Aba NUP bakubye ebituli mu kampuni ya bannamateeka eyabaloopye mu kakiiko k'ebyokulonda

Kizito Musoke
Journalist @Bukedde
May 16, 2024
OKUSIKA omuguwa ku by’okuwandiisa konsitityusoni y’ekibiina kya NUP tekunaggwa, obukulembeze bwa Robert Kyagulanyi bukubye ebituli mu kampuni ya bannamateeka eyabaloopye mu kakiiko k’ebyokulonda.
Ssaabawandiisi wa NUP, Lewis Rubongoya yategeezezza Bukedde nga bwe baayitiddwa ku ofiisi z’ekitebe ky’ebyokulonda ku Lwokubiri babeeko bye batangaaza ku kwemulugunya kwe baafuna okuva ewa David Ekarlet, Saphy Waiga ne Del Wilber Omony nga bawakanya okuwandiisa konsitityusoni y’ekibiina erimu enongoosereza.
Ekyasoose okubeewunyisa kwe kuba nga abeemulugunya nga bayita mu kampuni ya bannamateeka eya M/S Baraka Legal Associates, Solicitors and Legal Consultants ebbaluwa baagiwa akakiiko nga January 16, 2024. Naye akakiiko k’ebyokulonda kaategeeza aba NUP nga April 26, 2024.
Ekyewunyisa abeemulugunya beeyita bammemba ba kibiina naye nga tewali abamanyi era tebabeerangako mu nkalala z’abamemba b’akibiina ne bwe kyali kikyakulemberwa Moses Kibalama.
Okwongera okukakasa nti abeemulugunya bafere, aba NUP baalaze ebbaluwa okuva mu kitongole kya Law Council ekiwandiisa kampuni za bannamateeka  eriko ennaku z’omwezi nga May 13, ng’eraga nti kampuni ya M/S Baraka Legal Associates, Solicitors and Legal Consultants tebagimanyi.
Law Council mu bbaluwa yaayo egamba erinnya lya kampuni eriringa eryefananyirizaako lye bamanyi lya Baraka Legal Associated Advocates. Kyokka bano bagamba tebakolangako ku nsonga yonna erimua amannya g’abeemulugunya.
Rubongoya agamba nti ne Gideon Tugume eyateeka omukono ku bbaluwa y’abeemulugunya erinnya lye teriri ku lukakalala lwamannya ga bannamateeka abakkirizibwa okuwoza emisango mu kkooti yonna.
KYAGULANYI APANGISIZZA NALUKOOLA NE MUSISI OKUMUWOLEREZA
Munnamateeka George Musisi owa NUP yategeezezza Bukedde nga bwe baataddeyo okwewozaako kwabwe  mu kkooti enkulu ku musango ogwaloopeddwa Kibalama ng’avunaana Kyagulanyi n’akakiiko k’ebyokulonda ng’awakanya okuwandiisa ekibiina kye.
Yagambye nti NUP yakozesezza kampuni za bannamateeka bbiri okuli eya Nalukoola and Company Advocates ne PACE Advocates.
Omusango ogwawawaabiddwa Musisi agamba teguliimu makulu wabula gwa byabufuzi nga kino kizze kikolebwa ng abwe kyali okulonda okuwedde okwa 2021 bwe kwali kunaatera okubaawo.
Musisi era yasambazze ebyogerwa Kibalama nti akakiiko k’ebyokulonda kaagobye okuwandiisa enongoosereza zaabwe mu ssemateeka w’ekibiina n’agamba nti baabambye nti olw’okuba nabo bavunaanibwa basazeewo balinde omusango ogumu mu kkooti gumale okusalibwa.
Ekyokuwandiisa bammemba abapya Kibalama kyawakanya, Musisi agamba nti ssemateeka omukadde akkiriza okuwandiika bamemba abapya era abakiwakanya tamanyi gye babijja.
Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});