Ssenga ; Baako ebintu bye weesigaliza ng'omuntu ng'ofumbiddwa

Feb 18, 2025

Bw'ofumbirwa mwana wange, olina okuba omwegendereza naddala ku nsonga y’ebyama ebibyo era n’eby’amaka g’ovaamu. Omwami waffe wamunyumiza ebyama ebikwata ku maka gaffe ne nkutya!. 

NewVision Reporter
@NewVision

Bw'ofumbirwa mwana wange, olina okuba omwegendereza naddala ku nsonga y’ebyama ebibyo era n’eby’amaka g’ovaamu. Omwami waffe wamunyumiza ebyama ebikwata ku maka gaffe ne nkutya!. 

Okumanya nakutya mwana wange, nange ssenga wo ebyama byaffe eby’omwami oweewange tabimanyi kuba nalaba nga singa mmubuulira ebyama ebyo agenda kubikozesa mu bufumbo bwaffe. 

 

Nasirika kuba byali bituswaza. Kati nze nange nnali ndowooza nti ebyama ebyo naawe ogenda kubikuuma kuba buli muntu abeerako n’ebyama ebibye nga omuntu nga tolina gw’obibuulira kuba naawe bikuswaza. 

Era wabeerawo ebyama nga by’amaka gammwe era ebyo nabyo olina okubisirikira. Ebyama ebyo obyekuumiranga nnyo kubanga omwami waffe bw’abitegeera ate nga biswaza asobola okubikozesa n’ayonoona amaka gammwe oba okwonoona ggwe naddala nga mutabuse. 

Nkimanyi mu mukwano oyagala okubuulira munno buli kintu ekikukwatako naye ate olina okwesigaliza ebyo by’omanyi nti bisobola okuleeta obuzibu mu bufumbo bwammwe. Sigaanyi olina okumubuulira ebikufaako naye waliyo by’olina okwesigaliza. 

Kati ewammwe oba waliyo abeeraguza nga bakuli ku lusegere naye ggwe teweeraguza, ekyo olina okukyesigaliza kuba okuliraana eyeeraguza, gw’onyumiza naye ayinza okukulaba nga naawe eyeeraguza era eyo emboozi esigala yiyo. 

Oba nga maama wo oba ssengaawo yali malaaya ekyo nakyo okyesigaliza. Bw’osalawo okwogera buli kibi ky’omanyi ku bantu bo, omwami waffe atandika okukulaba mu kifaananyi ekyo. 

Era bwe wabeerawo ekizibu mu maka, aleeta ebyama ebyo mu mboozi oba ng’akukubisa ebyama ebyo mu kukulwanyisa. N’ekirala,olina okimanya nti amaka gonna gabeera n’ebyama. 

Teri maka matuukirivu naye ebyama by’amaka birina kusigala mu maka ago okukuuma ekitiibwa kyago. Naawe nga omuntu tolina kubuulira musajja byama byo byonna. Waliyo ebyo by’olina okwesigaliza. 

Jjukira buli kintu kye weeyogerako kirina kye kitegeeza. Ggwe oyinza okulaba nga kitono naye gw’okibuulira alina amakulu g’akifunamu. Mwana wange ffe abakyala twogera nnyo buli kimu naye abasajja oluusi beesigaliza ebintu bingi. 

Bw’oyogera buli kimu n’ebyama weesanga ng’oyogedde ebitasaanidde. Kati ebyama ebikwata ku maama wo okuzaala omwana ng’afumba ewamwanyinaze wandibadde tokibuulira mwami waffe. 

Kuba kati maama wo tamussaamu kitiibwa, ekirala atandika okulaba nga naawe osobola okukikola ate ekisembayo yeebuuza ddala mukyala wange oba maama wo asobola okubuulira ku nsonga y’obwenzi. 

Olaba mwana wange okufulumya ebyama kwe kikola. Mwana wange kuuma ebyama by’amaka era n’ebyama ebibyo. Sitegeeza kukola bintu mu kyama ng’omwami tategedde ng’ennaku zino bwe mukola, ntegeeza ebyama by’amaka nga tonnaba kufumbirwa.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});