Ssanyu ; "Okubeera mu kkamera kunsanyusa"

Dec 13, 2024

"Okulaba ffirimu n’okuwuliriza ennyimba binkolera"

NewVision Reporter
@NewVision

NNYABO ononsoyiwa okukwemanyiiza, mpulidde bakuyita ‘star girl’, oli ssereebu?
‘Star’ (ssita) linnya lyange, bazadde bange lye bantuuma ate abalala bandaba nga ssita olw’omulimu gwe nkola.

Eeee... nsoose kulowooza nti, wakola amalala okulyetuuma...
Nze Gabriella Star Nalule mu bujjuvu.

Okola mulimu ki?
Mbeera mu vidiyo z’abayimbi, mu bufunze ndi vidiyo ‘vixen’.

Nalule Ng'anyumye Mu Kateeteeyi,.

Nalule Ng'anyumye Mu Kateeteeyi,.

Ogufunyeemu birungi ki?
Nsobola okwetuusaako buli kirungi kye njagala.

Okola ogwo gumu?
Guno gwe nkyaliko kuba waliwo ekiseera lwe kituuka, nga buli lunaku tulina okukola ate nga batusasulirawo.

Kiki ekyakusikiriza okukola obwa vidiyo ‘vixen’?
Njagala nnyo okubeera mu kkamera, kinsanyusa.

Olinayo erinnya erikola ssente lye weetuuma?
Nasigaza lya Star Gal.

Kusoomoozebwa ki kw’ofuna mu mulimu gwo?
Mu vidiyo ezimu ze tugenda okukwata, oluusi wabaawo abantu bangi be tutamanyi abamu ne batubba ebintu byaffe. N’ekirala, oluusi tumaliriza okukwata vidiyo kiro era okutambula amatumbi budde bitukosa nnyo.

Osula wa gy’otya okutambula ekiro?
Namugongo ku lw’e Kireka.

Mu biseera byo eby’eddembe onyumirwa kukola ki?
Okulaba ffirimu n’okuwuliriza ennyimba binkolera kyokka era mmanyi n’okwebakamu emisana bwe mba sirina bye nkola.

 

Kati omwagalwa wo bw’akutwala ‘out’, osaba byakulya ki ebisinga okukuwoomera?
Amatooke, akammonde akazungu n’ennyama y’embuzi bimpoomera. Lwakuba sirina mwagalwa naye era tekihhaana kubyegulira.

Nti tolinaayo muntu wo wa ku lusegere akuteekamu ku ssente n’abeera musanyufu?
Nze siponsa w’obulamu bwange era sikirinaamu buzibu kuba okulabika obulungi kumpa emirembe. Mpozzi n’ekirala, abawala abalina endowooza nti, omusajja y’alina okuteekamu ssente okunyirira bakyuseemu.

Kiki abantu kye basinga okwogerera ekiri ku mubiri gwo ekikumalako emirembe?
Abamu ku bandaba bagamba nti, nnina amannyo amatono agalinga ag’abaana abato, kimmalako emirembe oluusi ne ntya n’okusekera mu bifaananyi.

Abagamba nti, amannyo go g’abaana bato bagambe emyaka gyo emituufu bakomye okukuyisaamu amaaso.
Nga November 7, omwaka guno nawezezza emyaka 22.

Okyali kito! Wajaguza otya okuweza emyaka egyo?
Nneegulira ebimuli ebirungi eby’akaloosa ne nneejaguza okuweza emyaka egyo.

Mbadde mmanyi nti, naawe ogwa mu kiti ky’abo abagamba nti, okujaguza buli mwaka gw’oweza kuba kwonoona nsimbi...
Abo balina endowooza enkyamu era eraga obutasiima Katonda, olw’ekirabo ky’obulamu ky’aba akuwadde. Abalina obusobozi, mbakubiriza okwejaguza kuba ako kabonero ka kweyagala.

Kintu ki ekikunyiiza ku ba takisi?
Abamu balina omuze ‘gw’okutunda’ abasaabaze eri takisi endala, kale binnyiiza.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});