Tukulaze engeri omuvuzi w’ennyonyi ennwanyi mu Russia eyalidde olukwe mu Putin bwe yattiddwa mu bukambwe.
Mulimu eyasse muto we ku by’obusika kkooti gw’esalidde ekibonerezo kya kusibwa emyaka 44.
Lipoota ya poliisi ku buzzi bw’emisango eraze nga mmotoka 600 bwe zibbiddwa. Tukugattiddeko obukodyo bwe bakozesa okubba mmotoka ne bw’oyinza okutangira okukubbako emmotoka yo.
Omuzadde alina omuyizi mu P6 ne P7 bamuteereddemu Weekly exercises ezimuyamba okutandika okweteeketeeka nga bukyali.
Mu Asiika Obulamu: Abeebyobulamu balaze engeri omusujja gw’ensiri bwe gweyubudde ekiwalirizza okulagiriza eddagala erigugema erituuka mu October.
Mu Byemizannyo: Tukulaze engeri Rasmus Hojlund gy’abbuludde ManU n’awamba emitima gy’abawagizi. Ate Omutendesi wa Man City mweraliikirivu olwa ggoolo okukendeera mu basambi be.
Gano n'amalala mu Bukedde w’Olwokuna agula 1,000/- zokka.