Abantu 50 bawangudde ettu lya Idd mu Bukedde

Munamawulire
Munamawulire @Bukedde
Apr 06, 2024

ABAWANGUZI 50 be bannamukisa abalondeddwa mu kalulu ka Wangula Ettu lya Idd akategekebwa n’okufulumira mu lupapula lwa Bukedde.
Kawagirwa olupapula lwa Bukedde, Tv ya Bukedde 1 ne Bukedde 2, Leediyo ya Bukedde Fa Ma Embuutikizi (100.5) saako kkampuni ya Chapaa General
Enterprises aba Prestige, Newmans ab’obumpwakimpwaki, Skipris ekola ku kutambuza
abalambuzi ne kkampuni ya BH Clara etunda ettaka.
Ku Lwokutaano abawanguzi 25 be baalondeddwa ne bagattibwa ku bawanguzi 25 abaasooka okulondebwa ku Lwokusatu.
Akulira olupapula lwa Bukedde, Michael Mukasa Ssebbowa ye yaggaddewo akalulu kano n’okulangirira abawanguzi ku ku BUKEDDE TV 1, mu pulogulaamu y’Ekyenkya ng’ali ne Dorah Naamala.
Ssebbowa akulira Bukedde yasiimye abeetabye mu kalulu muwanguzi waakukwasibwa ettu lye ku Mmande nga April 8, 2024 ku ssaawa 4.00 ez’oku makya ku kitebe kya Vision Group mu kibangirizi ky’amakolero e Lugogo.
“Tuli basanyufu okulaba nga tugenda kuwa abawanguzi baffe 50, Iddi gye batajja kwerabira. Twebaza nnyo abavujjirizi baffeate n’abasomi baffe abatugula buli lunaku kubanga be batusobozesa okukola bino,” Ssebbowa bwe yateegeezezza.
Yasabye abawanguzi okujja n’ebiboogerako era beewale okuferebwa omuntu yenna
ayinza okwagala okukola olukujjukujju okubabba, kubanga tebalina ssente yonna gye balina okusasula. Bukedde azze ategeka akalulu kano okumala ebbanga

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});