Minisita wa Kampala Minsa Kabanda akwasizza abawala 50 abakuguse mu by’emikono amabaluwa

Patrick Kibirango
Journalist @Bukedde
Apr 26, 2024

MINISA wa Kampala, Hajjati Minsa Kabanda, awabudde abaana abawala okukomya okukwata obusente bwe balina okubutwala mu mawanga ga bawalabu okukuba eby’eyo ate ne bakomawo nga bakaaba. n’abawa amagezi babukwatte bamukolemue ebintu ebibongerako omutindo ng’okusoma eby’emikono.
Bino Kabanda aby’ogedde bwabadde akulembeddemu emikolo gy’okutikkira abayizi 50 abaakuguze mu misomo gy’omumutwe n’emikono, omuli okukola keeki, okusiba enviiri okuyoyoota ensusu z’abakyala n’ebirala nga baakugukidde mu ttendekero lya Esta School of Beauty and Fashion Designing.

Minsa Kabanda ng'ali n'abana abatikkiddwa

Minsa Kabanda ng'ali n'abana abatikkiddwa


Kabanda asiimye pulezidenti Museveni ne maama Janat Museveni abaaleeta ensoma empya gy’agambye nti yakuyamba nnyo okufulumya abaana abalina kyebasobola okutandiikawo.
Dr. Ruth Aisha Kasolo, omukwanaganya wa Private Sector foundation of Uganda, asiimye omutandiisi w’etendekero lino Esther Ssanyu era nawaayo sikaala eri abayizi abawera mu tendekero lino.
Dayirekita w’ebyengigiriza mu kitongole kya KCCA, Dr, Kulthum Namubunnya Gumisiriza, awabudde abawala bano okukoma omuzze gw’okwegabangula mu basajjja nga baagala ssente ez’obwerere kubanga bino byebivaako abasajja okwanika obutambi bwabwe ku mitimbagano ate nebalumya bazadde babwe.

wakati Aisha Kasolo n'abalala

wakati Aisha Kasolo n'abalala


Ono era wabudde abaana bano abamaze okusoma nti bafune abasajja bafumbirwe ekifo ky’okudda mu kutayaaya olwo kijja kubayamba okwetaasa ebikemo.
Offiisi ya Sssenteb wa NRM mu gwganga (ONC) ekulemberwadwa hajjati Hadijah Namyalo, ng'eyita mu Jeniper Nakangubi amanyikiddwa nga Full Figure ewaddeyo zi ddulaaya eri abakuguse mu ssaluuni ng’entandiikwa era Namyalo mu bubaka bwe yatisse Full Figure, yeeyamye okwongera okuwagira
Minisita Kabanda oluvanyuma akwasizza abayizi 50, abatikiddwa amabaluwa gaabwe era ne basala ne keeki oluvannyuma ne basanyusibwa omuyimbi Mary Bata ne batema ddansi
Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});