettoffaali ku kutumbula Bukedde.

Omwanattu Pauline Kirabo Ng'amema

Omwanattu Pauline Kirabo Ng'amema

Engeri gy’oyogezaamu obuvumu, olabika ebintu by’okuvuganya obirinamu obumanyirivu?

Nnyo, era nze Miss Tourism Ankole Demonstration Brand Ambassador Mbarara.

Abawala obawa bubaka ki obwa 2024?

Mbakubiriza okwekkiririzaamu.

Mbuulira ku by’okulya by’olya ebikunyiriza

Nnettanira okulya ebivaavava, enkoko n’akammonde.

Abanaakuwagira mu mpaka za Miss Bukedde babuulire ku mannya go

Nze Pauline Kirabo mbeera Kawaala.

Tags:
Miss Bukedde

Emboozi Ezifanagana